传道书 10 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

传道书 10:1-20

1死苍蝇会使芬芳的膏油发臭,

同样,一点点愚昧足以毁掉智慧和尊荣。

2智者的心引导他走正路,

愚人的心带领他入歧途。10:2 这一节希伯来文是“智者的心在右,愚人的心在左。”

3愚人走路时也无知,

并向众人显出他的愚昧。

4如果当权的人向你大发雷霆,

不要因此就离开岗位,

因为平心静气能避免大错。

5我发现日光之下有一件可悲的事,

似乎是掌权者所犯的错误:

6愚人身居许多高位,

富人却屈居在下。

7我曾看见奴仆骑在马上,

王子却像奴仆一样步行。

8挖掘陷阱的,自己必掉在其中;

拆围墙的,必被蛇咬;

9开凿石头的,必被砸伤;

劈木头的,必有危险。

10斧头钝了若不磨利,

用起来必多费力气,

但智慧能助人成功。

11弄蛇人行法术之前,

若先被蛇咬,

行法术还有什么用呢?

12智者口出恩言,

愚人的话毁灭自己。

13愚人开口是愚昧,

闭口是邪恶狂妄。

14愚人高谈阔论,

其实无人知道将来的事,

人死后,谁能告诉他世间的事呢?

15愚人因劳碌而筋疲力尽,

连进城的路也认不出来。

16一国之君若年幼无知,

他的臣宰从早到晚只顾宴乐,

那国就有祸了!

17一国之君若英明尊贵,

他的臣宰为了强身健体而节制饮食,

不酗酒宴乐,那国就有福了!

18屋顶因人懒惰而坍塌,

房间因人游手好闲而漏雨。

19宴席带来欢笑,

酒使人开怀,

钱使人万事亨通。

20不可咒诅君王,

连这样的意念都不可有,

也不可在卧室里咒诅富豪,

因为天空的飞鸟会通风报信,

有翅膀的会把事情四处传开。

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 10:1-20

Omugezi n’Omusirusiru

110:1 Nge 13:16; 18:2Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi,

bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.

2Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu,

naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.

310:3 Nge 13:16; 18:2Ne bw’aba ng’atambula,

amanyibwa nga talina magezi,

era buli amulaba agamba nti musirusiru.

410:4 a Mub 8:3 b Nge 16:14; 25:15Mukama wo bw’akunyiigiranga,

tomulaganga busungu;

okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.

5Ekibi ekirala kye nalaba,

kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:

610:6 Nge 29:2nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava,

naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.

710:7 Nge 19:10Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi,

songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.

810:8 a Zab 7:15; 57:6; Nge 26:27 b Es 2:23; Zab 9:16; Am 5:19Asima ekinnya alikigwamu,

n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.

910:9 Nge 26:27Oyo ayasa amayinja gamulumya,

n’oyo ayasa enku zimulumya.

10Embazzi bwe tebaako bwogi,

n’etewagalwa,

agitemya ateekwa okufuba ennyo,

naye obumanyirivu bwe buwangula.

1110:11 Zab 58:5; Is 3:3Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa,

omufuusa talina kyafunamu.

1210:12 a Nge 10:32 b Nge 10:14; 14:3; 15:2; 18:7Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira,

naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.

13Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa,

ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.

1410:14 a Nge 15:2; Mub 5:3; 6:12; 8:7 b Mub 9:1Omusirusiru asavuwaza ebigambo.

Tewali amanyi birijja,

kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?

15Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi,

n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.

1610:16 Is 3:4-5, 12Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu,

nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!

1710:17 Ma 14:26; 1Sa 25:36; Nge 31:4Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira,

ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu,

olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.

1810:18 Nge 20:4; 24:30-34Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya,

n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.

1910:19 Lub 14:18; Bal 9:13Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka,

ne wayini yeeyagaza obulamu,

naye ensimbi y’esobola byonna.

2010:20 Kuv 22:28Tokolimira kabaka mu mutima gwo

newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo,

kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo

nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.