以赛亚书 54 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 54:1-17

主爱不移

1耶和华说:“不生育、未生养的妇人啊,要欢唱;

未曾生产的女子啊,

要高歌、欢呼;

因为没有丈夫的比有丈夫的儿女更多。

2要扩大你的帐篷,

尽量拉宽帐篷的幔子,

放长绳子,钉牢橛子。

3因为你要向左右扩展,

你的后裔要统治列国,

使荒凉的城邑重新有人居住。

4“不要惧怕,因为你不会再受羞辱;

不要怕,因为你不会再受凌辱。

你必忘记年轻时的羞辱,

不再想起寡居时的耻辱。

5因为造你的是你的丈夫,

祂名叫万军之耶和华;

救赎你的是以色列的圣者,

祂是普天下的上帝。

6耶和华要召你回来,

如同召一个遭遗弃、

心中忧伤的年轻妻子。

这是你的上帝说的。

7我丢弃了你片刻,

但我要怀着极大的怜悯接你回来。

8我盛怒之下暂时掩面不理你,

但我要以永远不变的慈爱怜悯你。

这是你的救赎主耶和华说的。

9“这就像挪亚的时代,

我怎样起誓不让挪亚时代的洪水再淹没大地,

我也照样起誓不再向你发怒,

也不再斥责你。

10大山可以挪开,

小山可以迁移,

但我的慈爱必不离开你,

我平安的约也不会更改。

这是怜悯你的耶和华说的。

11“困苦不堪、饱经风雨、

得不着安慰的城啊,

我要以彩石作你的地基,

用蓝宝石来建造你,

12用红宝石建你的城楼、

水晶造你的城门、

宝石建你的城墙。

13你的儿女都必受耶和华的训诲,

安享太平。

14你必因公义而坚立,

再不会受欺压,

也不会担惊受怕,

因为恐惧不会临近你。

15倘若有人来攻打你,

那必不是我的旨意。

攻打你的必然失败。

16看啊,是我造了扇旺炭火、

铸造合用兵器的铁匠,

是我造了毁灭者。

17为攻击你而造的兵器必不能奏效,

你必驳倒控告你的人。

这是耶和华众仆人的产业,

是我给他们的胜利54:17 胜利”或译“公义”。

这是耶和华说的。”

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 54:1-17

Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma

154:1 a Is 49:20 b 1Sa 2:5; Bag 4:27*“Yimba ggwe omugumba

atazaalanga;

tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala

ggwe atalumwanga kuzaala.

Kubanga ggwe eyalekebwa

ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,”

bw’ayogera Mukama.

254:2 a Is 49:19-20 b Kuv 35:18; 39:40“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,

tokwata mpola;

nyweza enkondo zo.

354:3 Is 49:19Kubanga olisaasaanira

ku mukono gwo ogwa ddyo

era n’ogwa kkono,

n’ezzadde lyo lirirya amawanga,

era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.

454:4 Is 51:7“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.

Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.

Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,

n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.

554:5 a Yer 3:14 b Is 48:17 c Is 6:3Kubanga Omutonzi wo ye balo,

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo,

Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.

654:6 a Is 49:14-21 b Is 50:1-2; 62:4, 12Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,

ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;

omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”

bw’ayogera Katonda wo.

754:7 a Is 26:20 b Is 49:18“Nakulekako akaseera katono nnyo;

naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.

854:8 a Is 60:10 b nny 10Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata

nakweka amaaso gange okumala ekiseera,

naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”

bw’ayogera Mukama Katonda,

Omununuzi wo.

954:9 a Lub 8:21 b Is 12:1“Kubanga gye ndi,

bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.

Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,

bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.

1054:10 a Zab 46:2 b Is 51:6 c Zab 89:34 d nny 8Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo

naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana

so n’endagaano yange ey’emirembe

teriggyibwawo,”

bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.

Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja

1154:11 a Is 14:32 b Is 28:2; 29:6 c Is 51:19 d 1By 29:2; Kub 21:18 e Is 28:16; Kub 21:19-20Mukama agamba nti,

“Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;

laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,

emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.

12Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,

n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,

ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.

1354:13 a Yk 6:45* b Is 48:18N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;

n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.

1454:14 Is 9:4Olinywezebwa mu butuukirivu

era toojoogebwenga,

kubanga tolitya,

onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.

1554:15 Is 41:11-16Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi.

Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.

16Laba nze natonda omuweesi,

awujja amanda agaliko omuliro

n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo.

Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.

1754:17 a Is 29:8 b Is 45:24-25Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,

era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.

Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,

n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.