以赛亚书 33 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 33:1-24

主必拯救锡安

1你们这些毁灭别人、自己还未被毁灭的人有祸了!

等你们毁灭完了,就毁灭你们。

你们这些欺诈别人、自己还未被欺诈的人有祸了!

等你们欺诈完了,就欺诈你们。

2耶和华啊,求你施恩给我们,

我们等候你。

求你每天早晨都作我们的力量,

在艰难的时候拯救我们。

3你大喊一声,列邦都奔逃;

你一站起来,列国都溃散。

4他们的战利品必被拿走,

就像谷物被蝗虫吃掉一样;

人们像蝗虫一样扑向他们的战利品。

5耶和华受尊崇,

因为祂住在高天之上,

祂必使锡安充满公平和公义。

6祂必成为你一生的保障,

使你得到丰盛的救恩、智慧和知识。

敬畏耶和华是你最大的宝藏。

7看啊,他们的勇士在街上哀号,

求和的使者悲痛哭泣。

8大路荒凉,行人绝迹。

条约被废,城邑被弃,

人民遭藐视。

9地上一片荒凉,

黎巴嫩的树木枯干,

沙仑好像旷野,

巴珊迦密的树叶凋零。

10耶和华说:

“我现在要施展大能,

我必受尊崇。

11你们所谋的像糠秕,

所行的如碎秸,毫无价值。

你们的气息会像火一样烧灭你们自己。

12列邦必被烧成灰烬,

好像割下的荆棘被火焚烧。”

13远方的人啊,

要听一听我的作为。

近处的人啊,

要承认我的大能。

14锡安的罪人恐惧,

不敬虔的人颤抖。

他们说:“我们谁能住在烈火中呢?

谁能住在永不止息的火焰里呢?”

15秉公行义、说话正直、

憎恶不义之财、不受贿赂、

掩耳不听害人之谋、

闭眼不看邪恶之事的人,

16才可以住在高处。

他们的堡垒是坚固的磐石,

他们必不会绝粮断水。

17你们必目睹君王的荣美,

看到辽阔的土地,

18你们必想起以往可怕的情景,

说:“登记人口的在哪里?

收贡银的在哪里?

数城楼的在哪里?”

19你们再也看不见那些残暴之徒了,

他们的言语奇怪、陌生、

无法听懂。

20你们看锡安——我们守节期的城!

你们必看见耶路撒冷成为安宁之地,

像一个永不挪移的帐篷,

橛子永不拔出,

绳索也不会断。

21在那里,威严的耶和华必与我们同在。

那里必如巨川大河流经之地,

敌人的大小船只都无法穿过。

22因为耶和华是我们的审判官,

是我们的立法者,

是我们的君王,

是我们的拯救者。

23敌人的帆索松开,

桅杆晃动不稳,

风帆无法扬起。

那时,大量的战利品将被瓜分,

甚至瘸子都分得一份。

24耶路撒冷必没有居民说:

“我生病了”,

城中百姓的罪恶必得到赦免。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 33:1-24

133:1 a Kbk 2:8; Mat 7:2 b Is 21:2Zikusanze ggwe omuzikiriza

ggwe atazikirizibwanga.

Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,

ggwe, gwe batalyangamu lukwe,

bw’olirekaraawo okuzikiriza,

olizikirizibwa.

Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,

balikulyamu olukwe.

233:2 a Is 40:10; 51:9; 59:16 b Is 25:9Ayi Mukama tusaasire,

tukuyaayaanira.

Obeere amaanyi gaffe buli makya,

obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.

333:3 Is 59:16-18Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka,

bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.

4Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento,

era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.

533:5 a Zab 97:9 b Is 28:6 c Is 1:26Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu,

alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.

633:6 a Is 51:6 b Is 11:2-3; Mat 6:33Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo,

nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya.

Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.

733:7 2Bk 18:37Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka,

n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.

833:8 Bal 5:6; Is 35:8Enguudo ennene tezitambulirwako,

tewali azitambulirako.

Endagaano yamenyebwa,

n’abajulizi baayo banyoomebwa,

tewali assibwamu kitiibwa.

933:9 a Is 3:26 b Is 2:13; 35:2 c Is 24:4Ensi ekungubaga era eyongobera,

Lebanooni aswadde era awotose;

Saloni ali ng’eddungu,

ng’asuula Basani ne Kalumeeri.

1033:10 Zab 12:5; Is 2:21Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka,

kaakano nnaagulumizibwa,

kaakano nnaayimusibwa waggulu.

1133:11 a Zab 7:14; Is 59:4; Yak 1:15 b Is 26:18 c Is 1:31Ofuna olubuto olw’ebisusunku,

ozaala ssubi,

omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.

1233:12 Is 10:17Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa,

balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”

1333:13 a Zab 48:10; 49:1 b Is 49:1Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze.

Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.

1433:14 a Is 32:11 b Is 30:30; Beb 12:29Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde,

okutya kujjidde abatalina Katonda.

“Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo?

Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”

1533:15 a Is 58:8 b Zab 15:2; 24:4 c Zab 119:37Atambulira mu butuukirivu,

n’ayogera ebituufu,

oyo atatwala magoba agava mu bubbi,

n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi,

aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta,

n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,

1633:16 a Is 25:4 b Is 26:1 c Is 49:10ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu,

n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi.

Aliweebwa emmere,

n’amazzi tegalimuggwaako.

1733:17 a Is 6:5 b Is 26:15Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,

ne galaba ensi eyeewala.

1833:18 Is 17:14Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,

“Omukungu omukulu ali ludda wa?

Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo?

Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”

1933:19 Is 28:11; Yer 5:15Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,

abantu ab’olulimi olutamanyiddwa,

olulimi olutategeerekeka.

2033:20 a Is 32:18 b Zab 46:5; 125:1-2Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,

amaaso go galiraba Yerusaalemi,

ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa

enkondo zaayo tezirisimbulwa,

newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.

2133:21 Is 41:18; 48:18; 66:12Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe

era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi.

Temuliyitamu lyato

newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.

2233:22 a Is 11:4 b Is 2:3; Yak 4:12 c Zab 89:18 d Is 25:9Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,

Mukama y’atuwa amateeka,

Mukama ye Kabaka waffe,

y’alitulokola.

2333:23 a 2Bk 7:8 b 2Bk 7:16Emiguwa gyo gisumulukuse

n’omulongooti si munywevu,

n’ettanga si lyanjuluze.

Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu,

n’abalala balitwala eby’omunyago.

2433:24 a Is 30:26 b Yer 50:20; 1Yk 1:7-9Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,”

n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.