以西结书 46 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 46:1-24

君王与节期

1“主耶和华说,‘圣殿内院的东门在平时工作的六日内都要关闭,只在安息日和朔日才打开。 2在这些日子,君王要从东门穿过门廊通道进入内院,站在门框旁边。祭司要为他献燔祭和平安祭。他在入口的门槛那里敬拜,然后离去。这门要到晚上才关闭。 3在安息日和朔日,以色列人要站在这门口敬拜耶和华。 4君王在安息日献给耶和华的燔祭应是羊羔六只、公绵羊一只,都要毫无残疾。 5至于同献的素祭,一只公绵羊要同献十公斤细面粉,与羊羔同献的素祭则可随意奉献。每十公斤细面粉要加四升油。 6要在朔日献公牛犊一头、羊羔六只、公绵羊一只,都要毫无残疾。 7他也要预备素祭,每一头公牛犊要同献十公斤细面粉,公绵羊也是一样。与羊羔同献的素祭则可随意奉献。每十公斤细面粉要加四升油。 8君王从门廊进去,也要从原路出来。

9“‘以色列人在节期进去敬拜耶和华的时候,从北门进去的要从南门出来,从南门进去的要从北门出来。谁都不可回头从进去的门出来,必须从对面的门出来。 10在这些节期君王应和百姓一同进殿敬拜,百姓离开的时候,君王也要一同离开。

11“‘每逢节期和特定的圣会,要有与祭牲同献的素祭,每头公牛献十公斤细面粉,公绵羊也是一样,与羊羔同献的素祭则可以随意奉献。每十公斤细面粉要加四升油。 12倘若君王自愿向耶和华献燔祭或平安祭,便要为他打开东门。他献的燔祭或平安祭要与安息日所献的一样。他献完后就从东门出去,门也跟着关闭。

13“‘每天早晨,你们要献给耶和华一只毫无残疾的一岁羊羔为燔祭, 14同献的素祭是一点七公斤细面粉,调上一点三升油。献给耶和华的这种素祭是永久不变的律例。 15所以,每天早晨都要预备羊羔、素祭和油,作为日常献的燔祭。

16“‘主耶和华说,如果君王把一部分产业赐给他儿子,这产业便归了他儿子,由他儿子的后代继承。 17如果君王把一部分产业赐给他的仆人,他的仆人在得到自由之前可以拥有这产业,到他自由的那年46:17 自由的那年”即“禧年”,参见利未记25:8-17,这份产业仍要归还给君王,因为君王的产业只能由他的后代继承。 18君王不可驱逐百姓离开他们的土地,强夺他们的产业。他必须把自己拥有的产业赐给儿子,免得我的子民四散,失去自己的产业。’”

19然后,那人领我从大门旁边的入口来到圣所北面的祭司圣屋,让我看圣屋西边的地方。 20他对我说:“这是祭司煮赎过祭牲、赎罪祭牲和烤素祭的地方。他们在这里烤煮,免得把圣肉带到外院,以致把圣洁传到百姓身上。”

21他又领我到外院,巡察外院的四个角落。我看见院中每个角落都有一个小庭院, 22每个庭院的四周都有围墙,长二十米,宽十五米,四角的庭院大小都一样。 23每个庭院的墙周围都有一排石屋,屋里有炉灶。 24他对我说:“这是圣殿的仆役替百姓煮祭物的地方。”

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 46:1-24

146:1 a Ez 40:19 b 1By 9:18 c nny 6; Is 66:23“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. 246:2 a nny 8 b nny 12; Ez 44:3Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. 346:3 Luk 1:10Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. 4Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo; 546:5 nny 11; Ez 45:24n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 646:6 nny 1; Kbl 10:10Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo; 746:7 Ez 45:24era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 846:8 a nny 2 b Ez 44:3Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga.

946:9 Kuv 23:14; 34:20“ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko. 1046:10 2Sa 6:14-15; Zab 42:4Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga. 1146:11 nny 5Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa.

1246:12 a Ez 45:17 b Lv 7:16 c nny 2“ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri Mukama, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.

1346:13 Kuv 29:38; Kbl 28:3“ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya. 1446:14 Dan 8:11Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri Mukama ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo. 1546:15 a Kuv 29:42 b Kuv 29:38; Kbl 28:5-6Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo.

1646:16 2By 21:3“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano. 1746:17 Lv 25:10Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka. 1846:18 Lv 25:23; Ez 45:8; Mi 2:1-2Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ”

1946:19 Ez 42:9Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba. 2046:20 a Lv 6:27 b Zek 14:20N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.”

21N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala. 22Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu. 23Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna. 24N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”