以西结书 39 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 39:1-29

预言歌革被灭

1“人子啊,你要发预言斥责歌革,告诉他,主耶和华这样说,‘米设土巴的首领歌革啊,我要与你为敌。 2我要把你调转过来,使你从遥远的北方来到以色列的山中。 3我要打掉你左手的弓,击落你右手的箭。 4你和你的军队以及与你同来的各国联军都要倒毙在以色列的山岭上,我要把你们的尸体给各种猛禽野兽作食物。 5你必倒毙在田野之间,因为我已经宣告。这是主耶和华说的。 6我要火烧安居在玛各和海岛的人,他们就知道我是耶和华。

7“‘我要让我的以色列子民知道我的圣名,不再让我的圣名被亵渎。这样列国就知道我是耶和华——以色列的圣者。 8我所说的日子将要来临,一切必然实现。这是主耶和华说的。

9“‘以色列各城邑的居民都要出去捡兵器当柴烧,其中包括大小的盾牌、弓箭、矛枪等,足够用七年。 10他们不必到田间拾柴,或到林中伐木,因为有兵器当燃料。他们要抢夺那些抢夺过他们的人,掳掠那些掳掠过他们的人。这是主耶和华说的。

11“‘那一天我要把以色列境内、通往盐海东边的旅客之谷作为歌革的坟地,埋葬他和他的军队。这坟地将截断行人的去路,因此人称那地方为哈们·歌革谷。 12以色列人要用七个月来埋葬他们,使那地方洁净。 13以色列人都来埋葬他们。我彰显荣耀的那天将是以色列人扬眉吐气的日子。这是主耶和华说的。 14七个月后,他们会派人不断巡视那里,埋葬遗留在地面上的尸体,使那里洁净。 15如果巡视的人发现了骸骨,便在旁边立一个标记,好叫负责埋葬的人将骸骨埋葬在哈们·歌革谷。 16他们要这样使那地方洁净。那里有一座城叫哈摩那39:16 哈摩那”意思是“大群”。。’

17“人子啊,主耶和华说,‘你要召唤各类飞鸟和野兽,让它们聚集起来,从四面八方来赴我为它们预备的祭宴,就是以色列山岭上的大祭宴,在那里吃肉饮血。 18它们将吃到勇士的肉,喝到君王的血,好像吃公绵羊、羊羔、公山羊、公牛这些巴珊的肥畜。 19它们要在我为它们设的祭宴中任意吃肉饮血,直到吃饱喝醉为止。 20它们在我的宴席上要饱餐战马、车夫、勇士和军人的肉。这是主耶和华说的。

21“‘我要在各国中彰显我的荣耀,使他们看见我如何用大能审判歌革22从那天起,以色列必知道我是他们的上帝耶和华。 23列国必知道以色列人被掳走是因为他们犯罪背叛我,以致我掩面不顾他们,把他们交在敌人手中,让他们丧身刀下。 24我照他们的污秽和罪恶报应他们,掩面不顾他们。’

25“因此,主耶和华说,‘我要使雅各被掳的人回到故土,我要怜悯全以色列人,热心维护我的圣名。 26当他们在故土安居,没有人来威胁他们的时候,他们就会忘记自己所有的羞辱和得罪我的恶事。 27我从列国把他们领回,从敌国把他们召回来的时候,我要借着他们向列国彰显我的圣洁。 28我让他们被掳到各国,将来必召集他们返回故土,不撇下一人。这样,他们便知道我是他们的上帝耶和华。 29我不再掩面不顾以色列人,因为我要把我的灵浇灌在他们身上。这是主耶和华说的。’”

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 39:1-29

139:1 Ez 38:2, 3“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi ku Googi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. 2Ndikukyusa nkukulule, era ndikuggya mu bukiikakkono obw’ewala ne nkutuma eri ensozi za Isirayiri. 339:3 a Kos 1:5 b Zab 76:3Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono; n’obusaale bwo obungi obubadde mu mukono gwo ogwa ddyo, ndibukusuuza. 439:4 nny 17-20; Ez 29:5; 33:27Oligwa ku nsozi za Isirayiri ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali naawe; ndibawaayo eri ensega eza buli ngeri n’eri buli nsolo enkambwe mufuuke emmere yaazo. 5Muligwa ku ttale, kubanga nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda. 639:6 a Ez 30:8; Am 1:4 b Yer 25:22Ndisindika omuliro ku Magogi ne ku abo ababeera mu bifo ebirimu emirembe ku lubalama lw’ennyanja; balyoke bamanye nga nze Mukama.

739:7 a Kuv 20:7 b Is 12:6; Ez 36:16, 23“ ‘Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isirayiri. 8Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako.

939:9 Zab 46:9“ ‘Abo ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma ne bakozesa ebyokulwanyisa ng’enku era balibikumako omuliro, engabo entono n’engabo ennene, emitego n’obusaale n’ebiti ebinene n’amafumu. Balibikozesa ng’enku okumala emyaka musanvu. 1039:10 Is 14:2; 33:1; Kbk 2:8Tekiribeetaagisa kutyaba nku ku ttale so tebalitema nku mu bibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balikozesa ng’enku. Balinyaga abo abaabanyaga, ne babba abo abaababba, bw’ayogera Mukama Katonda.

1139:11 Ez 38:2“ ‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky’okuziikamu mu Isirayiri mu kiwonvu ky’abatambuze ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Nnyanja ey’Omunnyo.39:11 wano boogera ku Nnyanja ey’Omunnyo Kiriziba ekkubo ly’abatambuze, kubanga Googi n’enkuyanja y’abantu be baliziikibwa eyo. Era kiriyitibwa ekiwonvu kya Kamonugoogi.

1239:12 Ma 21:23“ ‘Ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okutukuza ensi. 1339:13 Ez 28:22Abantu bonna ab’omu nsi balibaziika, era luliba lunaku lwa kujjukiranga era lwe lunaku lwe ndigulumizibwa, bw’ayogera Mukama Katonda. 14Wanaabangawo abasajja abanaapangisibwanga okukola omulimu ogw’okutukuza ensi. Abamu ku bo banaayitanga mu nsi nga bakola omulimu ogwo, n’abalala banaaziikanga emirambo gy’abo egirisigala kungulu.

“ ‘Oluvannyuma olw’emyezi omusanvu balitandika okunoonya abaafa. 15Bwe baliba nga bayita mu nsi, omu n’alaba eggumba ly’omuntu, aliteeka akabonero mu kifo ekyo, okutuusa abaziika bwe baliba bayita ne balaba akabonero ne baliziika mu kiwonvu kya Kamonugoogi. 16(Era ne mu kifo ekyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona). Bwe batyo bwe balitukuza ensi.’

1739:17 Kub 19:17“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Koowoola buli kika ky’ennyonyi n’ebisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe n’omusaayi. 1839:18 Zab 22:12; Yer 51:40Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani. 19Mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira ku ssaddaaka yange gye mbategekera. 2039:20 Kub 19:17-18Ku mmeeza yange mulirya embalaasi n’abazeebagala, wamu n’abalwanyi ab’amaanyi n’abasajja abaserikale aba buli kika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.

2139:21 Kuv 9:16; Is 37:20; Ez 38:16“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako. 22Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe. 2339:23 Is 1:15; 59:2; Yer 22:8-9; 44:23N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala. 2439:24 Yer 2:17, 19; 4:18; Ez 36:19Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange.

2539:25 a Yer 33:7; Ez 34:13 b Yer 30:18 c Is 27:12-13“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu. 2639:26 a 1Bk 4:25 b Is 17:2; Ez 34:28; Mi 4:4Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa. 2739:27 Ez 36:23-24; 37:21; 38:16Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi. 28Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu. 2939:29 Yo 2:28; Bik 2:17Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.”