以西结书 26 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 26:1-21

预言泰尔遭审判

1第十一年十一月一日,耶和华对我说: 2“人子啊,泰尔讥笑耶路撒冷说,‘哈哈!那通往列国的门户已遭破坏,城门向我大开,她已荒凉,我必兴盛。’ 3所以主耶和华说,‘泰尔啊,我要跟你作对,我要激起多国来攻击你,就像大海掀起波浪一样。 4他们要破坏你的墙垣,拆毁你的城楼。我要铲净你的瓦砾,使你成为光秃秃的磐石, 5在海中做晒网的地方,你必被列国掳掠,因为我已宣告。这是主耶和华说的。 6你陆地上的居民必死于刀下,这样你就知道我是耶和华。’

7“主耶和华说,‘我要使那王中之王的巴比伦尼布甲尼撒率领大队人马、战车和骑兵从北方来攻打泰尔8他必用刀剑杀戮你陆地上的居民,建垒筑台围困你,举着盾牌攻击你。 9他必用撞城锤击破你的城墙,用铁锤捣毁你的城楼。 10他人马众多,扬起的尘土足以遮盖你。他要攻破你的城池,进入你的城门,他的骑兵、军需车和战车要震动你的城墙。 11他战马的铁蹄必踏遍你的街道。他必挥刀屠杀你的居民,推倒你坚固的神柱, 12掠夺你的财物,摧毁你的城墙,夷平你华丽的房屋,把你的石头、木头和瓦砾抛到海里。 13我必使你的歌声消逝,琴音断绝。 14我要使你成为光秃秃的磐石,做晒网的地方,你必不得重建,因为我耶和华已经宣告。这是主耶和华说的。’

15“主耶和华对泰尔这样说,‘你倾覆的时候,你中间的杀戮声和受伤之人的惨叫声岂不震动沿海地区吗? 16沿海诸王因你而恐惧,都从宝座上下来,除去王袍,脱掉锦衣,坐在地上发抖。 17他们必为你唱哀歌说,

“‘你这海上众民居住的名城,

向来称雄海上,威震邻邦,

现在怎么被毁灭了呢?

18你倾覆的日子,

沿海各国都战战兢兢,

众海岛看见你被毁灭,

都心惊胆战。’

19“主耶和华说,‘我要使你成为荒无人烟的城邑,我要使海水上升淹没你。 20那时,我要使你与那些堕入阴间的人一同下到作古之人那里,使你与那些堕入阴间的人一同住在大地深处久已荒凉的地方,好让你荒无人烟,在活人之地毫无尊荣。 21我使你遭受可怕的灾难,你便不复存在,就是有人寻找你,也永远找不到,这是主耶和华说的。’”

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 26:1-21

Obunnabbi ku Ttuulo

1Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 226:2 a 2Sa 5:11; Is 23 b Ez 25:3“Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ 326:3 Is 5:30; Yer 50:42; 51:42Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo. 426:4 a Is 23:1, 11 b Am 1:10Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere. 526:5 a Ez 27:32 b Ez 29:19Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera Mukama Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga, 6era ebifo bye eby’oku lukalu kw’abeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze Mukama.

726:7 a Yer 27:6 b Ezr 7:12; Dan 2:37 c Ez 23:24; Nak 2:3-4“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene. 826:8 a Yer 6:6 b Ez 21:22Alitta n’ekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, n’ateekawo n’ebitindiro okutuuka ku bbugwe wo n’akwolekeza n’engabo. 9Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, n’amenyaamenya emirongooti gyo n’ebyokulwanyisa bye. 1026:10 Yer 4:13Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli. 1126:11 a Is 5:28 b Yer 43:13 c Is 26:5Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; n’abantu bo alibatta n’ekitala era n’empagi zo ez’amaanyi zirisuulibwa ku ttaka. 1226:12 Is 23:8; Ez 27:3-27; 28:8Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja. 1326:13 a Yer 7:34 b Is 14:11 c Yer 25:10; Kub 18:22Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate. 1426:14 Yob 12:14; Mal 1:4Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze Mukama njogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.’ 

1526:15 a Ez 27:35 b Yer 49:21“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe? 1626:16 a Yob 8:22 b Kos 11:10 c Ez 32:10Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde. 1726:17 a Ez 19:1; 27:32 b Is 14:12Balikukungubagira ne bakugamba nti,

“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,

ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.

Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,

watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.

1826:18 Is 23:5; 41:5; Ez 27:35Kaakano olubalama lw’ennyanja

lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,

era n’ebizinga ebiri mu nnyanja

bitidde olw’okugwa kwo.’

1926:19 Is 8:7-8“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka, 2026:20 a Ez 32:18; Am 9:2; Yon 2:2, 6 b Ez 32:24, 30kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu. 2126:21 Ez 27:36; 28:19; Kub 18:21Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.”