以西结书 20 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 20:1-49

以色列人的悖逆

1第七年五月十日,有几个以色列的长老来到我这里,坐在我面前。 2耶和华对我说: 3“人子啊,你要告诉他们,主耶和华这样说,‘你们是来求问我吗?我凭我的永恒起誓,我决不让你们求问。’ 4人子啊,你要审判他们?你要审判他们?要使他们知道他们祖先所做的可憎之事。 5你要告诉他们,主耶和华这样说,‘我拣选以色列那日,曾向雅各家的后裔起誓,又在埃及向他们显现,告诉他们我是他们的上帝耶和华。 6那日我向他们起誓,要带领他们离开埃及,到我为他们预备的奶蜜之乡,世上最佳美的地方。 7我告诉他们要除掉他们祭拜的可憎之物,不可让埃及的偶像玷污自己,因为我是他们的上帝耶和华。

8“‘然而,他们却背叛我,不听我的话,没有除去他们祭拜的可憎之物和埃及的偶像。我本想在埃及向他们发烈怒,倾倒我的怒火, 9但我没有这样做,以免我的名在他们寄居的列邦面前被亵渎。因为列邦亲眼看见我向以色列人显现,把他们带出埃及10于是,我带他们离开埃及,进入旷野, 11向他们颁布我的律例和典章,若有人遵守,就必活着。 12我又让他们遵守我的安息日,作为我与他们之间的记号,好叫他们知道是我耶和华使他们成为圣洁之民。

13“‘可是,以色列人却在旷野背叛我,不遵行我的律例和典章——遵行的人必活着,大肆亵渎我的安息日。我本想在旷野向他们发烈怒,灭绝他们。 14但我没有这样做,以免我的名在周围列邦面前被亵渎,因为列邦亲眼看见我向以色列人显现,把他们带出埃及15我在旷野曾向他们发誓,不带他们进入我赐给他们的那奶蜜之乡,那世上最佳美的地方, 16因为他们不遵守我的典章,不顺从我的律例,亵渎我的安息日,心恋偶像。 17但我怜悯他们,没有毁灭他们,没有在旷野把他们全部灭绝。

18“‘我在旷野曾对他们的子孙说,不要效法你们祖先的律例,不要遵守他们的规条,不要拜他们的偶像,以致玷污自己。 19我是你们的上帝耶和华,你们要恪守我的律例,谨遵我的典章, 20尊我定的安息日为圣日,作为我与你们之间的记号,使你们知道我是你们的上帝耶和华。

21“‘可是,他们的子孙却背叛我,不恪守我的律例,不谨遵我的典章——遵守的人必活着。他们亵渎我的安息日。我本想在旷野向他们发烈怒,倾倒我的怒气, 22但我没有这样做,以免我的名在周围列邦面前被亵渎,因为列邦亲眼看见我向以色列人显现,把他们带出埃及23我在旷野起誓要把他们驱散到列国,分散到列邦, 24因为他们不遵行我的典章,弃绝我的律例,亵渎我的安息日,眼睛恋慕他们祖先的偶像。 25所以,我任由他们效法无用的律例,遵守无法使人活着的规条, 26任由他们把自己的长子烧作祭物献给偶像,以致玷污自己——好使他们充满恐惧,这样他们便知道我是耶和华。’

27“人子啊,你要告诉以色列人,主耶和华这样说,‘你们的祖先背信弃义,亵渎了我。 28当我引领他们进入我曾起誓要赐给他们的土地时,他们在所见的每一处高山或密林献祭,焚烧馨香的祭牲,向偶像奠酒,惹我发怒。 29我问他们,你们所去的高处是什么地方?’从此,那高处一直叫巴麻

30“所以,你要告诉以色列人,主耶和华这样说,‘你们仍像你们祖先一样与可憎的偶像苟合,玷污自己吗? 31你们至今仍把自己的儿子烧作祭物献给偶像,玷污自己吗?以色列人啊,我会让你们求问吗?主耶和华说,我凭我的永恒起誓,我决不让你们求问。

32“‘你们说要像外族人一样去供奉木头石头,你们的想法绝不能实现!’

33“主耶和华说,‘我凭我的永恒起誓,我要发烈怒,伸出大能的臂膀治理你们。 34我要发烈怒,伸出大能的臂膀把你们从列国中领出来,从你们散居的列邦聚集你们, 35领你们进入外族人的旷野,面对面地审判你们, 36就像我从前在埃及的旷野审判你们的祖先一样。这是主耶和华说的。 37我要对你们严加管教20:37 对你们严加管教”希伯来文是“让你们在杖下经过”。,使你们遵守我的约。 38我要铲除你们中间叛逆和犯罪的人。虽然我要领他们离开寄居之地,他们却不能回以色列。这样,你们就知道我是耶和华。’

39“主耶和华说,‘你们以色列人若不听我的话,就去供奉你们的偶像吧!但将来你们必不再向偶像献祭物亵渎我的圣名!’

40“主耶和华说,‘在我的圣山,就是以色列的高山上,所有的以色列人都要事奉我,我要在那里悦纳你们,要求你们献上供物、最好的礼物和一切圣物。 41当我把你们从列国领出来,从你们散居的列邦聚集起来时,你们必如馨香之祭一样蒙我悦纳,我必当着列国的面在你们中间彰显我的圣洁。 42我要把你们带回我起誓应许给你们祖先的以色列,这样你们就知道我是耶和华。 43你们在那里会想起以往玷污自己的行径,并因自己的一切恶行而憎恶自己。’ 44主耶和华说,‘以色列人啊,我为了自己的名,没有照你们的邪恶行径惩罚你们,这样你们便知道我是耶和华。’”

45耶和华对我说: 46“人子啊,你要面向南方,说预言斥责南地的树林。 47你要对南地的树林说,‘你要听耶和华的话。主耶和华说,我要在你那里燃起火来,烧毁你所有的青树和枯树。这不熄的烈火要从南到北烧焦一切。 48这样,世人便知道这烈火是我耶和华点燃的,它绝不会熄灭。’” 49于是我说:“唉,主耶和华啊,他们在议论我说,‘这人岂不是在说比喻吗?’”

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 20:1-49

Isirayiri Omujeemu

120:1 Ez 8:1Awo mu mwaka ogw’omusanvu, mu mwezi ogwokutaano ku lunaku olw’ekkumi, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja okwebuuza ku Mukama Katonda, ne batuula wansi mu maaso gange.

2Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, mbategeeze nti, 320:3 a Ez 14:3 b Mi 3:7“Omwana w’omuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.’

420:4 Ez 16:2; 22:2; Mat 23:32“Olibasalira omusango? Olibasalira omusango ggwe omwana w’omuntu? Kale bategeeze ebikolwa eby’ekivve bajjajjaabwe bye baakola, 520:5 a Ma 7:6 b Kuv 6:7era bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu b’ennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze Mukama Katonda wammwe.” 620:6 a Kuv 3:8; Yer 32:22 b Ma 8:7; Zab 48:2; Dan 8:9Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y’e Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi. 720:7 a Kuv 20:4 b Kuv 20:2; Lv 18:3; Ma 29:18Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu eby’omuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala ab’e Misiri, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.” 

820:8 a Ez 7:8 b Is 63:10“ ‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri. 920:9 Ez 36:22; 39:7Naye olw’obutavumisa linnya lyange mu maaso g’amawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olw’erinnya lyange. 1020:10 Kuv 13:18Kyenava mbaggya mu Misiri ne mbatwala mu ddungu. 1120:11 Lv 18:5; Ma 4:7-8; Bar 10:5Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa n’amateeka gange, omuntu yenna bw’abigoberera abeere mulamu. 1220:12 Kuv 31:13Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.

1320:13 a Zab 78:40 b Ma 9:8 c Kbl 14:29; Zab 95:8-10; Is 56:6“ ‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu. 1420:14 Ez 36:23Naye olw’erinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso g’amawanga mwe nabaggya. 1520:15 Zab 95:11; 106:26Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga endala zonna obulungi, 1620:16 a Kbl 15:39 b Am 5:26kubanga baajeemera amateeka gange ne batagoberera biragiro byange, ne batatukuza Ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyasinzanga bakatonda abalala. 17Naye wakati mu ebyo byonna ne mbasaasira ne sibazikiriza, newaakubadde okubasaanyaawo mu ddungu. 1820:18 Zek 1:4Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, “Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala. 1920:19 a Kuv 20:2 b Ma 5:32-33; 6:1-2; 8:1; 11:1; 12:1Nze Mukama Katonda wammwe, mugoberere ebiragiro byange era mwegendereze okukwata amateeka gange, 2020:20 Yer 17:22n’okutukuza Ssabbiiti zange, era ebyo binaabanga kabonero wakati wange nammwe, olwo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe.”

21“ ‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu. 2220:22 Zab 78:38Naye neekuuma olw’erinnya lyange obutaliswaza mu maaso g’amawanga mwe nnali mbaggye. 2320:23 Lv 26:33; Ma 28:64Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi, 2420:24 a nny 13 b Ez 6:9 c Ez 6:16kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe. 2520:25 a Zab 81:12 b 2Bs 2:11Kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi n’amateeka ebitayinza kubabeezesaawo mu bulamu; 2620:26 2Bk 17:17ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ng’ekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze Mukama.’

2720:27 a Bar 2:24 b Ez 18:24“Kale omwana w’omuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola. 2820:28 a Zab 78:55, 58 b Ez 6:13Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa. 29Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’ ”

Okusala Omusango n’Okuzzibwa Obuggya

3020:30 a nny 43 b Yer 16:12“Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu eby’ekivve? 3120:31 a Ez 16:20 b Zab 106:37-39; Yer 7:31Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.

32“ ‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono. 3320:33 Yer 21:5Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ndibafuga n’omukono ogw’amaanyi, era ndigolola omukono gwange n’obusungu bungi. 3420:34 a 2Ko 6:17* b Is 27:12-13; Yer 44:6; Kgb 2:4Ndibaggya mu mawanga n’omukono ogw’amaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira. 3520:35 Yer 2:35Ndibaleeta mu ddungu ery’amawanga, era eyo gye ndibasalira omusango nga tutunuuliganye amaaso n’amaaso. 3620:36 Kbl 11:1-35; 1Ko 10:5-10Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera Mukama Katonda. 3720:37 a Lv 27:32 b Ez 16:62Ndibeetegereza nga muyita wansi w’omuggo gwange ne mbassaako envumbo y’endagaano yange. 3820:38 a Ez 34:17-22; Am 9:9-10 b Zab 95:11; Yer 44:14; Ez 13:9; Mal 3:3; Beb 4:3Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.

3920:39 a Yer 44:25 b Is 1:13; Ez 43:7“ ‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo n’okuvumisa erinnya lyange ettukuvu n’ebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala. 4020:40 a Is 60:7 b Is 56:7; Mal 3:4Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, n’ebibala ebibereberye eby’ebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa. 4120:41 a Ez 28:25; 36:23 b Ez 11:17Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa ak’evvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso g’amawanga. 4220:42 a Ez 38:23 b Ez 34:13; 36:24Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe n’omukono ogugoloddwa. 4320:43 Ez 6:9; 16:61Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olw’ebibi byonna bye mwakola. 4420:44 a Ez 36:22 b Ez 24:24Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibakola ng’erinnya lyange bwe liri so si ng’ebibi byammwe bwe biri, n’ebikolwa byammwe eby’obukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Obubaka eri Obukiikaddyo

45Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 4620:46 a Ez 21:2; Am 7:16 b Is 30:6; Yer 13:19“Omwana w’omuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali n’eri ekibira eky’ensi ey’Obukiikaddyo. 4720:47 Is 9:18-19; 13:8; Yer 21:14Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa. 4820:48 Yer 7:20Buli muntu aliraba nga nze Mukama abyokezza, era tegulizikizibwa.’ ”

4920:49 Mat 13:13; Yk 16:25Awo ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, banjogerako nti, ‘Oyo tanyumya ngero bugero.’ ”