以西结书 16 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 16:1-63

耶路撒冷的不忠

1耶和华对我说: 2“人子啊,你要使耶路撒冷知道她的可憎行径。 3你要告诉她,主耶和华这样对她说,‘你祖居迦南,生于迦南。你的父亲是亚摩利人,母亲是人。 4你出生时没人剪断你的脐带,没人用水洗你的身体,用盐擦净你,用布包裹你。 5没有人可怜你,同情你,为你做以上的事。你生下来便遭人厌恶,被扔在野外。

6“‘我从你旁边经过,见你在血泊中挣扎,便对血泊中的你说,活下去! 7我使你像田间的植物一样茁壮生长。你渐渐发育成熟,长得亭亭玉立,双乳丰满,秀发垂肩,但仍然赤身露体。

8“‘后来我又从你旁边经过,见你正值少女怀春,我便用衣襟遮盖你的身体,向你起誓,与你定下婚约,你便属于我。这是主耶和华说的。 9我用水洗净你身上的血污,给你涂上馨香的油, 10穿上锦绣的衣裳和海狗皮的鞋,披上细麻衣和丝绸外袍。 11我用首饰来装扮你,给你戴上手镯、项链、 12鼻环、耳环和华冠。 13这样,你戴的是金银首饰,穿的是绫罗绸缎,吃的是细面粉、蜂蜜和油。你变得美艳绝伦,晋升为王后。 14你的美貌名扬四方,因为我给你的华贵使你美貌无比。这是主耶和华说的。

15“‘你却仗着自己的美貌和名声纵情淫乱,与所有过路的人苟合。 16你用自己的衣服在拜偶像的地方结彩,在那里行淫。这样的事真是空前绝后! 17你用我给你的金银首饰为自己制造男人的像,与他们苟合。 18你给他们穿上锦绣衣服,把我给你的膏油和香料供奉他们。 19你把我赐你吃的细面粉、油和蜂蜜作为馨香的供物奉献在他们面前。这是主耶和华说的。 20你还把你给我生的儿女烧作燔祭献给偶像。难道你淫乱还不够吗? 21你竟屠杀我的儿女,把他们焚烧献给偶像。 22你做这一切可憎、淫乱的事,忘记了你幼年赤身露体,在血泊中挣扎的日子。

23“‘主耶和华说,你有祸了!你有祸了!你不但做了这些恶事, 24还为自己筑祭坛,在各广场建高高的神庙。 25你在街头巷尾建高高的神庙,糟蹋自己的美貌。你向每一个过路的人投怀送抱,纵情淫乱, 26甚至与放纵情欲的邻邦埃及人苟合,激起我的愤怒。 27看吧,我要伸手攻击你,削减你的口粮,把你交给憎恨你的非利士人,任他们宰割。他们会为你的淫荡行为感到羞耻。 28你欲海难填,又跟亚述人行淫,但仍不满足, 29于是又跟那商贾之地的迦勒底人行淫,但仍不满足。

30“‘主耶和华说,你的心败坏至极,简直就像不知羞耻的娼妓, 31因为你在街头巷尾筑祭坛,在广场建高高的神庙,甚至不收淫资,实在连妓女都不如。 32你这荡妇,宁愿跟外人淫乱,也不爱自己的丈夫。 33妓女接受淫资,你却送礼物给所有的情人,引诱他们从四方前来跟你淫乱。 34你卖淫不同于别的妓女,没有人给你淫资,你倒贴钱给人,你真是与众不同。

主对耶路撒冷的审判和应许

35“‘你这淫妇,要听耶和华的话。 36主耶和华说,你放纵情欲,赤身露体地与众情人苟合。你祭拜一切可憎的偶像,把自己儿女的血献给它们。 37因此,我要把你所爱和所恨的情人都聚集起来,从四方攻击你,让你赤裸裸地显露在他们面前,让他们看到你赤身露体。 38我要惩罚你,像惩罚淫乱和杀人的妇女一样。我要把烈怒和义愤倒在你身上,报应你杀人流血的罪。 39我要把你交在你的情人手里。他们必拆毁你的祭坛,夷平你高高的神庙,剥去你的衣裳,夺走你的珠宝,留下你赤身露体。 40他们要聚众攻击你,用石头打你,用刀剑砍碎你, 41烧毁你的房屋,在众妇女面前审判你。我要阻止你的淫乱行为,使你不再倒贴钱给情人。 42这样,我的烈怒才会平息,我的义愤才会消除,我才会平静下来,不再发怒。 43因为你忘记了幼年的日子,做这些事来惹我发怒,我要照你的所作所为报应你。因为你不仅行一切可憎的事,还放荡淫乱。这是主耶和华说的。

44“‘好说俗语的人都会讥讽你说,有其母必有其女。 45你和你母亲及姊妹如出一辙,都厌弃自己的丈夫和儿女。你母亲是人,你父亲是亚摩利人。 46你姐姐是撒玛利亚,她和她的女儿们住在你的北面。你妹妹是所多玛,她和她的女儿们住在你的南面。 47你不仅追随她们可憎的行径,还很快超过了她们。 48我凭我的永恒起誓,与你妹妹所多玛和她女儿们相比,你和你女儿们的行径有过之而无不及。这是主耶和华说的。 49看啊,你妹妹所多玛和她的女儿们傲慢狂妄,安逸饱足,对穷困的人漠不关心。 50她们心骄气傲,在我面前做可憎的事,我看见后便除掉了她们。 51撒玛利亚的罪还不及你的一半,你做的事比她们做的更可憎,以致与你相比,你的姊妹倒显得公义了。 52既然你帮了你的姊妹,使她们显得公义,你就蒙受羞辱吧!因为你犯的罪比你姊妹犯的罪更可憎,以致她们显得比你更公义。因此,你就自取其辱,抱愧蒙羞吧!

53“‘然而,我要使所多玛撒玛利亚及她们的女儿们复兴,并使你一同复兴, 54让你自取其辱,深感羞愧,因为你的一切恶行使她们反得安慰。 55你姊妹所多玛撒玛利亚和她们的众女儿,以及你和你的众女儿必恢复起初的光景。 56-57在你骄傲的日子,你的恶行还没有被揭露的时候,你觉得妹妹所多玛不屑一提。但现在,你却成为以东的众女儿和她四邻非利士的众女儿的笑柄。你周围的人都鄙视你。 58你要承担淫荡和可憎行径带来的惩罚。这是耶和华说的。

59“‘主耶和华说,你背誓毁约,我必照你的所作所为报应你。 60然而,我顾念在你幼年时与你所立的约,我要与你立一个永远的约。 61你接纳你姊妹的时候,会想起自己的所作所为并自觉羞愧。我要将你姊妹赐给你作女儿,我这样做并不是出于我与你所立的约。 62我要和你立约,使你知道我是耶和华。 63我要赦免你所有的罪,那时你想起这事会羞愧难当,不敢再开口。这是主耶和华说的。’”

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 16:1-63

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 216:2 Ez 20:4; 22:2“Omwana w’omuntu manyisa Yerusaalemi ebikolwa bye eby’ekivve, 316:3 a Ez 21:30 b nny 45oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Yerusaalemi: Wasibuka era n’ozaalibwa mu nsi ey’Abakanani; Kitaawo yali Mwamoli, ne nnyoko nga Mukiiti. 416:4 Kos 2:3Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kkundi, so tewanaazibwa na mazzi kutukula, newaakubadde okusiigibwa omunnyo, newaakubadde okubikkibwa mu ngoye. 5Tewali yakusaasira so tewali yakukwatirwa kisa kukukolera ebintu ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wanyoomebwa okuva ku lunaku kwe wazaalirwa.

616:6 Kuv 19:4“ ‘Bwe nnali nga mpitaayita ne nkulaba ng’osambagala mu musaayi gwo, ne nkugamba nti, “Ba mulamu!” 716:7 a Ma 1:10 b Kuv 1:7Ne nkukuza ne nkulabirira ng’ekimuli mu nnimiro. N’okula n’owanvuwa n’olabika bulungi nnyo mu maaso ng’amayinja ag’omuwendo omungi; n’osuna amabeere, n’enviiri zo ne zikula, ggwe eyali obwereere nga tobikkiddwako.

816:8 a Lus 3:9 b Yer 2:2; Kos 2:7, 19-20“ ‘Oluvannyuma lwa bbanga, bwe nnali nga mpitaayita, ne nkulengera ne ndaba ng’okuze era ng’otuuse okufumbirwa, ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo; ne nkulayirira ne nkola naawe endagaano, bw’ayogera Mukama Katonda, n’ofuuka wange.

916:9 Lus 3:3“ ‘Ne nkunaaza n’amazzi, ne nkunaazaako omusaayi, ne nkusiigako amafuta. 1016:10 a Kuv 26:36 b Ez 27:16 c nny 18Ne nkwambaza olugoye oluliko omudalizo, ne nkuwa n’engatto ez’amaliba; ne nkwambaza olugoye olwa linena ne nkubikkako engoye ez’omuwendo omungi. 1116:11 a Ez 23:40 b Is 3:19; Ez 23:42 c Lub 41:42Ne kunaanika amayinja ag’omuwendo omungi; ne nkuteeka ebikomo ku mukono, n’omukuufu mu bulago, 1216:12 a Is 3:21 b Is 28:5; Yer 13:18ne nkuteeka empeta mu nnyindo, n’eby’omu matu ku matu, ne nkutikkira n’engule ku mutwe. 1316:13 a 1Sa 10:1 b Ma 32:13-14; 1Bk 4:21Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi. 1416:14 a 1Bk 10:24 b Kgb 2:15Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olw’obulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bw’ayogera Mukama Katonda.

1516:15 a nny 25 b Is 57:8; Yer 2:20; Ez 23:3; 27:3“ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe. 1616:16 2Bk 23:7Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga. 1716:17 Ez 7:20Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo, 18n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo. 1916:19 Kos 2:8N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera Mukama Katonda.

2016:20 a Yer 7:31 b Kuv 13:2 c Zab 106:37-38; Is 57:5; Ez 23:37“ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira, n’obawaayo ng’ebiweebwayo eby’emmere eri bakatonda abalala. Obwenzi bwe wakola bwali tebumala? 2116:21 2Bk 17:17; Yer 19:5Watta abaana bange n’obawaayo ng’ebiweebwayo eri bakatonda abalala. 2216:22 a Yer 2:2; Kos 11:1 b nny 6Mu bikolwa byo byonna eby’ekivve n’obwenzi bwo, tewajjukira biseera eby’obuvubuka bwo, bwe wali obwereere nga toliiko bw’oli, era ng’osambagala mu musaayi gwo.

23“ ‘Zikusanze! Zikusanze, bw’ayogera Mukama Katonda. Mu bikolwa byo ebibi byonna, 2416:24 a nny 31; Is 57:7 b Zab 78:58; Yer 2:20; 3:2; Ez 20:28weezimbira ekifo ekigulumivu ne weekolera n’essabo mu buli kibangirizi ekigazi eky’ekibuga. 2516:25 nny 15; Nge 9:14Buli luguudo we lusibuka, wazimbawo essabo lyo, n’okolerawo obwenzi, ng’owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo. 2616:26 a Ez 8:17 b Ez 20:8; 23:19-21Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, n’oyongera ku bukaba bwo n’onsunguwaza. 2716:27 a Ez 20:33 b 2By 28:18Kyenava nkugololerako omukono gwange ne nkendeeza ku nsalo yo, ne nkuwaayo eri omululu gw’abalabe bo abawala b’Abafirisuuti, abeekanga olw’obukaba bwo. 2816:28 2Bk 16:7Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira. 2916:29 Ez 23:14-17N’oluvannyuma n’oyongerayo ebikolwa byo eby’obukaba mu Bakaludaaya, ensi ey’ebyamaguzi, naye era n’otamalibwa.

3016:30 Yer 3:3“ ‘Omutima gwo nga munafu, n’okwewaayo ne weewaayo okukola ebintu ebyo byonna, ne weeyisa ng’omwenzi ow’amawaggali ateefiirayo. 3116:31 nny 24Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, n’oteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ng’omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.

32“ ‘Ggwe omukazi omwenzi eyeegomba abatambuze okusinga balo! 3316:33 a Is 30:6; 57:9 b Kos 8:9-10Buli mwenzi afuna empeera, naye ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, ng’obagulirira okujja gy’oli okuva buli wamu olw’obwenzi bwo. 34Era mu bikolwa byo eby’obwenzi tofaanana ng’abalala; tewali akusindika kukola bwenzi. Oli wanjawulo okuva ku balala kubanga osasula empeera, naye ate nga tewali akusasula.

35“ ‘Kale nno, wulira ekigambo kya Mukama ggwe omwenzi. 3616:36 Yer 19:5; Ez 23:10Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo, 3716:37 Yer 13:22kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo. 3816:38 a Ez 23:45 b Lv 20:10; Ez 23:25Ndikusalira omusango ne nkuwa ekibonerezo ng’eky’abakazi abenzi n’abo abayiwa omusaayi, ne nkuleetako omusaayi ogw’ekiruyi n’obuggya. 3916:39 Ez 23:26; Kos 2:3N’oluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gw’abaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala eby’omuwendo byo, ne bakuleka ng’oli bukunya. 4016:40 Yk 8:5, 7Balisendasenda enkuyanja y’abantu, ne bakukuba amayinja, ne bakutemaatema obufiififi n’ebitala byabwe. 4116:41 a Ma 13:16 b Ez 23:10 c Ez 23:27, 48Balyokya amayumba go ne bakubonereza mu maaso g’abakyala abangi, era ndikulesaayo ebikolwa byo eby’obwenzi so tolisasula baganzi bo mpeera. 4216:42 Is 54:9; Ez 5:13; 39:29N’oluvannyuma obusungu bwange bulikendeera, n’obuggya bwange bulikuvaako, era ndiba mukkakkamu, nga sirina busungu.

4316:43 a Zab 78:42 b Ez 22:31 c nny 22; Ez 11:21“ ‘Kubanga tojjukira biseera eby’obuvubuka bwo, n’onnyiiza n’ebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olw’ebikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna eby’ekivve?

44“ ‘Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, “Nnyina ne muwala we batyo.” 4516:45 Ez 23:2Oli muwala wa nnyoko ddala, eyanyooma bba n’abaana be, era oli mwannyina ddala owa baganda bo abanyooma ba bbaabwe n’abaana baabwe. Nnyoko yali Mukiiti, kitaawo nga Mwamoli. 4616:46 Lub 13:10-13; Ez 23:4Mukulu wo yali Samaliya eyabeeranga ne bawala be ku luuyi lwo olw’Obukiikakkono, ne muto wo ne bawala be nga babeera ku luuyi lwo olw’Obukiikaddyo, era nga ye Sodomu. 4716:47 2Bk 21:9; Ez 5:7Tewakoma ku kugoberera ngeri zaabwe kyokka, n’okukoppa ebikolwa byabwe eby’ekivve, naye waayitawo ebbanga ttono engeri zo zonna ne zisukka ku zaabwe obubi. 4816:48 Mat 10:15; 11:23-24Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaatuuka ku ssa, ggwe ne bawala bo kwe mwatuuka.

4916:49 a Lub 13:13 b Zab 138:6 c Ez 18:7, 12, 16; Luk 12:16-20“ ‘Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu. 5016:50 Lub 18:20-21; 19:5Baali baamalala, era baakola ebikolwa eby’ekivve mu maaso gange, kyennava mbaggyawo nga bwe nasiima. 5116:51 Yer 3:8-11So ne Samaliya teyatuuka awo; wakola ebikolwa eby’ekivve okusinga ne bwe baakola, era n’oleetera baganda bo okulabika ng’abatuukirivu mu ebyo byonna by’okola. 52Kaakano naawe k’ojjule ensonyi, kubanga owolereza baganda bo, ate n’ebibi bye wakola biswaza okusinga ebyabwe, kyebaliva balabika nga batuukirivu okukusinga. Kyonoova oswala, ne weetikka obuswavu bwo, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ng’abatuukirivu.

5316:53 Is 19:24-25“ ‘Wabula ndizzaawo obugagga bwa Sodomu ne bawala be, n’obwa Samaliya ne bawala be, ate ne nzizaawo n’obubwo, 5416:54 Yer 2:26; Ez 14:22olyoke weetikke obuswavu bwo, oswale mu maaso gaabwe olw’ebyo byonna bye wakola ng’obawooyawooya. 5516:55 Mal 3:4Baganda bo, Sodomu wamu ne bawala be, ne Samaliya wamu ne bawala be baliddayo nga bwe baali edda, ate naawe oliddayo n’obeera nga bwe wali edda. 56Lwaki muganda wo Sodomu teyayogerwako ku lunaku olw’amalala go, 5716:57 2Bk 16:6okwonoona kwo nga tekunnabikkulwa? Kaakano ofuuse kyakusekererwa eri abawala ab’e Busuuli ne baliraanwa be bonna, n’eri abawala aba Bufirisuuti, abo bonna abakwetoolodde abakunyooma. 5816:58 Ez 23:49Olibonerezebwa olw’obukaba bwo n’ebikolwa byo eby’ekivve, bw’ayogera Mukama Katonda.

5916:59 Ez 17:19“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikukola nga bwe kikusaanira, kubanga wanyooma ekirayiro kyange, bwe wamenya endagaano. 6016:60 Yer 32:40; Ez 37:26Naye ndijjukira endagaano gye nakola naawe mu biseera eby’obuvubuka bwo, era ndissaawo endagaano ey’emirembe n’emirembe. 6116:61 Ez 20:43Olwo olijjukira engeri zo, n’oswala bw’olitwala baganda bo abakusinga obukulu ne bato bo, ne mbankuwa babeere bawala bo, naye si lwa ndagaano yange naawe. 6216:62 Yer 24:7; Ez 20:37, 43-44; Kos 2:19-20Ndinyweza endagaano yange naawe, era olimanya nga nze Mukama Katonda, 6316:63 a Zab 65:3; 79:9 b Bar 3:19 c Zab 39:9; Dan 9:7-8n’oluvannyuma olw’okutangiririrwa, olijjukira ne wejjusa n’otaddayo kwasamya nate kamwa ko, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”