以斯帖记 7 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯帖记 7:1-10

哈曼被处死

1王带着哈曼去赴以斯帖王后的宴席。 2在这第二次宴会中,王在席间又问以斯帖:“以斯帖王后啊,你要什么?我必赐给你。你有何要求?就是半壁江山,也必为你成就。” 3以斯帖回答说:“我若得到王的恩宠,王若愿意,就请王把我的性命和我本族人的性命赐给我——这是我所求的。 4因为我和我本族的人都被卖了,我们将被铲除、杀光、灭尽。如果只是卖我们为奴为婢,我会闭口不语,因为那样的痛苦不值得来打扰王7:4 因为那样的痛苦不值得来打扰王”或译“但王的损失,敌人无法补偿”。。” 5亚哈随鲁王问以斯帖王后:“谁敢这样做?他在哪里?” 6以斯帖回答说:“敌人和仇家就是这恶人哈曼!”哈曼在王和王后面前十分惊恐。

7王大怒,离席去了御花园。哈曼见王定意要惩罚他,便留下来求以斯帖王后饶命。 8王从御花园回到席上,见哈曼伏在以斯帖所靠的榻上,便说:“他竟敢在宫中当着我的面侮辱王后吗?”王这话一出口,便有人蒙了哈曼的脸。 9服侍王的太监哈波拿说:“哈曼为那救驾有功的末底改做了一个二十三米高的木架,如今正立在哈曼家里。”王说:“把哈曼吊在上面!” 10于是,哈曼被吊在他为末底改预备的木架上,王的怒气这才平息。

Luganda Contemporary Bible

Eseza 7:1-10

Kamani Asalirwa ogw’Okufa

17:1 Lub 40:20-22; Mat 22:1-14Awo Kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ya Nnabagereka Eseza gye yateekateeka. 27:2 a Es 1:10 b Es 5:3 c Es 9:12Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”

37:3 Es 2:15Awo Eseza n’addamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bw’onoosiima, kino kye nsaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era n’abantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira. 47:4 Es 3:9Nze n’abantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu n’abakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”

5Awo Kabaka Akaswero n’abuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?” 6Awo Eseza n’addamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani n’atya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.

77:7 a Lub 34:7; Es 1:12 b 2Bk 21:18 c Es 6:13Awo Kabaka n’agolokoka ng’aliko ekiruyi, n’aleka wayini we, n’alaga ebweru mu nnimiro ey’omu lubiri. Kamani bwe yalaba nga Kabaka amaliridde okumubonereza, n’asigala emabega okusaba obulamu bwe eri Nnabagereka Eseza.

87:8 a Es 1:6 b Lub 39:14 c Lub 34:7 d Es 6:12Kabaka n’akomawo okuva mu nnimiro ey’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga, n’asanga Kamani ng’agudde ku ntebe ey’olugalamiriro Eseza kwe yali.

Kabaka ne yeekanga nnyo era n’akangula eddoboozi ng’agamba nti, “N’okukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?”

Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso7:8 Okubikka ku maaso g’omuntu kyategeezanga nti omuntu oyo asaliddwa omusango gwa kufa. ga Kamani. 97:9 a Es 1:10 b Es 5:14 c Zab 7:14-16; 9:16Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”

107:10 a Nge 10:28 b Es 9:25 c Dan 6:24Awo ne bawanika Kamani ku kalabba ke yali azimbidde Moluddekaayi, olwo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.