以斯帖记 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯帖记 6:1-14

王赐末底改尊荣

1那夜王睡不着觉,就吩咐人拿史书念给他听。 2刚好念到末底改揭发两位守门太监辟探提列谋害亚哈随鲁王的事, 3王便问:“末底改既行此事,可曾赐他什么尊荣和爵位吗?”服侍王的臣仆回答说:“没有赐他什么。” 4王问:“谁在院子里?”那时哈曼刚进到王宫外院,想请求王将末底改吊在他预备的木架上。 5服侍王的臣仆回答说:“是哈曼站在院子里。”王说:“让他进来。” 6哈曼进来后,王问他:“王愿意赏识一个人,该怎么做呢?”哈曼心想:“王愿意赏识的人不是我是谁呢?” 7于是,他就对王说:“王若愿意赏识一个人, 8可以拿来王穿过的袍子,牵来王骑过的戴冠的御马, 9交给王最尊贵的一位大臣,给王所愿意赏识的人穿上,让他骑着马在城中的广场上游行,并派人在他前面宣告,‘王愿意赏识谁,就会这样待他。’” 10王对哈曼说:“快去照你说的,把王袍和御马赐给在宫门供职的犹太末底改。你所说的一样也不可少。” 11于是,哈曼将袍子给末底改穿上,让他骑着马在城中的广场上游行,并在他前面宣告:“王愿意赏识谁,就会这样待他。”

12之后,末底改回到宫门那里,哈曼却悲伤地蒙着头匆匆回家去了。 13他将自己的遭遇详细告诉妻子细利斯和所有的朋友。他的谋士及其妻子细利斯对他说:“你开始在末底改面前败落。如果他是犹太人,你必胜不过他,终必在他面前败落。”

14他们正在谈论的时候,王的太监来催哈曼赶快去赴以斯帖预备的宴席。

Luganda Contemporary Bible

Eseza 6:1-14

Moluddekaayi Aweebwa Ekitiibwa

16:1 a Dan 2:1; 6:18 b Es 2:23; 10:2Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era n’alagira ekitabo eky’ebijjukizo eky’ebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge. 2Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.

36:3 Mub 9:13-16Kabaka n’abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw’ekyo?”

Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, “Tewali kintu kye yali aweereddwa.”

4Awo Kabaka n’abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olw’ebweru olw’oku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo eky’okuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.

5Amangwago abaweereza ne baddamu nti, “Kamani wuuno waali ayimiridde mu luggya.” Kabaka n’ayogera nti, “Mumukkirize ayingire.”

6Awo Kamani n’ayingira, Kabaka n’amubuuza nti, “Anaakolebwa ki omusajja Kabaka gw’asanyukira era gw’ayagala okuwa ekitiibwa?” Kamani n’alowooza mu mutima gwe nti, “Ani Kabaka gwe yandisanyukidde okumuwa ekitiibwa okusinga nze?” 7Kamani n’addamu Kabaka nti, “Omusajja Kabaka gw’asanyukira okumuwa ekitiibwa, 86:8 a Lub 41:42; Is 52:1 b 1Bk 1:33bamuleetere ebyambalo Kabaka bye yali ayambaddemu, n’embalaasi Kabaka gye yali yeebagadde atikkirweko engule ey’obwakabaka ku mutwe. 96:9 Lub 41:43Ebyambalo n’embalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, n’oluvannyuma omusajja oyo kabaka gw’ayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale n’embalaasi, era omulangira Kabaka gw’anaalonda amukulembere mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira waggulu nti, ‘Bw’atyo bw’anaakolebwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa!’ ”

10Awo Kabaka n’alagira Kamani nti, “Yanguwa ofune ebyambalo n’embalaasi nga bw’oyogedde, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako n’ekimu ku ebyo byonna by’oyogedde.”

116:11 Lub 41:42Awo Kamani n’addira ebyambalo, n’ayambaza Moluddekaayi, n’amwebagaza ku mbalaasi, era n’amukulembera mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira mu maaso ge nti, “Bw’atyo bw’akoleddwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa.”

126:12 2Sa 15:30; Yer 14:3, 4; Mi 3:7Oluvannyuma Moluddekaayi n’akomawo ku wankaaki wa Kabaka, naye Kamani n’ayanguwa n’addayo ewuwe, ng’anakuwadde era ng’abisse ku mutwe gwe, 136:13 a Es 5:10 b Zab 57:6; Nge 26:27; 28:18n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko.

Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.” 146:14 1Bk 3:15; Es 5:8Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba Kabaka ne batuuka, ne banguwa okutwala Kamani ku mbaga Eseza gye yali afumbye.