以弗所书 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以弗所书 6:1-24

父慈子孝

1你们为人子女的,要按主的旨意听从父母,这是理所当然的。 2因为第一条带着应许的诫命就是:“要孝敬父母, 3使你在世上蒙祝福、享长寿。” 4你们为人父母的不要激怒儿女,要照主的教导和警戒养育他们。

主仆之间

5你们做奴仆的,要战战兢兢、诚诚实实、怀着敬畏的心服从你们肉身的主人,就像服从基督一样。 6不要只做一些讨好人的表面工夫,要像基督的奴仆一样从心里遵行上帝的旨意。 7要甘心乐意地工作,像是在事奉主,不是在服侍人。 8要知道:不管是奴仆还是自由人,每个人所做的善事都会得到主的奖赏。 9你们做主人的也一样,要善待奴仆,不可威吓他们。要知道你们主仆同有一位在天上的主人,祂不偏待人。

上帝所赐的军装

10最后,你们要靠着主和祂的大能大力做刚强的人, 11要穿戴上帝所赐的全副军装,以便能够抵挡魔鬼的阴谋。 12因为我们争战的对象不是这世上的血肉之躯,而是在这黑暗世界执政的、掌权的、管辖的和天上属灵的邪恶势力。 13因此,你们要用上帝所赐的全副军装装备自己,好在邪恶的时代抵挡仇敌,到争战结束后依旧昂首挺立。 14务要站稳,用真理当作带子束腰,以公义当作护心镜遮胸, 15把和平的福音当作鞋子穿在脚上准备行动。 16此外,还要拿起信心的盾牌,好灭尽恶者一切的火箭。 17要戴上救恩的头盔,紧握圣灵的宝剑——上帝的话。 18要靠着圣灵随时多方祷告和祈求,警醒不怠地为众圣徒祷告。 19也请你们为我祷告,求上帝赐我口才,让我勇敢地把福音的奥秘讲解明白。 20我为传福音成了披枷带锁的使者。请你们为我祷告,使我能尽忠职守,放胆传福音。

问候

21至于我的近况,推基古会详细告诉各位。他是主内亲爱的弟兄和忠心的仆人。 22我特地派他去你们那里,好让你们知道我们的近况,并且叫他去安慰和鼓励你们。

23愿父上帝和主耶稣基督赐给各位弟兄姊妹平安、爱心和信心! 24愿所有忠贞地爱我们主耶稣基督的人都蒙恩典!

Luganda Contemporary Bible

Abaefeso 6:1-24

Abazadde n’abaana baabwe

16:1 Bak 3:20Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. 2“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: 36:3 Kuv 20:12Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. 46:4 a Bak 3:21 b Lub 18:19; Ma 6:7Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Abaddu ne bakama baabwe

56:5 a 1Ti 6:1 b Bak 3:22 c Bef 5:22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo. 6Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala. 76:7 Bak 3:23Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, 86:8 Bak 3:24nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi. 96:9 Yob 31:13, 14Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.

Ebyokulwanyisa bya Katonda

106:10 a 1Ko 16:13 b Bef 1:19Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 116:11 Bar 13:12Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 126:12 a Bef 1:21 b Bar 8:38 c Bef 1:3Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 146:14 a Is 11:5 b Is 59:17Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 156:15 Is 52:7nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 166:16 1Yk 5:4Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 176:17 a Is 59:17 b Beb 4:12Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 186:18 a Luk 18:1 b Mat 26:41; Baf 1:4nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.

196:19 a 1Bs 5:25 b Bik 4:29; 2Ko 3:12Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.

216:21 Bik 20:4Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola. 226:22 Bak 4:7-9Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.

236:23 Bag 6:16; 1Pe 5:14Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda.

24Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.