Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 90

卷四:诗篇90—106

上帝与世人

上帝的仆人摩西的祈祷。

1主啊,
你是我们世世代代的居所。
群山尚未诞生,
大地和世界还未形成,
从亘古到永远,你是上帝。
你叫人归回尘土,
说:“世人啊,归回尘土吧。”
在你眼中,
千年如一日,又如夜里的一更。
你像急流一般把世人冲走,
叫他们如梦消逝。
他们像清晨的嫩草,
清晨还生机盎然,
傍晚就凋谢枯萎。
你的怒气使我们灭亡,
你的愤怒使我们战抖。
你知道我们的罪恶,
对我们隐秘的罪了如指掌。
我们活在你的烈怒之下,
一生就像一声叹息飞逝而去。
10 我们一生七十岁,
强壮的可活八十岁,
但人生最美好的时光也充满劳苦和愁烦,
生命转瞬即逝,
我们便如飞而去。
11 谁明白你愤怒的威力?
有谁因为明白你的烈怒而对你心存敬畏呢?
12 求你教导我们明白人生有限,
使我们做有智慧的人。
13 耶和华啊,我还要苦候多久呢?
求你怜悯你的仆人。
14 求你在清晨以慈爱来满足我们,
使我们一生欢喜歌唱。
15 你使我们先前经历了多少苦难和不幸的岁月,
求你也赐给我们多少欢乐的岁月。
16 求你让仆人们看见你的作为,
让我们的后代看见你的威荣。
17 愿主——我们的上帝恩待我们,
使我们所做的亨通,
使我们所做的亨通。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 90

EKITABO IV

Zabbuli 90–106

Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.

1Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
    emirembe gyonna.
Ensozi nga tezinnabaawo,
    n’ensi yonna nga tonnagitonda;
    okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.

Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
    n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
Kubanga emyaka olukumi,
    gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
    oba ng’ekisisimuka mu kiro.
Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
    Ku makya baba ng’omuddo omuto.
Ku makya guba munyirivu,
    naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.

Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
    n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
    n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
    tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
    oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
    era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
    Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
    tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.

13 Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
    Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
    tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
    era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
    n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
    otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
    weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.