Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 78

上帝引导祂的子民

亚萨的训诲诗。

1我的百姓啊!
你们要听我的教导,
侧耳倾听我的话。
我要开口讲比喻,
道出古时的奥秘,
是我们所闻所知、世代流传下来的事。
我们不要在子孙面前隐瞒事实,
要把耶和华当受称颂的作为、
祂的权能和所行的奇事告诉下一代。
因为祂为雅各制定法度,
为以色列设立律法,
又吩咐我们的祖先把这些律法传给儿女,
好让他们也照样教导自己的子孙后代,
世代相传。
这样,他们就会信靠上帝,
遵行祂的命令,
不忘记祂的作为;
也不会像自己的祖先那样顽梗叛逆,
对上帝不忠,心怀二意。
以法莲人备上了弓箭,
却临阵逃命。
10 他们不遵守上帝的约,
拒绝遵行祂的律法。
11 他们忘记了祂的作为,
忘记了祂为他们所行的奇事。
12 祂曾在埃及,在琐安当着他们祖先的面行神迹。
13 祂把海水分开,
带领他们安然渡过;
祂使海水堆起如墙壁。
14 祂白天以云柱带领他们,
晚上用火柱引导他们。
15 祂在旷野劈开磐石,
供应他们丰沛的水源。
16 祂使水从磐石中滚滚流出,
如滔滔江河。
17 然而,他们仍旧犯罪,
在旷野反叛至高的上帝。
18 他们顽梗地试探上帝,
索要他们想吃的食物。
19 他们抱怨上帝,说:
“难道上帝可以在旷野摆宴席吗?
20 祂击打磐石,
水就涌出,流淌成河,
但祂能赐给我们——祂的子民食物和肉吗?”
21 耶和华听后大怒,
祂的怒火烧向雅各,
祂的怒气撒向以色列。
22 因为他们不相信上帝,也不信靠祂的拯救。
23 祂向穹苍发出命令,
又打开天门,
24 降下吗哪给他们吃,赐下天粮。
25 他们吃了天使的食物,
上帝赐给他们丰富的食物。
26 祂使空中刮起东风,
用大能引来南风,
27 使飞鸟像雨点一般降在他们当中,多如尘埃,
使他们有多如海沙的肉吃。
28 祂使飞鸟降落在他们营中的帐篷周围,
29 让他们尽情地吃,
遂了他们的心愿。
30 但是,他们还没有吃完,
肉还在口中的时候,
31 上帝就向他们发怒,
杀掉了他们当中最强壮的,
消灭了以色列的青年。
32 即使如此,
他们依旧犯罪,
不相信上帝奇妙的作为。
33 所以上帝使他们虚度一生,
让他们的岁月充满恐惧。
34 直到上帝击杀他们的时候,
他们才回转,诚心寻求上帝。
35 他们才想起上帝是他们的磐石,
至高的上帝是他们的救赎主。
36 他们却虚情假意,满口谎言。
37 他们不忠于祂,
也不信守祂的约。
38 但上帝充满怜悯,
赦免了他们的罪,
没有毁灭他们。
祂多次收住怒气,
没有完全发出祂的烈怒。
39 祂顾念他们不过是血肉之躯,
像一阵风转眼消逝。
40 他们在旷野屡屡反叛祂,
使祂伤心。
41 他们再三试探上帝,
惹以色列的圣者发怒。
42 他们忘记了祂的大能,
忘记了祂救他们脱离压迫的日子,
43 也忘记了祂在埃及所行的神迹,
在琐安的田野所行的奇事。
44 祂曾使江河溪流变成血,
以致无人能喝。
45 祂曾使成群的苍蝇吞没他们,
使青蛙毁灭他们。
46 祂将他们的五谷赏给蚱蜢,
让蝗虫吃尽他们的收成。
47 祂用冰雹毁坏他们的葡萄树,
用严霜毁坏他们的无花果树,
48 又用冰雹毁灭他们的牛群,
用闪电毁灭他们的牲畜。
49 祂把怒火、烈怒、愤恨和祸患倾倒在他们身上,
遣下一群降灾的天使。
50 祂的怒气尽发,
使他们被瘟疫吞噬,难逃一死。
51 祂击杀了埃及人所有的长子,
就是含帐篷中头生的儿子。
52 祂领出自己的子民,
好像领出羊群,
引领他们经过旷野,
53 使他们一路平安,免受惊吓,
大海却淹没了他们的仇敌。
54 祂带领自己的子民来到圣地的边界,
来到祂亲手为他们预备的山区,
55 从他们面前赶出外族人,
把外族人的土地分给他们,
作为他们的产业,
使以色列各支派安顿下来。
56 可是,他们仍旧试探上帝,
反叛至高者,不遵行祂的法度。
57 他们跟祖先一样背信弃义,
像断弓一样毫不可靠。
58 他们建造丘坛,惹祂发怒;
他们竖起神像,令祂愤怒。
59 上帝知道了他们的恶行,
怒不可遏,
彻底弃绝了以色列人。
60 祂离弃了设在示罗的圣幕,
就是祂在人间的居所。
61 祂任凭自己的约柜被人掳去,
让自己的荣耀落在敌人手中。
62 祂使自己的子民被刀剑杀戮,
向自己的产业大发怒气。
63 青年被烈火吞噬,
少女无法婚嫁。
64 祭司丧身刀下,
寡妇无法哭丧。
65 那时,主像从睡眠中醒来,
又如酒后醒来的勇士。
66 祂击退仇敌,
叫他们永远蒙羞。
67 祂丢弃了约瑟的子孙,
没有拣选以法莲支派。
68 祂拣选了犹大支派,
祂所喜爱的锡安山。
69 祂为自己建造高耸的圣所,
使它像大地一样长存。
70 祂拣选了祂的仆人大卫,
把他从羊圈中召来,
71 让他离开牧羊的生活,
去牧养祂的子民雅各的后裔,
牧养祂的产业以色列。
72 于是,大卫以正直的心牧养他们,
用灵巧的手带领他们。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 78

Oluyimba lwa Asafu.

1Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
    musseeyo omwoyo ku bye njogera.
Ndyogerera mu ngero,
    njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
ebintu bye twawulira ne tumanya;
    ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
Tetuubikisenga baana baabwe,
    naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
    n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
Yawa Yakobo ebiragiro,
    n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
    babiyigirizenga abaana baabwe,
ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
    n’abaana abalizaalibwa,
    nabo babiyigirize abaana baabwe,
balyoke beesigenga Katonda,
    era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
    naye bagonderenga ebiragiro bye.
Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
    omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
    ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
    naye ne badduka mu lutalo,
10 tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
    ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 Beerabira ebyo bye yakola,
    n’ebyamagero bye yabalaga.
12 Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
    mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 Ennyanja yajaawulamu,
    amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 Emisana yabakulemberanga n’ekire,
    n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 Yayasa enjazi mu ddungu,
    n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
    n’akulukusa amazzi ng’emigga.

17 Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
    ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
    nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
    “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 Weewaawo yakuba olwazi,
    amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
    Anaawa abantu be ennyama?”
21 Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
    omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
    n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 Kubanga tebakkiriza Katonda,
    era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 Naye era n’alagira eggulu;
    n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
    Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
    Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
    era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
    n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
    okwetooloola eweema zaabwe.
29 Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
    kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
    nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
    n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
    abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

32 Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
    newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
    n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
    ne beenenya ne badda gy’ali.
35 Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
    era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
    nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
    era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
    n’abasonyiwanga,
    n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
    n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
    ng’empewo egenda n’etedda!

40 Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
    ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 Ne baddamu ne bakema Katonda,
    ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
    wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
    n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
    ne batanywa mazzi gaagyo.
45 Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
    n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
    ne bulusejjera.
47 Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
    era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
    n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
    n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
    N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
    n’atabasonyiwa kufa,
    n’abasindikira kawumpuli.
51 Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
    nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
    n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
    ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
    ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 Yagobamu amawanga nga balaba,
    n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
    n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
    ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
    ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
    ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
    n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65 Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
    ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 N’akuba abalabe be ne badduka;
    n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
    n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 naye n’alonda ekika kya Yuda,
    lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
    ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 Yalonda Dawudi omuweereza we;
    n’amuggya mu kulunda endiga.
71 Ave mu kuliisa endiga,
    naye alundenga Yakobo, be bantu be,
    era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
    n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.

Notas al pie

  1. 78:60 Siiro kye kyali ekifo ekitukuvu awasinzibwanga edda mu biro bya Yoswa. Kyali mu bitundu bya Efulayimu wakati wa Beseri ne Sekemu. Essanduuko y’Endagaano yaterekebwanga eyo okutuusa mu biro bya Samwiri; kyokka Abafirisuuti baakizikiriza