Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 68

得胜的凯歌

大卫作的诗,交给乐长。

1愿上帝起来驱散祂的仇敌,
使恨祂的人四散奔逃。
愿你驱散他们,
如风把烟吹散。
愿恶人在上帝面前灭亡,
如蜡在火中熔化。
愿义人在上帝面前欢欣快乐,
愿他们高兴欢喜。
要歌颂上帝,
赞美祂的名,
要颂扬驾云而行的上帝。
祂的名字是耶和华,
要在祂面前欢喜快乐。
住在圣所的上帝是孤儿的父亲,寡妇的保护者。
祂使孤苦者有家,
让被囚者欢然脱离牢笼。
但叛逆者要住在干旱之地。
上帝啊,
你曾带领你的子民走过荒野。(细拉)
那时,在西奈山的上帝面前,
在以色列的上帝面前,
大地震动,诸天降雨。

上帝啊,你降下沛雨,
滋润你干旱的产业——以色列,
10 让你的子民得以安居在那里。
上帝啊,
你满怀恩慈地供养穷苦人。
11 主下达命令,
成群的妇女便奔走相告:
12 “众王和他们的军队逃走了,逃走了!”
以色列的妇女都在分战利品。
13 即使羊圈里的看羊人也披金戴银,
就像鸽子镀银的翅膀和金光闪闪的羽毛。
14 全能的上帝驱散了众王,
势如大雪洒落在撒们。
15 巴珊的山巍峨雄壮,群峰耸立。
16 崇山峻岭啊,
你们为何嫉妒地盯着上帝选为居所的山,
耶和华永远居住的地方呢?
17 上帝带着千千万万的战车从西奈山来到祂的圣所。
18 你升上高天时,
带着许多俘虏;
你接受了众人的礼物,
甚至叛逆者的礼物。
耶和华上帝就住在那里。
19 要称颂主,
称颂我们的救主上帝,
祂天天背负我们的重担。(细拉)

20 我们的上帝是拯救的上帝,
主耶和华救我们脱离死亡。
21 上帝必打碎仇敌的头颅,
敲破怙恶不悛者的脑袋。
22 主说:
“我要把他们从巴珊带回来,
从深海带回来,
23 好让你们的脚从他们的血泊中踩过,
你们的狗也可以吃他们的肉。”
24 上帝啊,你的队伍已经出现;
我的上帝,我的王啊,
你的队伍进了圣所,
25 歌唱的在前,奏乐的殿后,
摇手鼓的少女居中。
26 要在大会中赞美上帝,
以色列的会众都要赞美耶和华。
27 最小的便雅悯支派在前领路,
后面跟着大群的犹大首领,
还有西布伦和拿弗他利的首领。
28 上帝啊,求你施展你的权能;
上帝啊,求你像以前一样为我们彰显你的力量。
29 君王都带着礼物来到你耶路撒冷的圣殿。
30 求你斥责那芦苇中的野兽,
斥责成群的公牛和列邦的牛犊,
使他们俯首献上贡银。
求你驱散好战的列邦。
31 埃及的使节来朝见,
古实也要归降上帝。
32 世上的列国啊,
要向上帝歌唱,
你们要歌颂主,
33 歌颂凌驾在万古穹苍之上的主。
听啊,祂声如雷鸣。
34 你们要传扬上帝的大能,
祂的威荣普照以色列,
祂的权能彰显于穹苍。
35 上帝啊,你在圣所中令人敬畏。
以色列的上帝把力量和权能赐给祂的子民。
上帝当受称颂!

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

1Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
    ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 “Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
    abantu ne bagabana omunyago.
13 Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
    Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
    ebiwaawaatiro byalyo.”
14 Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
    ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
    ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
    Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
    Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 Bwe walinnyalinnya olusozi,
    ng’abanyage bakugoberera;
    abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
    bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
    kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
    ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
    n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

24 Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
    balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
    ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
    mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
    ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
    n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
    otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
    eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
    Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 Ababaka baliva e Misiri,
    ne Kuusi aligondera Katonda.

32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
    Mutendereze Mukama.
33 Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
    eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
    ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
    obuyinza bwe buli mu bire.
35 Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
    Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.