Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 47

至高的主宰

可拉后裔的诗,交给乐长。

1万民啊,你们要鼓掌,
向上帝高声欢呼!
因为至高者耶和华当受敬畏,
祂是普天下的大君王。
祂使列国降服于我们,
让列邦伏在我们脚下。
祂为我们选定产业,
就是祂所爱的雅各引以为荣的产业。(细拉)

在欢呼声中,上帝登上宝座;
在号角声中,耶和华登上宝座。
要颂赞,颂赞上帝!
要颂赞,颂赞我们的君王!
因为上帝是普天下的君王,
要向祂唱赞美的乐章。
祂坐在圣洁的宝座上治理列国。
列邦的首领聚集在一起,
要做亚伯拉罕之上帝的子民,
因为上帝是主宰天下的君王,
祂至高无上。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 47

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
    muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
    Ye Kabaka afuga ensi yonna.
Yatujeemululira abantu,
    n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
Yatulondera omugabo gwaffe,
    Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.

Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
    Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
Mutendereze Katonda, mumutendereze.
    Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
    mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.

Katonda afuga amawanga gonna;
    afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
    ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
    Katonda agulumizibwenga nnyo.

Notas al pie

  1. 47:6 Okutenderezebwa kwakolebwanga ne Siyofa, ejjembe eryafuuyibwanga okulangirira Omwaka Omuggya