Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 45

婚礼诗歌

可拉后裔作的训诲诗,也是婚礼上唱的情歌,交给乐长,调用“百合花”。

1我心中涌出美丽的诗章,
我要把它献给王,
我的舌头是诗人手上的妙笔。
你俊美无比,口出恩言,
因此上帝永远赐福给你。
伟大的王啊,
佩上你的宝剑,
你是何等尊贵、威严!
你威严无比,所向披靡,
捍卫真理和正义,
保护卑微的人。
愿你的右手彰显可畏的作为!
你的利箭刺穿敌人的心窝,
列国臣服在你脚下。
上帝啊,你的宝座永远长存,
你以公义的杖执掌王权。
你喜爱公义,憎恶邪恶,
因此上帝,你的上帝,
用喜乐之油膏你,
使你超过同伴。
你的衣袍散发出没药、沉香和肉桂的芬芳,
你陶醉在象牙宫的弦乐中。
众公主在你的贵客中,
戴俄斐金饰的王后站在你右边。
10 女子啊,
要侧耳倾听:不要再挂念家乡的父老,
11 王喜欢你的美貌,
你要敬重他,因他是你的主。
12 泰尔人必来送礼,
富人必来取悦你。
13 公主身穿金线衣,无比华贵。
14 她身披锦绣,
由侍女伴随前来见王,
15 她们欢喜快乐地进入王宫。
16 你的子孙将来要继承祖先的王位,
你要立他们在各地做王。
17 我要使你的名世代受尊崇,
万民必永远称谢你。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 45

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
    nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
    Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.

Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
    n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
    Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.

Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
    yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
    ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
    Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
    afuge amawanga.
Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
    n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
    noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
    n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
    Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
    mu mbiri zo ez’amasanga.
Mu bakyala bo mulimu abambejja;
    namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.

10 Muwala, wuliriza bye nkugamba:
    “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
    nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
    abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
    ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
    Emperekeze ze zimuwerekerako;
    bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
    ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
    olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
    Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.

Notas al pie

  1. 45:12 Kabaka w’e Tuulo ye kabaka eyasooka okukkiriza enju ya Dawudi okulya entebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Sulemaani yasigaza omukwano ogwo ne kabaka w’e Tuulo, era Tuulo kyali kibuga ky’aby’amaguzi kikulu ku Nnyanja Ennene eya Meditereniyaani.