上帝保护祂的子民
上圣殿朝圣之诗。
1信靠耶和华的人就像锡安山永不动摇。
2 群山怎样环绕耶路撒冷,
耶和华也怎样保护祂的子民,
从现在直到永远。
3 恶人必不能长久统治义人的土地,
免得义人也去行恶。
4 耶和华啊,求你善待行善的人,
善待心地正直的人。
5 耶和华必把那些偏行恶道的人与作恶的人一同赶走。
愿平安临到以色列。
1Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3 Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
okukola ebibi.
4 Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
bakolere ebirungi.
5 Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibe ku Isirayiri.