Chinese Contemporary Bible (Simplified)

腓立比书 4

保罗的劝勉

1我所亲爱、所想念的弟兄姊妹,你们就是我的喜乐,我的冠冕。我亲爱的弟兄姊妹,你们要靠主坚定不移。 我恳求友阿蝶和循都姬要在主里同心。 忠心的同工啊,请你帮助她们二人,因为她们曾与我、革利免和其他同工一起为福音辛劳,这些人的名字都记录在生命册上了。

你们要靠主常常喜乐!我再说,你们要喜乐! 要让众人都知道你们是谦和宽容的人。主快来了。 你们应该一无挂虑,凡事要借着祷告和祈求,以感恩的心将你们的需要告诉上帝。 这样,上帝那超越人所能理解的平安必在基督耶稣里保守你们的心思意念。

最后,弟兄姊妹,你们要思想一切真实、可敬、公义、纯洁、可爱、有好名声、有美德和值得赞许的事情。 你们从我身上学习、领受、看到和听到的,都要照着去行。这样,赐平安的上帝就必与你们同在。

致谢

10 我在主里真是非常喜乐,因为你们现在又一次关心我。其实你们向来都很关心我,只是没有机会。 11 我并非有缺乏才这样说,因为我已经学会在任何处境中都能知足。 12 我知道如何过贫穷的日子,也知道如何过富足的日子。我学到了秘诀,不论饱足或饥饿,丰裕或缺乏,在任何情况下都可以处之泰然。 13 靠着赐我力量的那位,我凡事都能做。

14 然而,你们与我共患难,真是太好了。 15 腓立比人啊!你们也知道,在我离开马其顿传福音的初期,除了你们以外,没有别的教会供应我的需要。 16 即使我在帖撒罗尼迦的时候,你们也不止一次供应过我的需要。 17 我不求得到你们的馈赠,只希望你们所做的会带给你们更大的赏赐。 18 我现在样样都有,丰富有余。我从以巴弗提手上收到了你们送给我的礼物,已经充足了。这些馈赠是蒙上帝悦纳的馨香祭物。 19 我的上帝必按照祂在基督耶稣里的荣耀,丰丰富富地赐给你们所需用的一切。

20 愿荣耀归给我们的父上帝,直到永永远远。阿们!

问候

21 请代我问候在基督耶稣里的众圣徒。我这里的弟兄姊妹也问候你们。 22 所有的圣徒,特别是在凯撒宫里工作的人,都问候你们。

23 愿主耶稣基督的恩典与你们的灵同在!

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abafiripi 4

Okuyigiriza

1Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.

Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe. Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.

Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.

Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako. Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.

Okwebaza

10 Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga. 11 Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. 12 Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. 13 Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

14 Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. 15 Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka. 16 Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri. 17 Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe. 18 Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda. 19 Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

20 Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

21 Munnamusize buli mutukuvu mu Kristo Yesu; era n’abooluganda abali wano nange babalamusizza.

22 Era n’abatukuvu bonna babatumidde, naye okusingira ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaali.

23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

Amiina.