Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰三书

我这做长老的写信给亲爱的该犹,就是我本着真理所爱的人。 亲爱的弟兄,衷心地祝你凡事顺利,身体和灵魂一样健康。

该犹的好品行

有弟兄们来为你的行为做见证,说你忠心地遵行真理,这使我非常欣慰。 没有比听见自己的孩子遵行真理更使我欢喜了。

亲爱的弟兄,你常常忠心地照顾素不相识的弟兄, 他们把你的爱心告诉了教会。愿你照着上帝所喜悦的方式继续帮助他们, 因为他们为了主耶稣的名四处传道,不收取非信徒的任何东西。 我们应该接待这样的人,好与他们一同传扬真理。

丢特腓的恶行

我曾写信给你那里的教会,但喜欢做领袖的丢特腓不理会我们。 10 因此,我若去你们那里,会提及他的所作所为,就是他怎样恶言中伤我们。不仅如此,他还拒绝接待弟兄,并且禁止别人接待,甚至将接待的人赶出教会。

抑恶扬善

11 亲爱的弟兄,不要效法罪恶,要效法美善。行善的人属于上帝,行恶的人不认识上帝。 12 低米丢得到了众人的好评,真理本身也为他做见证,我们也为他做见证。你们知道我们的见证是真实的。

结语

13 我本来有很多事想跟你谈,但不想用笔墨写给你, 14 只希望可以快快地见到你,跟你当面畅谈。

15 祝你平安!这里的朋友们都问候你,请代我一一问候你那边的朋友。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

3 Yokaana

Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.

Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo. Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira. Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.

Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi. Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde. Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga. Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.

Diyotuleefe ne Demeteriyo

Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. 10 Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.

11 Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda. 12 Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.

13 Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa, 14 kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.

15 Emirembe gibeerenga naawe.

Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.