Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 18

其余土地的分配

1征服了这些地方以后,以色列全体会众都聚集在示罗,把会幕设立在那里。 这时,以色列还有七个支派没有分到产业。 约书亚对他们说:“你们等到什么时候才去占领你们祖先的上帝耶和华赐给你们的土地呢? 你们每支派要派出三个人,我要差他们去侦察,按各支派应得的土地绘制地图,然后回来禀告我。 他们要把土地划分作七份。犹大要留在南部自己的领土上,约瑟家族要留在北部自己的领土上。 你们把这七份土地绘成地图交给我,我要在我们的上帝耶和华面前为你们抽签。 你们当中的利未人没有份,因为做耶和华的祭司这职任就是他们的产业。至于迦得支派、吕便支派和玛拿西半个支派,摩西已把约旦河东的土地分给他们了。”

那些画地图的人启程出发的时候,约书亚嘱咐他们说:“你们要走遍那里,绘制地图,然后回来禀告我,我要在示罗,在耶和华面前为你们抽签。” 于是,他们走遍那里,把所有城邑分作七份,绘在册上,然后回到示罗见约书亚。 10 约书亚便在示罗按照以色列的支派,在耶和华面前为他们抽签分地。

便雅悯支派分到的土地

11 便雅悯支派按宗族抽签分到的领土,坐落在犹大和约瑟支派的领土之间。 12 他们北部的边界从约旦河起,沿耶利哥北面的山坡直上,往西穿过山区,直到伯·亚文的旷野; 13 从那里经路斯,即伯特利南面山坡到下伯·和仑南面山区的亚他绿·亚达。 14 西面的边界自伯·和仑对面山的西侧向南直到犹大人的基列·巴力,即基列·耶琳。 15 南部边界从基列·耶琳的边界开始向西直到尼弗多亚的水泉, 16 又往下到欣嫩子谷对面的山麓,也就是利乏音谷北边,然后往南,经欣嫩谷到耶布斯山南部,直到隐·罗结; 17 然后,向北先后到隐·示麦,亚都冥山坡对面的基利绿,吕便的儿子波罕所立的大石, 18 以及亚拉巴的对面,再往北下到亚拉巴; 19 又沿着伯·曷拉的北面直到盐海的北岸,也就是约旦河的南部河口。这是南部的边界。 20 东面以约旦河为界。这是便雅悯人按宗族分到的土地和四周的边界。

21 以下是便雅悯支派按宗族分到的城邑:耶利哥、伯·曷拉、伊麦·基悉、 22 伯·亚拉巴、西玛莲、伯特利、 23 亚文、巴拉、俄弗拉、 24 基法·阿摩尼、俄弗尼、迦巴,共十二座城及其附近的乡村。 25 还有基遍、拉玛、比录、 26 米斯巴、基非拉、摩撒、 27 利坚、伊利毗勒、他拉拉、 28 洗拉、以利弗、耶布斯——即耶路撒冷、基比亚、基列,共十四座城及其附近的乡村。

这就是便雅悯各宗族所分到的土地。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Yoswa 18

Okugabana Ettaka eryali Lisigaddewo

1Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro[a] ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe, wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo.

Yoswa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo Mukama Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa? Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ng’emigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ng’emigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze. Baligigabanyaamu ebitundu musanvu Yuda esigale mu bitundu byayo mu bukiikaddyo n’ennyumba ya Yusufu mu bitundu byayo mu bukiikakkono. Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga Mukama Katonda waffe. Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa Mukama gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama gwe yabawa.”

Abantu ne bagenda okulaba ensi bw’efaanana, Yoswa n’alagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bw’efaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siiro.” Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro. 10 Awo Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama n’agabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ng’ebitundu byabwe bwe byali.

Omugabo gwa Benyamini

11 Awo akalulu k’ekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati g’abaana ba Yuda n’abaana ba Yusufu.

12 Ku luuyi olw’obukiikakkono ensalo yaabwe ne tandikira ku Yoludaani ne yeeyongera ku njegoyego z’obukiikakkono bwa Yeriko n’eyambuka mu nsi ey’ensozi ebugwanjuba n’ekomekkereza mu ddungu ly’e Besaveni. 13 Ensalo n’esala okuva mu bukiikaddyo n’etuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni.

14 Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni n’eraga ku bukiikaddyo n’edda ebuvanjuba n’etuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga ky’abaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olw’ebugwanjuba.

15 Oluuyi olw’obukiikaddyo lwatandikira ku njegoyego za Kiriyasuyalimu gye kikoma n’edda ebuvanjuba, ensalo ne yeeyongerayo ku nsulo ez’amazzi aga Nefutoa. 16 Ate era ensalo n’ekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lw’ekiwonvu kya Lefa, n’ekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Yebusi, n’ekka ku Enerogeri. 17 N’eryoka yeebungulula ng’eva mu bukiikakkono n’etuuka ku Ensomesi ne yeeyongerayo e Gerirosi ekitunuulidde ekkubo eryambuka okugenda Adummiru n’eyita n’etuuka ku jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni, 18 ne yeeyongerayo mu bukiikakkono ku luuyi lwa Besi Alaba okutuuka ku Alaba, 19 ne yeeyongerayo mu bukiikakkono obwa Besukogula bw’etyo ensalo n’ekoma ku bukiikakkono bw’Ennyanja ey’Omunnyo mu bukiikaddyo bw’omugga Yoludaani. Eyo y’ensalo ey’oku bukiikaddyo.

20 Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gw’ekika kya Benyamini ng’enju bwe zaali, ng’ensalo bwe zaali era ng’enju zaabwe bwe zaali.

21 Kale nno ebibuga by’ekika ky’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali byali:

Yeriko ne Besukogula ne Emekkezizi, 22 ne Besualaba ne Zemalayimu ne Beseri, 23 ne Avvimu ne Pala ne Ofula, 24 ne Kefalamoni ne Ofuni ne Geba ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo.

25 Gibyoni ne Laama ne Beerosi, 26 ne Mizupe ne Kefira ne Moza, 27 ne Lekemu ne Irupeeri ne Talala, 28 ne Zeera, Erefu n’Omuyebusi, ye Yerusaalemi, ne Gibeasi ne Kiriasi ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

Ogwo gwe gwali omugabo ogw’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali.

Notas al pie

  1. 18:1 Siiro Kyali kilomita ng’amakumi ana okuva e Yerusaalemi. Kyali kifuuse kibuga kya byabufuzi ate nga ky’ekifo ekikulu awasinzibwa mu Isirayiri. Eweema ya Mukama yasigala mu Siiro okutuusa mu biro bya Samwiri (1Sa 4:1-11) lwe yaggyibwayo n’etwalibwa e Gibyoni (1By 21:29).