Chinese Contemporary Bible (Simplified)

哥林多后书 1

问候

1我是奉上帝旨意做基督耶稣使徒的保罗,与提摩太弟兄写信给在哥林多的上帝的教会以及亚该亚境内所有的圣徒。

愿我们的父上帝和主耶稣基督赐给你们恩典和平安!

上帝的安慰

我们主耶稣基督的父上帝当受赞美!祂是仁慈的父和赐一切安慰的上帝。 我们遭遇任何患难,祂都安慰我们,使我们能够用祂给我们的安慰去安慰那些在各样患难中的人。 正如我们多受基督所受的苦楚,也靠基督多得安慰。 我们遭受患难,是为了使你们得到安慰和拯救;我们得到安慰,也是为了使你们得到安慰,以便你们能忍受像我们所遭遇的诸般苦难。 我们对你们坚信不移,因为知道你们既和我们同受患难,也必和我们同得安慰。

弟兄姊妹,希望你们知道我们在亚细亚所遭遇的苦难。那时我们承受极大的压力,超过了我们的极限,甚至连活命的指望都没了。 我们心里觉得必死无疑,这使我们不倚靠自己,只倚靠使死人复活的上帝。 10 祂曾救我们脱离死亡的威胁,将来还要救我们。我们深信祂必继续救我们。 11 你们也要用祈祷帮助我们,使恩典借着许多人的祷告临到我们,众人便因此而为我们感恩。

保罗改变计划

12 我们感到自豪的是:我们本着上帝所赐的圣洁和诚实为人处世,倚靠祂的恩典,不倚靠人的聪明才智,对待你们更是这样。这一点,我们的良心可以作证。 13-14 我们不写任何你们读不懂、不明白的内容。你们现在对我们有几分认识,但我盼望你们最终完全认识到:当主耶稣再来的日子,你们将以我们为荣,正如我们将以你们为荣一样。

15 我有这样的把握,所以早就计划去你们那里,使你们有两次蒙福的机会。 16 我打算从你们那里去马其顿,再从马其顿回到你们那里,然后你们为我送行前往犹太。 17 我定了这计划,难道会反复无常吗?难道我是意气用事,出尔反尔吗? 18 我在信实的上帝面前保证:我们对你们说的话绝不会忽是忽非! 19 我和西拉、提摩太在你们当中所传扬的那位上帝的儿子耶稣基督绝不会忽是忽非,在祂只有“是”。 20 因为上帝的一切应许在基督里都是确实的,所以我们也是借着基督说“阿们[a]”,将荣耀归于上帝。 21 是上帝使我们和你们一同在基督里信心坚固。祂差遣[b]了我们, 22 在我们身上盖了祂自己的印记,并让圣灵住在我们心中作担保。

23 我求上帝为我作证:我没有去哥林多,是为了宽容你们。 24 我们并不是要操纵你们的信仰,而是要帮助你们,使你们喜乐,因为你们在信仰上已经站稳了。

Notas al pie

  1. 1:20 阿们”是“诚然如此”的意思。
  2. 1:21 差遣”希腊文是“膏立”。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

2 Abakkolinso 1

Okulamusa n’Okwebaza

1Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna, ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 11 Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.

Pawulo akyusa mu ntegeka ze

12 Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli. 13 Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero, 14 era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 15 Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri, 16 nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya. 17 Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?

18 Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 19 Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano[a] ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 20 Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 21 Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 22 era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.

23 Katonda oyo ye mujulirwa w’emmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso. 24 Temusaanye kulowooza nti ffe tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe, mulyoke musanyuke, kubanga okukkiriza kwammwe kwe kubanywezezza.

Notas al pie

  1. 1:19 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira