以色列全家下埃及
1以色列带着他所有的一切来到别示巴,向他父亲以撒的上帝献祭。 2晚上,上帝在异象中对他说:“雅各!雅各!”他说:“我在这里。” 3上帝说:“我是上帝,是你父亲的上帝,不要害怕下到埃及,因为我要使你在那里成为大族。 4我必跟你一起下到埃及,也必带领你回来,约瑟必为你送终。”
5于是,雅各从别示巴启程。以色列的儿子们带着父亲和妻儿,乘坐法老送来的车, 6带着在迦南获得的牲畜和财物前往埃及。这样,雅各带着他所有的子孙, 7就是他的儿子、孙子、女儿和孙女一起去了埃及。
8以下是去埃及的以色列人,即雅各和他后代的名字。
雅各的长子是吕便, 9吕便的儿子是哈诺、法路、希斯伦和迦米。 10西缅的儿子是耶姆利、雅悯、阿辖、雅斤、琐辖和迦南女子生的扫罗。 11利未的儿子是革顺、哥辖和米拉利。 12犹大的儿子是珥、俄南、示拉、法勒斯和谢拉,珥和俄南死在了迦南,法勒斯的儿子是希斯伦和哈姆勒。 13以萨迦的儿子是陀拉、普瓦、约伯和伸仑。 14西布伦的儿子是西烈、以伦和雅利。 15这些都是利亚在巴旦·亚兰给雅各生的儿孙,加上女儿底娜共有三十三人。
16迦得的儿子是洗非芸、哈基、书尼、以斯本、以利、亚罗底和亚列利。 17亚设的儿子是音拿、亦施瓦、亦施韦、比利亚和他们的妹妹西拉,比利亚的儿子是希别和玛结。 18这些是悉帕给雅各生的儿孙,共有十六人,悉帕是拉班给女儿利亚的婢女。
19雅各的妻子拉结生的儿子是约瑟和便雅悯。 20约瑟在埃及生的儿子是玛拿西和以法莲,他们的母亲是安城祭司波提非拉的女儿亚西纳。 21便雅悯的儿子是比拉、比结、亚实别、基拉、乃幔、以希、罗实、姆平、户平和亚勒。 22这些是拉结给雅各生的儿孙,共有十四人。
23但的儿子是户伸。 24拿弗他利的儿子是雅薛、沽尼、耶色和示冷。 25这些是辟拉给雅各生的儿孙,共有七人,辟拉是拉班给女儿拉结的婢女。
26跟雅各一同到埃及去的儿孙共有六十六人,他的儿媳妇除外。 27加上约瑟在埃及生的两个儿子,雅各一家来到埃及的共有七十人。
28雅各派犹大先去见约瑟,请他派人引路到歌珊去。他们来到歌珊, 29约瑟备好车前去迎接父亲以色列。父子重逢,约瑟抱住父亲哭了很久。 30以色列对约瑟说:“我现在看到你还活着,就是死也安心了。”
31约瑟对他的弟兄们和其他家人说:“我要去告诉法老,你们已经从迦南来到我这里。 32你们是牧人,以畜牧为业,已经把羊群、牛群和所有的一切都带来了。 33等法老召见你们,问你们以什么为业, 34你们要说,‘仆人们跟我们的祖先一样,从小以畜牧为业。’这样,你们就可以住在歌珊,因为埃及人厌恶牧羊的。”
Yakobo Agenda e Misiri
146:1 a Lub 21:14; 28:10 b Lub 26:24; 28:13; 31:42Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
246:2 a Lub 15:1; Yob 33:14-15 b Lub 22:1; 31:11Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”
N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
346:3 a Lub 28:13 b Lub 12:2; Ma 26:5 c Kuv 1:7Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene. 446:4 a Lub 28:15; 48:21; Kuv 3:8 b Lub 50:1, 24Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”
546:5 Lub 45:19Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala. 646:6 Ma 26:5; Yos 24:4; Zab 105:23; Is 52:4; Bik 7:15Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye. 746:7 Lub 45:10Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.
Abaana n’Abazzukulu ba Yakobo
846:8 Kuv 1:1; Kbl 26:4Gano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo:
Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,
946:9 1By 5:3ne batabani ba Lewubeeni:
Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
1046:10 a Lub 29:33; Kbl 26:14 b Kuv 6:15Ne batabani ba Simyoni:
Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani.
1146:11 Lub 29:34; Kbl 3:17Ne batabani ba Leevi:
Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
1246:12 a Lub 29:35 b 1By 2:5; Mat 1:3N’aba Yuda:
Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.
Batabani ba Pereezi baali:
Kezulooni ne Kamuli.
1346:13 a Lub 30:18 b 1By 7:1Bo aba Isakaali baali:
Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni.
1446:14 Lub 30:20Batabani ba Zebbulooni baali
Seredi, ne Eroni ne Yaleeri.
15Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.
1646:16 a Lub 30:11 b Kbl 26:15Batabani ba Gaadi baali
Zifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri.
1746:17 Lub 30:13; 1By 7:30-31Bo batabani ba Aseri be bano:
Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya
awamu ne Seera mwannyinaabwe.
Bo Batabani ba Beriya baali
Keba ne Malukiyeeri.
1846:18 a Lub 30:10 b Lub 29:24Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.
1946:19 Lub 44:27Batabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be bano
Yusufu ne Benyamini.
2046:20 a Lub 41:51 b Lub 41:52Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
2146:21 Kbl 26:38-41; 1By 7:6-12; 8:1Ne batabani ba Benyamini be ba:
Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi.
22Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.
23Mutabani wa Ddaani ye
Kusimu.
24Bo aba Nafutaali be ba:
Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.
2546:25 a Lub 30:8 b Lub 29:29Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.
2646:26 nny 5-7; Kuv 1:5; Ma 10:22Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga. 2746:27 Bik 7:14Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu46:27 Awamu kigamba nsavu mu bataano.
Okutuula e Misiri
2846:28 Lub 45:10Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni. 2946:29 Lub 45:14-15; Luk 15:20Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.
30Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”
3146:31 Lub 47:1Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. 32Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’ 3346:33 Lub 47:3Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 3446:34 a Lub 45:10 b Lub 43:32; Kuv 8:26Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”