Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以弗所书 1

1我是奉上帝旨意做基督耶稣使徒的保罗,写信给以弗所忠于基督耶稣的众圣徒。

愿我们的父上帝和主耶稣基督赐给你们恩典和平安!

基督徒的属灵恩福

赞美我们主耶稣基督的父上帝!祂在基督里赐给了我们天上各样属灵的恩福。 早在创造世界以前,祂已经在基督里拣选了我们,使我们在祂眼中成为圣洁无瑕的人。

上帝因为爱我们,就按照祂自己美好的旨意,预定我们借着耶稣基督得到做祂儿女的名分。 我们赞美祂奇妙无比的恩典,这恩典是上帝借着祂的爱子赐给我们的。 我们借着祂爱子的血蒙救赎,过犯得到赦免,这都是出于祂的洪恩。 上帝用各种智慧和聪明把这恩典丰丰富富地赐给我们, 照着祂在基督里所定的美好计划叫我们知道祂旨意的奥秘, 10 等所定的时候一到,叫天地万物一同归在基督的名下。

11 我们也在基督里被拣选成为祂的子民。这都是按自己旨意行万事的上帝预先定下的计划, 12 好让我们这些首先在基督里得到盼望的人都来颂赞祂的荣耀。

13 你们听过真理之道,就是那使你们得救的福音,而且也信了基督。你们既然信祂,就领受了上帝应许赐下的圣灵为印记。 14 圣灵是我们领受产业的担保,直到上帝的子民得到救赎,使祂的荣耀受到颂赞。

保罗的祷告

15 我听到你们对主耶稣的信心和对众圣徒的爱心后, 16 不断地为你们感谢上帝,祷告的时候常常提到你们。 17 我求我们主耶稣基督的上帝——荣耀的父把赐智慧和启示的灵给你们,好使你们更深地认识祂。 18 我也求上帝照亮你们心中的眼睛,使你们知道祂的呼召给你们带来了何等的盼望,祂应许赐给众圣徒的产业有何等丰富的荣耀, 19 并且祂在我们这些信的人身上所运行的能力是何等浩大。 20 上帝曾用这大能使基督从死里复活,使基督在天上坐在自己右边, 21 远远超越今生永世所有执政的、掌权的、有能力的、做主宰的和一切的权势。 22 祂又使万物降服在基督脚下,使基督为教会做万物的元首。 23 教会是基督的身体,蕴涵着那无所不在、充满万物者的丰盛。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abaefeso 1

1Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olw’okwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

Emikisa mu Kristo

Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu. Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe. Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli. Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo. Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli, kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna. Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo. 10 Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, n’ateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.

11 Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe; 12 ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo. 13 Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, 14 gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.

Okusaba kwa Pawulo

15 Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, 16 sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17 ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera. 18 Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. 19 Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, 20 amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. 21 Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. 22 Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa, 23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.