4 Царств 3 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

4 Царств 3:1-27

Иорам – царь Исроила

1Иорам, сын Ахава, стал царём Исроила на восемнадцатом году правления Иосафата, царя Иудеи, и правил в Сомарии двенадцать лет. 2Он делал зло в глазах Вечного, но не так, как его отец и мать, потому что убрал священный камень Баала3:2 Баал – ханонский бог плодородия и бог-громовержец., который сделал его отец3:2 См. 3 Цар. 16:32-33.. 3И всё же он держался грехов Иеровоама, сына Невата, к которым тот склонил Исроил3:3 См. 3 Цар. 12:25-33.. Он не отступал от них.

Поражение Моава

4Меша, царь Моава, разводил овец и должен был поставлять царю Исроила сто тысяч ягнят и шерсть со ста тысяч баранов. 5Но после смерти Ахава моавский царь восстал против исроильского царя. 6Тогда царь Иорам вышел из Сомарии и собрал всё исроильское войско. 7Ещё он послал сказать Иосафату, царю Иудеи:

– Царь Моава восстал против меня. Ты пойдёшь со мной воевать против Моава?

– Пойду, – ответил он. – Как ты, так и я, мой народ – твой народ, мои кони – твои кони.

8Потом он спросил:

– Какой дорогой мы выступим?

Иорам ответил:

– Через пустыню Эдома.

9И царь Исроила отправился в путь с царём Иудеи и царём Эдома. После семи дней кружной дороги у войска не осталось воды ни для себя, ни для животных, которые были с ними.

10– Горе! – воскликнул царь Исроила. – Вечный созвал нас, трёх царей, чтобы отдать в руки Моава!

11Но Иосафат спросил:

– Неужели здесь нет пророка Вечного, чтобы спросить через него Вечного?

Один из приближённых царя Исроила ответил:

– Здесь есть Елисей, сын Шафата. Он был ближайшим учеником Ильёса.

12Иосафат сказал:

– С ним слово Вечного.

И царь Исроила, Иосафат и царь Эдома пошли к нему.

13Елисей сказал царю Исроила:

– Что у нас с тобой общего? Ступай к пророкам твоего отца и твоей матери.

– Нет, – ответил царь Исроила, – ведь это Вечный созвал нас, трёх царей, чтобы отдать в руки Моава.

14Елисей сказал:

– Верно, как и то, что жив Вечный, Повелитель Сил, Которому я служу, – если бы я не уважал Иосафата, царя Иудеи, то я и не взглянул бы на тебя и даже не заметил. 15А теперь приведите мне арфиста.

И когда арфист играл, на Елисея сошла сила Вечного, 16и он сказал:

– Так говорит Вечный: «Копайте рвы по всей этой долине», 17потому что так говорит Вечный: «Вы не увидите ни ветра, ни дождя, но эта долина наполнится водой, и вы, ваш скот и другие ваши животные будете пить». 18Сделать это для Вечного легко, Он отдаст в ваши руки и Моав. 19Вы захватите все укреплённые и большие города. Вы срубите хорошие деревья, завалите источники и забросаете камнями хорошие поля.

20На следующее утро, в то время, когда приносят жертву, со стороны Эдома потекла вода! И земля наполнилась водой. 21А моавитяне уже прослышали, что цари идут на них войной, и всех мужчин, и молодых, и старых, собрали и поставили на границе. 22Когда рано утром они поднялись, солнце светило на воду, и вода показалась моавитянам красной, как кровь.

23– Это кровь! – сказали они. – Должно быть, цари сражались и перебили друг друга. Что ж, на добычу, Моав!

24Но когда моавитяне пришли к исроильскому лагерю, исроильтяне поднялись и стали разить их, и те побежали. Войдя в Моав, они продолжали разить их. 25Они разрушили города, и каждый воин бросал по камню на всякое хорошее поле, пока оно не было завалено. Они завалили источники и срубили хорошие деревья. Лишь в Кир-Харесете оставались каменные стены, пока пращники не окружили его и не напали на него.

26Когда царь Моава увидел, что проигрывает сражение, он взял с собой семьсот человек, владеющих мечом, чтобы прорваться к царю Эдома, но не смог. 27Тогда он взял первенца, который должен был стать царём вместо него, и принёс его в жертву на городской стене. Это вызвало большое негодование среди исроильтян. Они отступили и вернулись в свою землю.

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 3:1-27

Okujeema kwa Mowaabu

13:1 2Bk 1:17Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri. 23:2 a 1Bk 15:26 b 1Bk 16:30-32 c Kuv 23:24; 2Bk 10:18, 26-28Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyatuuka ku bibi bya kitaawe ne nnyina. Yazikiriza n’empagi eya Baali kitaawe gye yali asimbye. 33:3 1Bk 12:28-32; 14:9, 16Newaakubadde ng’ekyo yakikola, teyalekayo kukola ebibi ng’ebyo Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola, n’ayonoonyesa Isirayiri.

43:4 a Lub 19:37; 2Bk 1:1 b Ezr 7:17; Is 16:1Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu. 53:5 2Bk 1:1Naye Akabu olwafa, kabaka wa Mowaabu n’atandika okujeemera kabaka wa Isirayiri. 6Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu n’asitula okuva e Samaliya, n’akunga Isirayiri yenna okugenda naye. 73:7 1Bk 22:4N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?”

Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.”

8Yekosafaati n’amubuuza nti, “Ye, tunaalumba kuva ku luuyi ki?” Yekolaamu n’amuddamu nti, “Tunaayita mu ddungu erya Edomu.” 93:9 1Bk 22:47Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu3:9 Eky’amazima kiri nti kabaka wa Edomu yali nga gavana, kubanga yali alondeddwa Kabaka Yekosafaati (8:20; 1Bk 22:48). ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo. 10Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. N’ayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, Mukama atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?” 113:11 a Lub 25:22; 1Bk 22:7 b Lub 20:7 c 1Bk 19:16Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.” 123:12 Kbl 11:17Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali.

13Awo Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo n’aba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga Mukama atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.”

14Erisa n’ayogera nti, “Nga Mukama Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo. 153:15 a 1Sa 16:23 b Yer 15:17; Ez 1:3Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa, 16n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’ 173:17 Zab 107:35; Is 32:2; 35:6; 41:18Mukama agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, n’ente zammwe zinaanywa, n’ebisolo byammwe ebirala nabyo binywe. 183:18 Lub 18:14; 2Bk 20:10; Is 49:6; Yer 32:17, 27; Mak 10:27Eyo nsonga nnyangu mu maaso ga Mukama, era n’Abamowaabu mujja kubawangula. 19Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ”

203:20 a Kuv 29:39-40 b Kuv 17:6Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera eky’okuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi n’ejjula amazzi.

21Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka babalumbye okulwana nabo, buli musajja, omuto n’omukulu abaali basobola okwambala ebyokulwanyisa, ne bayitibwa okugenda okutabaala. 22Enkeera enjuba bwe yayaka ku mazzi, Abamowaabu ne balowooza nti amazzi mamyufu kubanga gaabalabikira ng’omusaayi. 23Ne bagamba nti, “Guno musaayi! Kirabika nga bakabaka baalwanye bokka ne bokka, ne battiŋŋana, kale Mowaabu mugwe ku munyago.”

24Naye Abamowaabu bwe baali nga baakayingira mu nkambi y’Abayisirayiri, amangwago Abayisirayiri ne batandika okulwana nabo, okutuusa Abamowaabu lwe badduka. 253:25 nny 19; Is 15:1; 16:7; Yer 48:31, 36Ne bamenyaamenya ebibuga by’Abamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ez’amazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja ab’envuumuulo ne bakirumba.

26Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumugendedde bubi, n’atwala abasajja ab’ebitala lusanvu, ne bagenda naye okulumba kabaka wa Edomu, kyokka ne balemelerwa. 273:27 Ma 12:31; 2Bk 16:3; 21:6; 2By 28:3; Zab 106:38; Yer 19:4-5; Am 2:1; Mi 6:7N’addira mutabani we omuggulanda, eyali ateekwa okumusikira, n’amuweerayo ku bbugwe w’ekibuga ng’ekiweebwayo ekyokebwa. Abayisirayiri ne beesisiwala nnyo ne beetamwa, era ne baddayo mu nsi yaabwe.