Узайр 9 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Узайр 9:1-15

Осуждение смешанных браков

1После того как всё это было сделано, вожди пришли ко мне и сказали:

– Народ Исроила, священнослужители и левиты не отделились от иноплеменных народов: ханонеев, хеттов, перизеев, иевусеев, аммонитян, моавитян, египтян и аморреев с их отвратительными обычаями. 2Они брали их дочерей в жёны для себя и своих сыновей, и святой народ смешался с иноплеменными народами. А вожди и начальники первыми подавали пример этого злодеяния.

3Услышав это, я разорвал на себе одежду и накидку, стал рвать свои волосы и бороду и сел, поражённый ужасом. 4И все, кто благоговел пред словами Бога Исроила, собрались вокруг меня из-за этого злодеяния переселенцев. А я сидел там, поражённый ужасом, до вечерней жертвы9:4 То есть примерно до трёх часов пополудни (см. Исх. 29:38-41; Чис. 28:3-8)..

Молитва Узайра

5Во время вечерней жертвы я поднялся с места своего самоуничижения в разорванной одежде и накидке, и пал на колени, простирая руки к Вечному, моему Богу, 6и стал молиться:

– Бог мой, мне так стыдно, так совестно, что я даже не могу поднять к Тебе лица, ведь наши грехи выше наших голов, а вина наша достигла небес. 7Со времён наших предков и до этого дня наша вина велика. Из-за наших грехов нас, и наших царей, и наших священнослужителей постигли меч и плен, грабёж и унижения от рук иноземных царей, как это есть и по сегодняшний день.

8Но сегодня – на миг – Вечный, наш Бог, смилостивился над нами. Он оставил в живых некоторых из нас и дал нам утвердиться в Своём святилище. Он просветил наши глаза и облегчил наше рабство. 9Мы рабы, но наш Бог не оставил нас и в нашем рабстве. Он проявил к нам милость перед царями Персии: Он даровал нам новую жизнь, чтобы мы отстроили дом нашего Бога и восстановили его из руин, и дал нам защитную стену в Иудее и в Иерусалиме.

10Но ныне! Бог наш, что нам сказать после этого? Ведь мы пренебрегли повелениями, 11которые Ты дал через Своих рабов пророков, когда сказал: «Земля, в которую вы входите, чтобы завладеть ею, это земля, осквернённая мерзостями её народов. Своими отвратительными обычаями они наполнили её нечистотой от края до края. 12Поэтому не отдавайте своих дочерей замуж за их сыновей и не берите их дочерей своим сыновьям. Никогда не ищите с ними мирного договора, чтобы вам быть сильными, и есть блага земли, и оставить её вашим детям как вечное наследие».

13После всего, что случилось с нами за наши злые дела и великую вину, Ты, Бог наш, наказал нас мягче, чем заслуживали наши грехи, и оставил в живых некоторых из нас. 14Неужели мы опять нарушим Твои повеления и будем вступать в родство с народами, которые преданы этим отвратительным обычаям? Разве Ты не прогневаешься на нас так, чтобы истребить нас, не оставив ни одного уцелевшего? 15Вечный, Бог Исроила, Ты праведен! Сегодня остались мы – уцелевшие. Вот мы пред Тобой в нашей вине, хотя из-за неё ни один из нас не может устоять в Твоём присутствии.

Luganda Contemporary Bible

Ezera 9:1-15

Okusaba kwa Ezera ku Nsonga ey’Okufumbiriganwa mu mawanga

19:1 a Ezr 6:21; Nek 9:2 b Lub 19:38 c Kuv 13:5Oluvannyuma lw’ebintu ebyo okukolebwa,9:1 Bino byabaawo oluvannyuma lw’emyezi mwenda, Ezra ng’akomyewo mu Yerusaalemi. abakulembeze ne bajja gye ndi ne boogera nti, “Abantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, tebeeyawudde ku mawanga agabaliraanye n’ebikolwa byabwe eby’emizizo. Tebeeyawudde ku Bakanani, ne ku Bakiiti ne ku Baperizi ne ku Bayebusi ne ku Bamoni ne ku Bamowaabu ne ku Bamisiri ne ku Bamoli. 29:2 a Kuv 34:16 b Kuv 22:31 c Ezr 10:2Bawasizza abamu ku bawala baabwe, n’abawala ne bafumbirwa abamu ku batabani baabwe, bwe kityo eggwanga ettukuvu ne lyetabula n’amawanga agabeetoolodde. Ku nsonga eyo abakulembeze n’abakungu, be basinze okwonoona.”

3Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne njuza ekkanzu yange n’omunagiro gwange,9:3 Okuyuza ebyambalo kaali kabonero akalaga okukungubaga. ne nkunyuula enviiri ku mutwe gwange ne mu kirevu kyange ne ntuula wansi nga nnakuwadde. 49:4 Ezr 10:3Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olw’obutali bwesigwa obw’abaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi bwe kyatuuka.

59:5 Kuv 29:41Awo mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, n’ekkanzu yange enjulifu n’omunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange, 69:6 2By 28:9; Yob 42:6; Zab 38:4; Kub 18:5ne nsaba nti:

“Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, era sisobola kuyimusa maaso gange eri gwe Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe busukiridde emitwe gyaffe, n’omusango gwaffe gutuuse mu ggulu. 79:7 a 2By 29:6 b Ez 21:1-32 c Ma 28:64 d Ma 28:37Okuva mu biro bya bajjajjaffe n’okutuusa leero, omusango gugenze gweyongera; era olw’obutali butuukirivu bwaffe, bakabaka baffe, ne bakabona baffe baweereddwayo mu mukono gwa bakabaka ab’ensi, n’eri ekitala, n’eri obusibe, n’eri obunyazi, n’eri obuswavu obungi, nga bwe kiri mu nnaku zino.

89:8 a Zab 25:16; Is 33:2 b Lub 45:7 c Mub 12:11; Is 22:23 d Zab 13:3“Naye kaakano, akaseera katono, Mukama Katonda waffe atulaze ekisa n’atulekawo ffe abatono, n’atuwa ekifo ekisooka era ekinywevu mu watukuvu we, Katonda waffe n’amulisa amaaso gaffe, n’atuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe. 99:9 a Kuv 1:14; Nek 9:36 b Ezr 7:28 c Zab 69:35; Is 43:1; Yer 32:44Newaakubadde nga tuli baddu,9:9 Abayudaaya baali bakyafugibwa. Katonda waffe tatulekulidde mu busibe bwaffe, naye atulaze okusaasirwa mu maaso ga bakabaka b’e Buperusi. Atuwadde obulamu obuggya okuzimba ennyumba ya Katonda waffe, n’okuddaabiriza ebyo ebyayonooneka, era atutaddeko Bbugwe okutwetooloola okutukuuma mu Yuda ne mu Yerusaalemi.

109:10 Ma 11:8; Is 1:19-20“Kaakano Katonda waffe tunaayogera ki oluvannyuma lw’ebyo? Twaleka amateeka go 119:11 a Lv 18:25-28 b Ma 9:4ge watuwa ng’oyita mu baddu bo bannabbi, bwe wayogera nti, ‘Ensi gye mugenda okulya, nsi ejjudde obutali bulongoofu olw’abantu baamu, era bagijjuzizza ebikolwa eby’obugwagwa enjuuyi zonna. 129:12 Kuv 34:15; Ma 7:3; 23:6Noolwekyo temuwaayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe newaakubadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe. Temwongeranga ku bulungi bwabwe newaakubadde obugagga bwabwe, mulyoke mube n’amaanyi mulye ebirungi by’ensi, ate era mubirekere n’abaana bammwe okuba omugabo ogw’emirembe n’emirembe.’ 

139:13 Yob 11:6; Zab 103:10“Bino byonna bitutuuseeko olw’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu n’olw’omusango omunene gwe tulina, ate nga Katonda waffe totubonerezza ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye otuleseewo nga bwe tuli kaakano. 149:14 a Nek 13:27 b Ma 9:8 c Ma 9:14Tunaayinza nate okumenya ebiragiro byo ne tuwasa mu mawanga ago agakola ebitasaana? Tolitunyiigira nnyo n’okusingawo n’otuzikiriza obutalekaawo muntu yenna? 159:15 a Lub 18:25; Zab 51:4; Yer 12:1; Dan 9:7 b Nek 9:33; Zab 130:3; Mal 3:2 c 1Bk 8:47Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”