Иеремия 3 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Иеремия 3:1-25

1Если муж разведётся с женой,

и она от него уйдёт и станет женой другому,

то разве первый муж примет её назад?

Разве не осквернится этим земля?

Ты жила как блудница со многими,

а теперь хочешь вернуться ко Мне?3:1 Или: «но всё же вернись ко Мне».

возвещает Вечный. –

2Подними взгляд на голые вершины и посмотри:

есть ли место, где бы ты не пускалась в блуд?

Ты сидела у обочины и высматривала любовников,

как араб в пустыне высматривает, кого бы ограбить.

Ты осквернила землю

своим блудом и злодействами.

3Поэтому не было дождей,

не пролился весенний ливень.

А у тебя был вид блудницы,

ты забыла про стыд.

4Разве ты до этого не взывала ко Мне:

«Отец мой, Ты друг моей юности,

5всегда ли Ты будешь гневаться?

Вечно ли будет длиться Твоя ярость»?

Вот как ты говоришь,

но делаешь зло, как только можешь.

Неверные Иудея и Исроил

6Во время правления царя Иосии3:6 Иосия правил Иудеей с 640 по 609 гг. до н. э. Вечный сказал мне:

– Видел ли ты, что сделала эта изменница – Исроил? Она распутствовала на каждой высокой горе и под каждым тенистым деревом. 7Я думал, что она вернётся ко Мне после того, как сделала всё это, но она не вернулась, а её вероломная сестра Иудея видела это. 8Я дал изменнице Исроил разводное письмо и отослал её за то, что она распутствовала. Но Я видел, что её вероломная сестра Иудея не испугалась, а сама стала блудить. 9Блуд Исроила для неё ничего не значил, и она осквернила землю, предаваясь распутству с каменными и деревянными идолами. 10Несмотря на всё это, Иудея, вероломная сестра Исроила, вернулась ко Мне, но не от чистого сердца, а притворяясь, – возвещает Вечный.

11Вечный сказал мне:

– Изменница Исроил праведнее, чем вероломная Иудея. 12Иди и возвести на севере3:12 На севере – т. е. тем, кто уже пребывает в ассирийском плену. такие слова:

Вернись, изменница Исроил, – возвещает Вечный. –

Я больше не буду гневаться на тебя,

потому что Я милостив, – возвещает Вечный. –

Не вечно Я буду гневаться.

13Признай лишь свою вину:

ты восстала против Вечного, твоего Бога,

расточала свои ласки чужим богам

под каждым тенистым деревом,

а Меня ты не слушалась, –

возвещает Вечный.

14– Вернись, неверный народ, – возвещает Вечный, – потому что Я твой супруг. Я возьму вас – по одному из города, по двое из клана – и приведу вас на Сион. 15Я дам вам пастухов, которые Мне по душе, и они будут водить вас со знанием и пониманием. 16В те дни, когда вы сильно умножитесь числом в этой стране, – возвещает Вечный, – уже не будут больше говорить о сундуке соглашения3:16 Сундук соглашения – см. пояснительный словарь, а также Исх. 25:10-22. с Вечным. Не будут о нём больше думать, не будут его вспоминать; не будут больше тосковать о нём и другого сундука не сделают. 17В то время назовут Иерусалим Престолом Вечного, и все народы соберутся в Иерусалиме, чтобы почтить имя Вечного. Они больше не будут поступать по упрямству своих злых сердец. 18В те дни народ Иудеи соберётся с народом Исроила, и вместе они уйдут из северных земель в ту землю, которую Я дал их предкам.

19– Я думал: с какой радостью Я принял бы вас

как Своих детей

и дал бы вам желанную землю,

прекраснейшее наследие всех народов!

Я думал: вы назовёте Меня Отцом

и не отступите от Меня.

20Но как жена изменяет мужу,

так и вы изменили Мне, жители Исроила, –

возвещает Вечный.

21Слышен на голых вершинах крик,

плач и мольбы жителей Исроила;

они извратили свои пути

и забыли Вечного, своего Бога.

22– Вернись, неверный народ,

Я исцелю тебя от отступничества.

– Да, мы придём к Тебе;

Ты же Вечный, наш Бог.

23Поистине, поклонение идолам на холмах – обман,

как и сборища на горах.

Поистине, лишь в Вечном, нашем Боге,

спасение для Исроила.

24С давних времён наше поклонение мерзкому богу Баалу

лишало нас трудов наших отцов,

мелкого и крупного скота

и даже наших сыновей и дочерей.

25В своих мерзостях мы погрязли,

покрыты позором.

Мы грешили перед Вечным, нашим Богом, –

и мы, и наши отцы;

с давних времён и до этого дня

мы не слушались Вечного, нашего Бога.

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 3:1-25

Yuda Omukazi Atali Mwesigwa

13:1 a Ma 24:1-4 b Yer 2:20, 25; Ez 16:26, 29“Omusajja bw’agoba mukazi we,

omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,

omusajja we alimukomyawo nate?

Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?

Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;

naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”

bw’ayogera Mukama.

23:2 a Lub 38:14; Ez 16:25 b Yer 2:7Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.

Waliwo ekifo we bateebakira naawe?

Ku mabbali g’ekkubo we watulanga

n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;

n’olyoka oyonoona ensi

n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.

33:3 a Lv 26:19 b Yer 14:4 c Yer 6:15; 8:12; Zef 3:5Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,

n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.

Naye era otemya nga malaaya

tokwatibwa nsonyi.

43:4 a nny 19 b Yer 2:2Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange

okuva mu buto bwange,

53:5 Zab 103:9; Is 57:16onoonyiigira ddala emirembe gyonna,

olisunguwala emirembe gyonna?

Bw’otyo bw’oyogera,

naye okoze ebibi byonna ebisoboka.

Isirayiri, Atali Mwesigwa

63:6 a Yer 17:2 b Yer 2:20Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. 73:7 Ez 16:46Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. 83:8 Ez 16:47; 23:11Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. 93:9 a nny 2 b Is 57:6 c Yer 2:27Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. 103:10 Yer 12:2Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.

113:11 a Ez 16:52; 23:11 b nny 7Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 123:12 a 2Bk 17:3-6 b nny 14; Yer 31:21, 22; Ez 33:11 c Zab 86:15Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,

eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.

‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;

‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.

133:13 a Ma 30:1-3; Yer 14:20; 1Yk 1:9 b Yer 2:25 c Ma 12:2 d nny 25Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,

mwajeemera Mukama Katonda wammwe,

mwasinza bakatonda abalala,

wansi wa buli muti oguyimiridde,

era ne mutaŋŋondera,’ ”

bw’ayogera Mukama.

143:14 Kos 2:19“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 153:15 Bik 20:28Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 163:16 Is 65:17Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. 173:17 a Yer 17:12; Ez 43:7 b Is 60:9 c Yer 11:8Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. 183:18 a Kos 1:11 b Is 11:13; Yer 50:4 c Yer 16:15; 31:8 d Am 9:15Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.

193:19 nny 4; Is 63:16“Nze kennyini nalowooza

“nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,

era mbawe ensi eyeegombebwa,

nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.

Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’

ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.

20Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,

bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,”

bw’ayogera Mukama.

Okuyitibwa Okwenenya

213:21 nny 2Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri

kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu,

nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi,

ne beerabira Mukama Katonda waabwe.

223:22 a Kos 14:4 b Yer 33:6; Kos 6:1“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,

nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”

Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,

kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.

233:23 Zab 3:8; Yer 17:14Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala

temuli kantu.

Ddala mu Mukama Katonda waffe

mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.

243:24 Kos 9:10Naye okuva mu buto bwaffe

bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala

bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe,

batabani baabwe ne bawala baabwe.

253:25 a Ezr 9:6 b Yer 22:21Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde

kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe,

okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno;

kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”