Забур 122 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Забур 122:1-4

Песнь 122

Песнь восхождения.

1К Тебе поднимаю глаза свои,

Обитающий на небесах!

2Как глаза слуг смотрят на руку своего господина

и глаза служанки – на руку своей госпожи,

так наши глаза обращены на Вечного,

до тех пор, пока Он не смилуется над нами.

3Помилуй нас, Вечный, помилуй нас,

потому что мы долго терпели презрение.

4Долго мы терпели оскорбление от надменных

и презрение от гордых.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 122:1-9

Zabbuli 122

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

1Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,

“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”

2Ebigere byaffe biyimiridde

mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

3Yerusaalemi yazimbibwa okuba

ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.

4Eyo ebika byonna gye biraga,

ebika bya Mukama,

okutendereza erinnya lya Mukama

ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.

5Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;

z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

6122:6 Zab 51:18Musabirenga Yerusaalemi emirembe:

“Abo abakwagala bafune ebirungi.

7Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;

n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”

8Olwa baganda bange ne mikwano gyange

nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”

9122:9 Nek 2:10Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.