2 Царств 4 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

2 Царств 4:1-12

Убийство Иш-Бошета

1Когда сын Шаула Иш-Бошет услышал о том, что Авнер умер в Хевроне, он пал духом, и весь Исраил охватила тревога. 2У Иш-Бошета, сына Шаула, было два человека, которые водили воинов в набеги. Одного звали Баана, а другого – Рехав. Они были сыновьями беэротянина Риммона из рода Вениамина. Беэрот считается владением Вениамина, 3потому что жители Беэрота бежали в Гиттаим. Они остались там чужеземцами по сегодняшний день.

4(У Ионафана, сына Шаула, был сын, хромой на обе ноги. Ему было пять лет, когда из Изрееля пришла весть о Шауле и Ионафане. Его нянька схватила его и побежала, но бежала так быстро, что он упал и охромел. Его звали Мефи-Бошет.)

5Итак, Рехав и Баана, сыновья беэротянина Риммона, пошли к дому Иш-Бошета и пришли туда в жаркое время дня, когда он спал во время полуденного отдыха. 6Они вошли внутрь дома, как бы для того, чтобы взять пшеницы, и мечом поразили его в живот. После этого Рехав и его брат скрылись.

7(Они вошли в дом, когда он лежал на постели в своей спальне. Поразив и убив его, они отрубили ему голову и, взяв её с собой, всю ночь шли по дороге, что ведёт через Иорданскую долину.) 8Они принесли голову Иш-Бошета к Давуду в Хеврон и сказали царю:

– Вот голова Иш-Бошета, сына Шаула, твоего врага, пытавшегося лишить тебя жизни. Сегодня Вечный отомстил Шаулу и его потомству за господина моего царя.

9Давуд ответил Рехаву и его брату Баане, сыновьям беэротянина Риммона:

– Верно, как и то, что жив Вечный, Который избавил меня от всякой беды, – 10когда один человек сказал мне: «Шаул мёртв», думая, что принёс хорошую новость, я схватил его и предал смерти в Циклаге. Вот награда, которую я дал ему за его новость! 11Что же теперь, когда разбойники убили невиновного человека в его собственном доме и на его собственной постели, неужели я не взыщу с вас за его кровь и не избавлю от вас землю!

12Давуд отдал своим людям приказ, и они убили их. Они отрубили им руки и ноги и повесили тела у пруда в Хевроне. А голову Иш-Бошета они взяли и погребли в гробнице Авнера в Хевроне.

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 4:1-12

Isubosesi Attibwa

14:1 2Sa 3:27; Ezr 4:4Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng’afiiridde e Kebbulooni, n’aggwaamu essuubi, ne Isirayiri yenna ne beeraliikirira. 24:2 Yos 9:17; 18:25Mutabani wa Sawulo oyo yalina abasajja be babiri, bombi nga baduumizi ba bibinja, omu nga ye Baana, n’owokubiri nga ye Lekabu. Baali batabani ba Limmoni Omubeerosi ng’ava mu kika kya Benyamini, kubanga Beerosi kyabalibwanga okuba ekimu ki bitundu bya Benyamini, 34:3 Nek 11:33engeri abantu ab’e Beerosi bwe baddukira e Gittayimu, ne babeera eyo na guno gujwa.

44:4 a 1Sa 18:1 b 1Sa 31:1-4 c Lv 21:18 d 2Sa 9:3, 6; 1By 8:34; 9:40Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egy’obukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ng’adduka okumuwonya, omwana n’agwa n’alemala. N’erinnya lye ye yali Mefibosesi.

54:5 2Sa 2:8Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne balaga Isubosesi gye yabeeranga, ne batuuka mu ssaawa ez’etuntu, ne bamusanga ng’awummuddeko. 64:6 2Sa 2:23Ne bagenda mu kisenge eky’omunda ne baba ng’abajja okukima eŋŋaano, ne bamufumita mu lubuto, ne badduka.

7Bwe bayingira mu nnyumba, baamusanga agalamidde ku kitanda mu kisenge kye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako n’omutwe. Ne batwala omutwe gwe, ne batambula ekiro kyonna mu kkubo erya Alaba. 84:8 1Sa 24:4; 25:29Omutwe gwa Isubosesi ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyayagala okukutta, guuguno. Leero Mukama awalanye eggwanga lya mukama waffe kabaka ku Sawulo n’ezzadde lye.”

94:9 Lub 48:16; 1Bk 1:29Naye Dawudi n’addamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna, 104:10 2Sa 1:2-16omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ n’alowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olw’amawulire ge yaleeta. 114:11 Lub 9:5; Zab 9:12Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”

124:12 2Sa 1:15Awo Dawudi n’alagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo n’ebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi n’ekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.