1 Летопись 26 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

1 Летопись 26:1-32

Распределение привратников

1Вот распределение привратников:

из корахитов: Мешелемия, сын Коре, один из сыновей Асафа.

2У Мешелемии были сыновья:

первенец Закария,

второй сын – Иедиаил,

третий – Зевадия,

четвёртый – Иатниил,

3пятый – Елам,

шестой – Иоханан

и седьмой – Элиегоенай.

4У Овид-Эдома тоже были сыновья:

первенец Шемая,

второй сын – Иехозавад,

третий – Иоах,

четвёртый – Сахар,

пятый – Нетанил,

5шестой – Аммиил,

седьмой – Иссахар

и восьмой – Пеуллетай.

(Так Аллах благословил Овид-Эдома.)

6У Шемаи, сына Овид-Эдома, тоже родились сыновья, которые были вождями своего клана, потому что были очень способными людьми. 7Сыновья Шемаи: Отни, Рефаил, Овид и Элзавад; его родственники Элиху и Семахия тоже были очень способными людьми. 8Все они были потомками Овид-Эдома. Они сами, их сыновья и родственники были очень способными людьми, прилежными в работе. Всего их было у Овид-Эдома шестьдесят два человека.

9У Мешелемии было восемнадцать сыновей и родственников, которые также были способными людьми.

10У мераритянина Хосы были сыновья: первый Шимри (хотя он и не был первенцем, его отец сделал его главным), 11второй – Хилкия, третий – Тевалия и четвёртый – Закария. Сыновей и родственников Хосы было тринадцать человек.

12Эти привратники через своих начальников имели обязанности в служении в храме Вечного, как и их родственники. 13Они бросали жребии по своим кланам на каждые ворота – молодой наравне со старым.

14Восточные ворота выпали по жребию Мешелемии. Затем был брошен жребий для его сына Закарии, мудрого советчика, и ему выпали Северные ворота. 15Южные ворота выпали по жребию Овид-Эдому, а кладовые – его сыновьям. 16Западные ворота и ворота Шаллехет на верхней дороге выпали по жребию Шуппиму и Хосе. Одна стража стояла напротив другой: 17шестеро левитов каждый день стояли на восточной стороне, четверо на северной, четверо на южной и по двое у кладовых. 18Что же до западной колоннады, то четверо стояли там у дороги и двое – внутри самой колоннады.

19Так были распределены привратники, потомки Кораха и Мерари.

Распределение хранителей сокровищницы

20Их собратьям-левитам26:20 Или: «Что до левитов, Ахии были вверены…» были вверены сокровищницы дома Аллаха и сокровищницы для посвящённых вещей.

21Потомки Ливни26:21 Букв.: «Ладан» – другое имя Ливни (см. 6:17)., которые были гершонитами по линии Ливни и главами семейств, происходивших от гершонита Ливни: Иехиил. 22Сыновья Иехиила: Зетам и его брат Иоиль. Им были вверены сокровищницы храма Вечного.

23Из амрамитов, ицхаритов, хевронитов и узиилитов:

24Шевуил, потомок сына Мусы Гершома, был главным смотрителем за сокровищницами. 25Его родственники через Элиезера: сын Элиезера Рехавия, отец Иешаи, отца Иорама, отца Зихри, отца Шеломота. 26Шеломоту и его родственникам были вверены все сокровищницы для вещей, посвящённых Вечному царём Давудом, главами семейств, которые были тысячниками, сотниками и военачальниками. 27Часть добычи, взятой в сражении, они посвящали на поддержание храма Вечного. 28Всё, что было посвящено провидцем Шемуилом, царём Шаулом, сыном Киша, начальником войска Шаула Авнером, сыном Нера, и начальником войска Давуда Иоавом, сыном Церуи, и все прочие посвящённые вещи были доверены Шеломоту и его родственникам.

Прочие распределения

29Хенании из рода ицхаритов и его сыновьям были определены обязанности за пределами храма – они были сановниками и судьями над Исраилом.

30Хашавия из рода хевронитов и его родственники – тысяча семьсот способных людей – отвечали в Исраиле, к западу от Иордана, за всю работу в служении Вечному и на царской службе. 31Вождём у хевронитов был Иерия. (В сороковой год правления Давуда родословные записи хевронитян были исследованы и в Иазере Галаадском нашлись очень способные люди из хевронитян.) 32У Иерии было две тысячи семьсот сородичей, очень способных людей, глав семейств, и царь Давуд поставил их над родами Рувима, Гада и половиной рода Манассы во всяком деле Аллаха и во всех делах царя.

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 26:1-32

Ebibinja eby’abaggazi

126:1 1By 9:17Ebibinja by’abaggazi byali:

Mu Bakola,

waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu. 226:2 1By 9:21Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga

Zekkaliya ye w’olubereberye,

ne Yediyayeri nga wakubiri,

ne Zebadiya nga wakusatu,

ne Yasuniyeri nga wakuna,

3ne Eramu nga wakutaano,

ne Yekokanani nga wamukaaga,

ne Eriwenayi nga wa musanvu.

4Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga

Semaaya ye w’olubereberye,

ne Yekozabadi nga wakubiri,

ne Yowa nga wakusatu,

ne Sakali nga wakuna,

ne Nesaneeri nga wakutaano,

526:5 2Sa 6:10; 1By 13:13; 16:38ne Ammiyeri nga wamukaaga,

ne Isakaali nga wa musanvu,

Pewulesayi nga wa munaana,

Katonda gwe yawa omukisa.

6Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira. 7Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi.

8Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.

9Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana.

1026:10 Ma 21:16; 1By 5:1Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;

11Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu,

ne Zekkaliya nga wakuna.

Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu.

1226:12 1By 9:22Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 1326:13 1By 24:5, 31; 25:8Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.

1426:14 a 1By 9:18 b 1By 9:21Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.

Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.

1526:15 1By 13:13; 2By 25:24Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.

16Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.

Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.

17Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,

ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku

ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,

ne ku ggwanika babiri babiri.

18Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.

1926:19 2By 35:15; Nek 7:1; Ez 44:11Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.

Abawanika n’Abakungu Abalala

2026:20 a 2By 24:5 b 1By 28:12Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa. 2126:21 1By 23:7; 29:8Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri, 2226:22 1By 9:26batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya Mukama.

2326:23 Kbl 3:27Ku Bamulaamu, ne ku Bayizukaali, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri:

2426:24 1By 23:16Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu. 2526:25 1By 23:18Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.

2626:26 2Sa 8:11Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala. 27Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 2826:28 1Sa 9:9Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze.

2926:29 Ma 17:8-13; 1By 23:4; Nek 11:16Ku Bayizukaali,

Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri.

3026:30 1By 27:17Ku Bakebbulooni,

Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri. 3126:31 a 1By 23:19 b 2Sa 5:4Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe.

Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni. 32Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gy’ennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi n’amufuula mulabirizi wa Balewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n’olw’ebigambo bya kabaka.