Неемия 11 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Неемия 11:1-36

Жители Иерусалима и Иудеи

(1 Лет. 9:1-17)

1Вожди народа поселились в Иерусалиме, а остальной народ бросал жребий, чтобы выбрать одного из десяти для того, чтобы жить в Иерусалиме, святом городе, тогда как прочие девять оставались в своих городах. 2Народ хвалил всех, кто добровольно соглашался жить в Иерусалиме.

3Вот вожди провинции, которые поселились в Иерусалиме (некоторые исраильтяне, священнослужители, левиты, храмовые слуги и потомки слуг Сулеймана жили в городах Иудеи, каждый – в своём владении в различных городах, 4а остальной народ из потомков Иуды и потомков Вениамина жил в Иерусалиме).

Из потомков Иуды:

Атая, сын Уззии, сына Закарии, сына Амарии, сына Шефатии, сына Малелеила, потомка Фареца; 5и Маасея, сын Баруха, сына Кол-Хозе, сына Хазаи, сына Адаи, сына Иоярива, сына Закарии, потомка Шелы. 6Потомков Фареца, живших в Иерусалиме, было 468 храбрых воинов.

7Из потомков Вениамина:

Саллу, сын Мешуллама, сына Иоеда, сына Педаи, сына Колаи, сына Маасея, сына Итиила, сына Иешаи, 8и за ним Габбай и Саллай – 928 человек. 9Иоиль, сын Зихри, был над ними начальником, а Иуда, сын Ассенуа, был вторым над городом.

10Из священнослужителей:

Иедая, сын Иоярива, Иахин, 11распорядитель в доме Аллаха Серая, сын Хилкии, сына Мешуллама, сына Цадока, сына Мерайота, сына Ахитува, 12и их собратья, исполняющие работы при храме, – 822 человека; Адая, сын Иерохама, сына Пелалии, сына Амци, сына Закарии, сына Пашхура, сына Малхии, 13и его собратья, которые были главами семейств, – 242 человека; Амашсай, сын Азарила, сын Ахзая, сын Мешиллемота, сына Иммера, 14и его11:14 Или: «их». собратья – храбрые воины – 128 человек. Начальником над ними был Завдиил, сын Аггедолима.

15Из левитов:

Шемая, сын Хашува, сына Азрикама, сына Хашавии, сына Бунни; 16Шаббетай и Иозавад, двое из глав левитов, которым был вверен надзор за внешней работой при доме Аллаха; 17Маттания, сын Михи, сына Завди, сына Асафа, главный начинатель благодарения при молитве; Бакбукия, второй среди его собратьев, и Авда, сын Шаммуа, сына Галала, сына Иедутуна. 18Всего левитов в святом городе было 284 человека.

19Привратники:

Аккув, Талмон и их собратья, которые несли дозор при воротах, – 172 человека.

20Остальные исраильтяне со священнослужителями и левитами находились во всех городах Иудеи, каждый в своём наделе.

21Храмовые слуги жили на холме Офел, и начальниками над ними были Циха и Гишпа.

22Начальником левитов в Иерусалиме был Уззий, сын Бани, сына Хашавии, сына Маттании, сына Михи. Уззий был одним из потомков Асафа, певцов, ответственных за служение в доме Аллаха. 23Было особое царское повеление о них, которое определяло их ежедневное содержание.

24Петахия, сын Мешезавила, один из потомков сына Иуды Зераха, был царским представителем во всех делах, касающихся народа.

25А что касается селений с их полями, то некоторые из народа Иудеи жили в Кириат-Арбе и её окрестных селениях, в Дивоне и его селениях, в Кавцеиле и его селениях, 26в Иешуе, в Моладе, в Бет-Пелете, 27в Хацар-Шуале, в Беэр-Шеве и её селениях, 28в Циклаге, в Мехоне и её селениях, 29в Ен-Риммоне, в Цоре, в Иармуте, 30Заноахе, Адулламе и их селениях, в Лахише и на его полях, в Азеке и в её селениях. Они обитали от Беэр-Шевы до долины Гинном.

31Потомки вениамитян из Гевы жили в Михмасе, Гае, Вефиле и его селениях, 32в Анатоте, Нове и Анании, 33в Хацоре, Раме и Гиттаиме, 34в Хадиде, Цевоиме и Неваллате, 35в Лоде, Оно и в Ге-Харашиме («долине ремесленников»).

36Некоторые из групп левитов Иудеи поселились в землях Вениамина.

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 11:1-36

Abatuuze Abapya aba Yerusaalemi

111:1 a Nek 7:4 b nny 18; Is 48:2; 52:1; 64:10; Zek 14:20-21 c Nek 7:73Abakulembeze b’abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi, abantu abalala ne bakuba akalulu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okugenda okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; omwenda bo ne basigala mu byalo byabwe. 2Abantu ne beebaza abo bonna abeewaayo okubeera mu Yerusaalemi.

311:3 1By 9:2-3; Ezr 2:1Bano be bakungu b’amasaza abaasenga mu Yerusaalemi: Abayisirayiri abamu, nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, n’abaweereza ab’omu yeekaalu, ne bazzukulu ba baddu ba Sulemaani; buli omu yabeeranga ku ttaka lye mu kibanja kye. 411:4 a Ezr 1:5 b Ezr 2:70Mu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n’abamu ku bantu abaava mu Benyamini.

Bazzukulu ba Yuda abaasenga eyo be bano:

Ataya mutabani wa Uzziya, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Sefatiya, muzzukulu wa Makalaleri, ow’omu lulyo lwa Pereezi;

5ne Maaseya mutabani wa Baluki, muzzukulu wa Kolukoze, muzzukulu wa Kazaya, muzzukulu wa Adaya, muzzukulu wa Yoyalibu, muzzukulu wa Zekkaliya, ow’omu lulyo lwa Siiro.

6Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira.

7Bazzukulu ba Benyamini abaasenga eyo be bano:

Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Yowedi, muzzukulu wa Pedaya, muzzukulu wa Kolaya, muzzukulu wa Maaseya, muzzukulu wa Isiyeri, muzzukulu wa Yesaya; 8n’abagoberezi be Gabbayi ne Sallayi, bonna ne bawera abasajja lwenda mu abiri mu munaana (928). 9Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa nga ye mukulu w’Ekitundu Ekyokubiri eky’ekibuga.

10Bakabona baali:

Yedaya mutabani wa Yoyalibu, ne Yakini, 1111:11 a 2Bk 25:18; Ezr 2:2 b Ezr 7:2ne Seraya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akitubu, alabirira ennyumba ya Katonda, 12ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, 13ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri, 14ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu.

15Abaleevi baali:

Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Bunni;

1611:16 a Ezr 10:15 b Ezr 8:33Sabbesayi ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, abaavunaanyizibwanga emirimu egy’ebweru egy’ennyumba ya Katonda;

1711:17 a 1By 9:15; Nek 12:8 b 2By 5:12 c 1By 25:1Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zabudi muzzukulu wa Asafu, eyakulemberanga okwebaza mu kiseera eky’okusaba;

Bakubukiya omumyuka we mu baganda be;

ne Abuda mutabani wa Sammuwa, muzzukulu wa Galali, ate muzzukulu wa Yedusuni.

1811:18 Kub 21:2Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284).

19Abakuumi b’emiryango baali:

Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172).

20Abayisirayiri abalala bonna, awamu ne bakabona, n’Abaleevi, baabeeranga mu byalo byonna ebya Yuda, buli muntu ng’ali ku butaka bwe.

2111:21 Ezr 2:43; Nek 3:26Naye abaweereza ba yeekaalu baabeeranga ku lusozi Oferi, era Zika ne Gisupa be baali abakulu baabwe.

2211:22 1By 9:15Omukulu w’Abaleevi mu Yerusaalemi yali Uzzi mutabani wa Baani, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Mattaniya, era muzzukulu wa Mikka. Ate era Uzzi yali omu ku bazzukulu ba Asafu, abaakulemberanga okuyimba mu nnyumba ya Katonda. 2311:23 Nek 7:44Abayimbi baakoleranga ku biragiro bya kabaka, nga buli lunaku bwe lwetaaganga.

2411:24 Lub 38:30Pesakiya mutabani wa Mesezaberi, omu ku bazzukulu ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yali omusigire wa Kabaka, ku nsonga zonna ez’abantu.

2511:25 a Lub 35:27; Yos 14:15 b Kbl 21:30Abantu abamu aba Yuda baabeeranga mu Kirasualuba n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Diboni n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Yekabuzeeri n’ebyalo ebikyetoolodde, 2611:26 Yos 15:27n’abalala mu Yesuwa, n’abalala mu Molada n’abalala mu Besupereti, 2711:27 Lub 21:14n’abalala mu Kazalusuwali, n’abalala mu Beeruseba n’ebyalo ebikyetoolodde, 2811:28 1Sa 27:6n’abalala mu Zikulagi, n’abalala mu Mekona n’ebyalo ebikyetoolodde 2911:29 a Yos 15:33 b Yos 10:3n’abalala mu Enulimmoni, n’abalala mu Zola, n’abalala mu Yalamusi, 3011:30 a Yos 15:35 b Yos 10:3 c Yos 10:10 d Yos 15:28n’abalala mu Zonowa, n’abalala mu Adulamu n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Lakisi n’ennimiro ezikyetoolodde, n’abalala mu Azeka n’ebyalo ebikyetoolodde. Ne basiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.

3111:31 a Yos 21:17; Is 10:29 b 1Sa 13:2Bazzukulu ba Benyamini abaava e Geba baabeeranga mu Mikumasi, ne mu Ayiya, ne mu Beseri n’ebyalo ebikyetoolodde, 3211:32 a Yos 21:18; Is 10:30 b 1Sa 21:1ne mu Anasosi, ne mu Nobu, ne mu Ananiya, 3311:33 a Yos 11:1 b 2Sa 4:3ne mu Kazoli, ne mu Laama, ne mu Gittayimu, 3411:34 1Sa 13:18ne mu Kadidi, ne mu Zeboyimu, ne mu Neballati, 3511:35 1By 8:12ne mu Loodi ne mu Ono, ne mu kiwonvu kya babumbi.

36Abamu ku b’omu bibinja by’Abaleevi aba Yuda, ne beegatta ku b’omu Benyamini.