Начало 30 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Начало 30:1-43

1Рахиля видела, что она не рожает Якубу детей, и позавидовала своей сестре Лии. Она сказала Якубу:

– Дай мне детей, или я умру!

2Якуб разгневался на неё и сказал:

– Разве я Аллах, Который не даёт тебе детей?

3Она сказала:

– Вот Билха, моя служанка. Ляг с ней, чтобы она родила мне на колени30:3 По-видимому, здесь говорится об обряде усыновления, после которого ребёнок должен был быть признан сыном Рахили., и у меня будут дети через неё30:3 По древнему ближневосточному обычаю бесплодная жена могла дать свою служанку мужу, чтобы усыновить родившихся от этого детей..

4Так она дала ему в жёны свою служанку Билху; Якуб лёг с ней, 5она забеременела и родила ему сына. 6Тогда Рахиля сказала: «Аллах оправдал меня; Он внял моей мольбе и дал мне сына». Поэтому она назвала его Дан («он оправдал»). 7Билха, служанка Рахили, снова забеременела и родила Якубу второго сына. 8Тогда Рахиля сказала: «Великой борьбой боролась я с моей сестрой и победила». И она назвала его Неффалим («моя борьба»).

9Увидев, что она перестала рожать детей, Лия взяла свою служанку Зелфу и дала её Якубу в жёны. 10Зелфа, служанка Лии, родила Якубу сына. 11Тогда Лия сказала: «Какая удача!» И она назвала его Гад («удача»). 12Зелфа, служанка Лии, родила Якубу второго сына. 13Тогда Лия сказала: «Как я счастлива! Женщины будут звать меня счастливицей!» И она назвала его Ашир («счастье»).

14Во время жатвы пшеницы, Рувим вышел в поле, нашёл мандрагоры30:14 Мандрагора – растение из семейства паслёновых, плоды которого также называли яблоками любви. Считалось, что мандрагоровые яблоки вызывают чувственное влечение и способствуют деторождению. и принёс их матери. Рахиля сказала Лии:

– Пожалуйста, дай мне несколько мандрагор твоего сына.

15Но та сказала ей:

– Ты уже забрала у меня мужа, а теперь хочешь забрать и мандрагоры сына моего?

– Хорошо, – сказала Рахиля, – пусть он ляжет с тобой сегодня ночью в обмен на мандрагоры твоего сына.

16Когда вечером Якуб пришёл с полей, Лия вышла встретить его и сказала:

– Ты должен лечь со мной. Я заплатила за тебя мандрагорами сына.

И он лёг с ней в ту ночь. 17Аллах услышал Лию, она забеременела и родила Якубу пятого сына. 18Тогда Лия сказала: «Аллах вознаградил меня за то, что я дала мужу мою служанку». И она назвала его Иссахар («вознаграждение»). 19Лия снова забеременела и родила Якубу шестого сына. 20Тогда она сказала: «Аллах подарил мне драгоценный подарок. Теперь муж станет чтить меня, потому что я родила ему шестерых сыновей». И она назвала его Завулон («честь»). 21Через какое-то время она родила дочь и назвала её Дина.

22Тогда Аллах вспомнил Рахилю. Он услышал её и открыл ей утробу: 23она забеременела и родила сына, и сказала: «Аллах снял мой позор». 24Она назвала его Юсуф («пусть прибавит»), потому что она сказала: «Да добавит мне Вечный ещё одного сына».

Обогащение Якуба

25После того как Рахиля родила Юсуфа, Якуб сказал Лавану:

– Отпусти меня, чтобы я мог вернуться в родные края. 26Дай мне моих жён и детей, за которых я служил тебе, и я тронусь в путь. Ты знаешь, как много я работал на тебя.

27Но Лаван сказал ему:

– Если я нашёл милость в твоих глазах, прошу тебя, останься: я узнал через гадание30:27 Гадание – ненавистно для Аллаха и запрещено законами Таурата (см. Лев. 19:26; Втор. 18:10-12)., что Вечный благословляет меня благодаря тебе, – 28и добавил: – Назови свою цену, я заплачу её.

29Якуб ответил ему:

– Ты знаешь, как я работал на тебя и каковы твои стада благодаря моей заботе. 30Они были немногочисленны до моего прихода, но теперь их число многократно увеличилось, и Вечный благословлял тебя из-за меня. Когда же, наконец, я смогу скопить что-нибудь и для собственного дома?

31Лаван спросил:

– Что тебе дать?

– Мне ничего не надо, – ответил Якуб. – Сделай для меня лишь одно, и я буду и дальше пасти и охранять твой скот: 32давай я обойду все твои стада – выбери из них всех крапчатых и пятнистых овец, всех тёмных ягнят и всех пятнистых и крапчатых козлов. Они и будут моей платой. 33Честность моя будет мне порукой в будущем, когда бы ты ни решил проверить плату, отданную мне. Если найдётся у меня не крапчатый и не пятнистый козёл или не тёмный ягнёнок, то они будут считаться крадеными.

34– Договорились, – сказал Лаван. – Пусть будет так, как ты сказал.

35И в тот же день он отделил всех козлов с крапинами или пятнами, всех пятнистых и крапчатых коз – тех, на которых было белое, – и всех тёмных ягнят, и отдал их под надзор сыновей. 36Он назначил расстояние между собой и Якубом в три дня пути, а Якуб продолжал пасти остальной мелкий скот Лавана.

37Якуб нарезал свежих веток тополя, миндаля и чинары и сделал на них белые полоски, сняв кору и обнажив белое дерево внутри. 38Он положил ветки с нарезкой во все поилки, чтобы они были прямо перед скотом, когда скот приходил пить. Во время брачной поры, когда животные приходили пить, 39они спаривались перед ветками, и потомство рождалось пёстрым, крапчатым или пятнистым. 40Якуб ставил этот молодняк отдельно, а остальных поворачивал к пёстрым и тёмным животным, которые принадлежали Лавану. Так у него появились собственные стада, и он держал их отдельно от скота Лавана. 41Когда пить приходили крепкие животные, Якуб клал перед ними в корыта ветки, чтобы они спаривались перед ветками, 42а если животные были слабые, он не клал веток. Так слабый скот доставался Лавану, а сильный – Якубу. 43Якуб начал богатеть, у него теперь были большие стада, а также служанки, слуги, верблюды и ослы.

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 30:1-43

Batabani ba Biira ne Zirupa

130:1 a Lub 29:31; 1Sa 1:5-6 b Lv 18:18Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya; n’agamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”

230:2 Lub 16:2; 20:18; 29:31Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”

330:3 Lub 16:2Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye.30:3 weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye Empisa eyo yaleetebwa mu nnyumba ya Ibulayimu okuva mu bantu ab’omu buvanjuba.430:4 a nny 9, 18 b Lub 16:3-4N’alyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye. 5Biira n’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi.

630:6 a Zab 35:24; 43:1; Kgb 3:59 b Lub 49:16-17Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani. 7Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 830:8 a Kos 12:3-4 b Lub 49:21Laakeeri n’alyoka agamba nti, “Nnwanye ne muganda wange okulwana okw’amaanyi era mpangudde;” omwana kyeyava amutuuma Nafutaali.

930:9 nny 4Awo Leeya bwe yalaba akomye okuzaala, n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Yakobo abe mukazi we. 10Zirupa omuweereza wa Leeya n’alyoka azaalira Yakobo omwana owoobulenzi; 1130:11 Lub 49:19Leeya n’agamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.

12Ate Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 1330:13 a Zab 127:3 b Nge 31:28; Luk 1:48 c Lub 49:20Leeya n’agamba nti, “Neesiimye! Kubanga abakazi banampita wa mukisa;” kyeyava amutuuma Aseri.

1430:14 Lu 7:13Lumu mu biseera eby’amakungula g’eŋŋaano Lewubeeni n’agenda mu nnimiro, n’anoga amadudayimu,30:14 Amadudayimu bibala ebiyamba ku luzaalo mu basajja n’abakazi. n’agaleetera nnyina Leeya. Laakeeri n’agamba Leeya nti, “Nkusaba ompe ku madudayimu g’omwana wo.” 1530:15 Kbl 16:9, 13Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”

16Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze n’amadudayimu g’omwana wange.” Kwe kwetaba naye.

1730:17 Lub 25:21Katonda n’awulira Leeya, n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookutaano. 1830:18 Lub 49:14Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.

19Leeya n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo Omwana owoobulenzi ow’omukaaga. 2030:20 Lub 35:23; 49:13; Mat 4:13Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.

21Oluvannyuma n’azaala omwana owoobuwala, n’amutuuma Dina. 2230:22 a Lub 8:1; 1Sa 1:19-20 b Lub 29:31Ate Katonda n’ajjukira Laakeeri, n’amuwulira n’aggula olubuto lwe. 2330:23 a nny 6 b Is 4:1; Luk 1:25N’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi, Laakeeri n’agamba nti, “Katonda anziggyeeko okunyoomebwa;” 2430:24 a Lub 35:24; 37:2; 39:1; 49:22-26 b Lub 35:17n’amutuuma Yusufu, ng’agamba nti, “Mukama annyongere omwana omulenzi.”

Yakobo Ateesa ne Labbaani

2530:25 Lub 24:54Laakeeri bwe yazaala Yusufu, Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Nsiibula, ŋŋende ewaffe mu nsi yaffe. 2630:26 Lub 29:20, 30; Kos 12:12Mpa bakazi bange n’abaana bange, be nkuweererezza, ondeke ŋŋende: kubanga omanyi okuweereza kwe nkuweerezza.”

2730:27 Lub 26:24; 39:3, 5Labbaani kwe kumuddamu nti, “Nga bwe nfunye omukisa mu ggwe, nkusaba oleme kuva wano, kubanga ndabye nga Mukama yampa omukisa ku bubwo. 2830:28 Lub 29:15Ntegeeza empeera yo nange ngikuwe.” 2930:29 a Lub 31:6 b Lub 31:38-40Yakobo n’amuddamu nti, “Ggwe kennyini omanyi nti nkuweerezza era n’ensolo zo nga nzaazizza. 3030:30 1Ti 5:8Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?”

31Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo: 3230:32 Lub 31:8, 12nzikiriza mpite mu kisibo kyo leero, nziggyemu buli ndiga enkulu eza bugondo n’eza bitanga, n’endiga ento enzirugavu, n’embuzi eza bugondogondo n’ezabitanga mu mbuzi, era ezo ze zinaabeera empeera yange. 33Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bw’olijja okukebera bw’onsasudde. Bw’olisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo n’eya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.”

34Labbaani n’amuddamu nti, “Ekyo kirungi. Kale kibeere bwe kityo nga bw’ogambye.” 3530:35 Lub 31:1Naye ekiro ekyo Labbaani n’aggya mu kisibo embuzi ennume eza biwuuga n’eza bitanga, n’embuzi enkazi zonna eza bugondogondo n’eza bitanga, buli eyalina ebbala eryeru, na buli ndiga nzirugavu n’aziwa abaana be bazirunde; 36nga beesudde ebbanga eritambulirwa ennaku ssatu okuva ku ye okutuuka ku Yakobo. Yakobo ye n’alunda ezo ezaasigalawo ku kisibo kya Labbaani.

37Awo Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi, n’obw’omwalamoni n’abususumbulako ebikuta mu bukuubo. 38N’asimba obuti bw’asasambudde mu maaso g’ebisibo ku by’esero ensolo we zanyweranga. 39Bwe zajjanga okunywa ne ziwakiranga mu maaso g’obuti obwo, ne zizaalanga eza biwuuga, n’eza bugondogondo n’eza bitanga. 40Yakobo n’ayawula ento ne zibeera zokka. Naye endala n’azitunuza okwolekera eza biwuuga n’enzirugavu eza Labbaani. Bw’atyo ne yeekolera ebisibo eby’enjawulo, n’atagatta zize na za Labbaani. 41Buli nsolo enkazi ez’amaanyi bwe zaabanga zigenda okuwaka nga Yakobo ateeka ku by’esero obuti bwe buli okwolekera ensolo ezigenda okuwaka, ziwakire okumpi nabwo. 42Naye ku nsolo ennafu teyabutekangawo. Olwo ensolo ennafu ne zibanga za Labbaani, zo ez’amaanyi ne zibanga za Yakobo. 4330:43 nny 30; Lub 12:16; 13:2; 24:35; 26:13-14Mu ngeri eyo Yakobo n’agenda ng’agaggawalira ddala nnyo, n’afuna ebisibo bingi ddala, wamu n’abaweereza abakazi n’abasajja; era n’afuna n’eŋŋamira n’embalaasi.