Начало 20 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Начало 20:1-18

Ибрахим и Сарра у Ави-Малика

1Оттуда Ибрахим перебрался в область Негев и поселился между Кадешем и Суром. Он жил пришельцем в Гераре, 2и там сказал о своей жене Сарре: «Она моя сестра». Ави-Малик, царь Герара, послал за Саррой и взял её к себе.

3Но Аллах явился к Ави-Малику ночью во сне и сказал ему:

– Тебе грозит смерть за женщину, которую ты взял к себе: она замужем.

4Но Ави-Малик не прикасался к ней, и поэтому он сказал:

– Владыка, неужели Ты уничтожишь невинный народ? 5Ведь он мне сказал: «Она моя сестра», и она сказала: «Он мой брат». В этом деле совесть моя чиста и руки невинны.

6Аллах сказал ему во сне:

– Да, Я знаю, что совесть твоя чиста: это Я удержал тебя от греха против Меня, поэтому и не позволил тебе прикоснуться к ней. 7Теперь верни жену мужу, потому что он – пророк, он помолится за тебя, и ты останешься жив. Но если ты не вернёшь её, знай, что тебе и твоим близким не избежать смерти.

8На другой день рано утром Ави-Малик собрал всех своих приближённых и рассказал им, что случилось; и они сильно испугались. 9Потом Ави-Малик вызвал Ибрахима и сказал:

– Что ты с нами сделал? Какое зло я тебе причинил, что ты навёл такую тяжкую вину на меня и моё царство? Ты поступил со мной так, как нельзя поступать.

10И Ави-Малик спросил Ибрахима:

– Что было у тебя на уме, когда ты сделал такое?

11Ибрахим ответил:

– Я подумал: «В этом месте, конечно, не боятся Аллаха, и они убьют меня за мою жену». 12Кроме того, она действительно моя сестра – дочь моего отца, хотя и не от моей матери; и она стала моей женой. 13Когда Аллах отправил меня странствовать из дома моего отца, я сказал ей: «Окажи мне такую услугу: куда бы мы ни пришли, говори обо мне, что я твой брат».

14Тогда Ави-Малик привёл мелкий и крупный скот, рабов и рабынь и дал их Ибрахиму; и вернул ему его жену Сарру.

15Ави-Малик сказал:

– Моя земля перед тобой: живи, где хочешь.

16Сарре он сказал:

– Я даю твоему брату двенадцать килограммов20:16 Букв.: «тысячу шекелей». серебра, чтобы покрыть твою обиду в глазах всего твоего дома; честь твоя восстановлена.

17Ибрахим помолился Аллаху, и Аллах исцелил Ави-Малика, и его жену, и рабынь, чтобы они снова могли иметь детей, 18потому что Вечный сделал бесплодными всех женщин в доме Ави-Малика из-за жены Ибрахима Сарры.

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 20:1-18

Abimereki Atwala Mukazi wa Ibulayimu

120:1 a Lub 18:1 b Lub 26:1, 6, 17Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. 220:2 a nny 12; Lub 12:13; 26:7 b Lub 12:15Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.

320:3 a Yob 33:15; Mat 27:19 b Zab 105:14Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.” 420:4 Lub 18:25Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango. 5Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”

620:6 1Sa 25:26, 34Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. 720:7 nny 17; 1Sa 7:5; Yob 42:8Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”

Okwegayirira kw’Abimereki eri Ibulayimu

8Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo. 920:9 Lub 12:18; 26:10; 34:7Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.” 10Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” 1120:11 a Lub 42:18; Zab 36:1 b Lub 12:12; 26:7Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange. 12Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange. 13Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”

1420:14 Lub 12:16Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we. 1520:15 Lub 13:9Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”

16N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”

1720:17 Yob 42:9Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. 1820:18 Lub 12:17Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.