Матай 25 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Матай 25:1-46

Притча о десяти девушках

1– Тогда Царство Аллаха будет подобно десяти девушкам, которые, взяв свои лампы, вышли встречать жениха. 2Пять из них были глупыми, а другие пять умными. 3Глупые девушки взяли лампы, но не взяли для них масла. 4А умные вместе с лампами взяли и масло в кувшинах. 5Жених задержался, и они все стали дремать и заснули. 6Около полуночи раздался крик: «Жених идёт! Выходите встречать его!» 7Девушки проснулись и стали поправлять свои лампы. 8Глупые сказали умным: «Дайте нам немного масла, наши лампы гаснут». 9«Нет, – ответили те, – если мы поделимся с вами маслом, то не хватит ни вам, ни нам. Пойдите лучше к торговцам и купите». 10Только они ушли за маслом, пришёл жених. Девушки с зажжёнными лампами вошли с ним на свадебный пир, и дверь за ними закрылась. 11Позже вернулись и остальные девушки и стали просить: «Господин! Господин! Открой нам!» 12Но жених ответил: «Говорю вам истину: я не знаю вас». 13Поэтому бодрствуйте: ведь вы не знаете ни дня, ни часа.

Притча о порученных деньгах

(Лк. 19:12-27)

14– Тогда будет, как у того человека, который, отправляясь в далёкое путешествие, созвал своих рабов и поручил им своё имущество. 15Одному он дал пять мешков с серебряными монетами25:15 Букв.: «пять талантов». Талант был греческой денежной единицей, равной 6 000 динариев. Наёмному работнику нужно было бы работать примерно 20 лет, чтобы получить лишь один талант., другому – два, третьему – один, каждому по его способностям, а сам уехал. 16Получивший пять мешков сразу пошёл, вложил деньги в дело и приобрёл ещё пять. 17Получивший два мешка тоже приобрёл ещё два. 18А тот, который получил один мешок, пошёл, вырыл яму и закопал деньги, которые ему доверил хозяин.

19Прошло много времени, и вот хозяин этих рабов вернулся и потребовал у них отчёта. 20Человек, которому было доверено пять мешков с монетами, принёс и другие пять: «Смотри, – сказал он хозяину, – ты доверил мне пять мешков, и я выручил ещё пять!» 21Хозяин сказал: «Молодец! Ты хороший и верный раб! Ты был верен в малом, и я поручу тебе более важное дело. Раздели радость со своим хозяином!»

22Пришёл и человек, которому дали два мешка монет. «Хозяин, – сказал он, – ты доверил мне два мешка с серебряными монетами, смотри, я выручил ещё два!» 23Хозяин сказал: «Молодец! Ты хороший и верный раб! Ты был верен в малом, и я смогу поручить тебе более важное дело. Раздели радость со своим хозяином!»

24Затем пришёл и тот, кому был доверен один мешок. «Господин, – говорит он, – я знал, что ты человек суровый, жнёшь там, где не сеял, и собираешь там, где не рассыпал. 25Я очень боялся и поэтому пошёл и спрятал твои деньги в землю. Вот то, что тебе принадлежит». 26Хозяин же ответил: «Злой и ленивый раб! Значит, ты знал, что я жну, где не сеял, и собираю, где не рассыпал? 27В таком случае ты должен был пустить мои деньги в оборот, чтобы, когда я вернусь, ты мог отдать их мне с прибылью. 28Заберите у него этот мешок и отдайте тому, у кого десять мешков. 29Потому что каждому, у кого есть, будет дано ещё, и у него будет избыток. А у кого нет, будет отнято и то, что он имеет. 30Выбросьте этого негодного раба вон, во тьму, где будет плач и скрежет зубов».

Козлы и овцы

31– Когда Ниспосланный как Человек придёт в Своей славе и с Ним все ангелы, тогда Он сядет на Свой царский престол. 32Перед Ним будут собраны все народы, и Он отделит одних людей от других, как пастух отделяет овец от козлов. 33«Овец» Он соберёт по правую сторону от Себя, а «козлов» – по левую.

34Тогда Царь скажет тем, кто по правую сторону: «Придите ко Мне, благословенные Моим Отцом, получите ваше наследство – Царство, приготовленное вам ещё от создания мира. 35Потому что Я был голоден, и вы накормили Меня; Я хотел пить, и вы напоили Меня; Я был странником, и вы приютили Меня; 36Я был наг, и вы одели Меня; Я был болен, и вы ухаживали за Мной; Я был в темнице, и вы пришли навестить Меня». 37Тогда праведные скажут: «Повелитель, когда это мы видели Тебя голодным и накормили Тебя? Когда Ты хотел пить, и мы дали Тебе напиться? 38Когда мы видели Тебя странником и приютили Тебя или видели нагим и одели? 39Когда мы видели Тебя больным или в темнице и навестили Тебя?» 40Царь им ответит: «Говорю вам истину: то, что вы сделали одному из наименьших Моих братьев, вы сделали Мне».

41Тогда Он скажет и тем, кто будет по левую сторону: «Идите от Меня, проклятые, в вечный огонь, приготовленный для Иблиса и его ангелов. 42Потому что Я был голоден, и вы не накормили Меня; Я хотел пить, и вы не напоили Меня; 43Я был странником, и вы не приютили Меня; Я был наг, и вы не одели Меня; Я был болен и в темнице, и вы не навестили Меня». 44Они тоже спросят: «Повелитель, когда это мы видели Тебя голодным, или когда Ты хотел пить, или был странником, или нуждался в одежде, или был болен, или в темнице, и мы не помогли Тебе?» 45Он им ответит: «Говорю вам истину: всё, чего вы не сделали для одного из этих наименьших, вы не сделали Мне».

46И они пойдут в вечное наказание, а праведники – в вечную жизнь.

Luganda Contemporary Bible

Matayo 25:1-46

Olugero lw’Abawala Ekkumi

125:1 a Mat 13:24 b Luk 12:35-38; Bik 20:8; Kub 4:5 c Kub 19:7; 21:2“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. 225:2 Mat 24:45Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba b’amagezi. 3Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. 4Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe. 525:5 1Bs 5:6Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.

6“Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’

7“Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. 825:8 Luk 12:35Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’

9“Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’

1025:10 Kub 19:9“Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. 11Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ 12Naye n’abaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’

1325:13 Mat 24:42, 44; Mak 13:35; Luk 12:40“Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku.”

Olugero lw’Ettalanta

1425:14 Mat 21:33; Luk 19:12“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye. 1525:15 Mat 18:24, 25Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira. 16Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala. 17N’oyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’aviisaamu endala biri. 18Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.

1925:19 Mat 18:23“Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera. 20Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’

2125:21 nny 23; Mat 24:45, 47; Luk 16:10“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’

22“Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’

2325:23 nny 21“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’

24“Omusajja eyalekerwa ttalanta emu n’ajja, n’agamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bw’oli omuntu omuzibu, okungulira gy’otaasigira era okuŋŋaanyiza gy’otaasaasaanyiza. 25Olw’okutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’

26“Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira, 27wanditadde ensimbi zange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’

28“N’alagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi. 2925:29 Mat 13:12; Mak 4:25; Luk 8:18; 19:26Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako. 3025:30 Mat 8:12N’omuddu oyo ataliiko ky’agasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

Endiga n’Embuzi

3125:31 a Mat 16:27; Luk 17:30 b Mat 19:28“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye. 3225:32 a Mal 3:18 b Ez 34:17, 20Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi. 33Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.

3425:34 a Mat 3:2; 5:3, 10, 19; 19:14; Bik 20:32; 1Ko 15:50; Bag 5:21; Yak 2:5 b Beb 4:3; 9:26; Kub 13:8; 17:8“Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi. 3525:35 Yob 31:32; Is 58:7; Ez 18:7; Beb 13:2Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, 3625:36 a Is 58:7; Ez 18:7; Yak 2:15, 16 b Yak 1:27 c 2Ti 1:16nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

37“Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? 38Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? 39Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’

4025:40 Nge 19:17; Mat 10:40, 42; Beb 6:10; 13:2“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’

4125:41 a Mat 7:23 b Is 66:24; Mat 3:12; 5:22; Mak 9:43, 48; Luk 3:17; Yud 7 c 2Pe 2:4“Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. 42Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, 43nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’

44“Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’

4525:45 Nge 14:31; 17:5“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’

4625:46 a Mat 19:29; Yk 3:15, 16, 36; 17:2, 3; Bar 2:7; Bag 6:8; 5:11, 13, 20 b Dan 12:2; Yk 5:29; Bik 24:15; Bar 2:7, 8; Bag 6:8“Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”