Иеремия 24 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Иеремия 24:1-10

Две корзины с инжиром

1После того как Навуходоносор, царь Вавилона, увёл в плен из Иерусалима в Вавилон иудейского царя Иехонию, сына Иоакима, с сановниками Иудеи, и с мастеровыми, и с кузнецами Иерусалима24:1 Это событие произошло в 597 г. до н. э. (см. 4 Цар. 24:10-17)., Вечный показал мне две корзины инжира, поставленные перед входом в храм Вечного. 2В одной корзине был отличный инжир раннего урожая; в другой корзине инжир был самый скверный, настолько плохой, что его нельзя было есть.

3И сказал мне Вечный:

– Что ты видишь, Иеремия?

Я ответил:

– Инжир. Хорошие плоды очень хороши, а плохие настолько испорчены, что их нельзя есть.

4И сказал мне Вечный:

5– Так говорит Вечный, Бог Исраила: Этим хорошим инжиром Я считаю изгнанников из Иудеи, высланных Мной из этой земли в землю вавилонян. 6Мои глаза будут обращены на них ради их же блага, и Я верну их на эту землю. Я утвержу их, а не разрушу; насажу, а не искореню. 7Я дам им сердце, способное познать Меня, познать, что Я – Вечный. Они будут Моим народом, а Я буду их Богом, потому что они вернутся ко Мне от чистого сердца.

8А этому скверному инжиру, который так плох, что его нельзя есть, – говорит Вечный, – Я уподоблю Цедекию, царя Иудеи, его приближённых и уцелевших горожан Иерусалима, независимо от того, останутся ли они в этой стране или поселятся в Египте. 9Я сделаю их ужасом и отвращением для всех царств на земле, позором и притчей, предметом издевательств и проклятий, повсюду, куда бы ни изгнал их. 10Я буду поражать их мечом, посылать на них голод и мор, пока они не исчезнут с земли, которую Я дал им и их предкам.

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 24:1-10

Ebibbo by’Emitiini

124:1 a 2Bk 24:16; 2By 36:9; Yer 29:2 b Am 8:1-2Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama. 224:2 Is 5:4Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.

324:3 Yer 1:11; Am 8:2Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”

4Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 5“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya. 624:6 a Yer 29:10; Ez 11:17 b Yer 33:7; 42:10Amaaso gange gajja kubalabirira olw’obulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula. 724:7 a Is 51:16; Yer 31:33; Beb 8:10 b Yer 32:40 c Ez 11:19Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.

824:8 a Yer 29:17 b Yer 39:6 c Yer 39:9 d Yer 44:1, 26“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama. 924:9 a Yer 15:4; 34:17 b Ma 28:25; 1Bk 9:7 c Yer 29:18 d Ma 28:37‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga. 1024:10 a Is 51:19 b Yer 27:8Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”