Забур 119 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Забур 119:1-7

Песнь 119

Песнь восхожденияПеснь 119 Согласно средневековым преданиям эти 15 песен (с 119 по 133) воспевались на 15 ступенях лестницы, ведущей из «женского двора» во «двор исраильтян» в Иерусалимском храме постпленной эпохи. Однако более вероятно, что они воспевались паломниками, следовавшими в Иерусалим на ежегодные религиозные праздники..

1В скорби своей я воззвал к Вечному,

и Он ответил мне.

2Я сказал: «Избавь меня, Вечный,

от коварных лжецов!»

3Что Аллах даст тебе

и что прибавит, коварный лжец?

4Он накажет тебя острыми стрелами воина

и горящими углями из корней дрока.

5Горе мне, что пребываю в Мешехе

и живу среди кедарских шатров119:5 Мешех находился в Малой Азии, а Кедар – в Аравии (см. Езек. 27:21; Ис. 21:13-17). Эти местности здесь символизируют очень отдалённые от Исраила земли..

6Душа моя слишком долго жила

с ненавидящими мир.

7Я – мирный человек,

но только заговорю – они сразу к войне.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 119:1-176

Zabbuli 119

א Alefu

1119:1 Zab 128:1Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;

abatambulira mu mateeka ga Mukama.

2119:2 Ma 6:5Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,

era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.

3119:3 1Yk 3:9; 5:18Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.

4Ggwe wateekawo ebiragiro byo;

n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.

5Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;

nga nkuuma bye walagira.

6Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga

ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.

7Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,

nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.

8Nnaakwatanga amateeka go;

Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

9119:9 2By 6:16Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?

Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

10119:10 a 2By 15:15 b nny 21, 118Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;

tonzikiriza kuva ku mateeka go.

11119:11 Zab 37:31; Luk 2:19, 51Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;

ndyoke nneme okwonoona.

12119:12 nny 26Ogulumizibwe, Ayi Mukama;

onjigirize amateeka go.

13119:13 Zab 40:9Njatula n’akamwa kange

amateeka go gonna ge walagira.

14Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,

ng’asanyukira eby’obugagga.

15119:15 Zab 1:2Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,

ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.

16119:16 Zab 1:2Nnaasanyukiranga amateeka go,

era siigeerabirenga.

ג Gimero

17119:17 Zab 13:6; 116:7Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,

ngobererenga ekigambo kyo.

18Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba

eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.

19119:19 1By 29:15; Zab 39:12; 2Ko 5:6; Beb 11:13Nze ndi muyise ku nsi;

tonkisa bye walagira.

20119:20 a Zab 42:2; 84:2 b Zab 63:1Bulijjo emmeeme yange

eyaayaanira amateeka go.

21119:21 nny 10Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,

abaleka amateeka go.

22119:22 Zab 39:8Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;

kubanga bye walagira mbigondera.

23Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;

naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.

24Amateeka go lye ssanyu lyange,

era ge gannuŋŋamya.

ד Daleeti

25119:25 a Zab 44:25 b Zab 143:11Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;

nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.

26119:26 Zab 25:4; 27:11; 86:11Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;

onjigirize amateeka go.

27119:27 Zab 145:5Njigiriza amateeka go bye gagamba,

nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.

28119:28 a Zab 107:26 b Zab 20:2; 1Pe 5:10Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;

onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.

29Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;

olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.

30Nonzeewo okubeera omwesigwa;

ntambulire mu ebyo bye walagira.

31119:31 Ma 11:22Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,

tondeka kuswazibwa.

32Bw’onoosumulula omutima gwange,

nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.

ה Eh

33119:33 nny 12Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;

ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.

34Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go

era ngakwate n’omutima gwange gwonna.

35Ntambuliza mu mateeka go,

kubanga mwe nsanyukira.

36119:36 a 1Bk 8:58 b Ez 33:31; Mak 7:21-22; Luk 12:15; Beb 13:5Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;

so si eri eby’okufuna ebitaliimu.

37119:37 Zab 71:20; Is 33:15Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;

obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.

38119:38 2Sa 7:25Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,

kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.

39Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,

kubanga ebiragiro byo birungi.

40119:40 nny 20Laba, njayaanira ebiragiro byo;

onkomyewo mu butuukirivu bwo.

ו Waawu

41Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;

ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;

42119:42 Nge 27:11ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;

kubanga neesiga kigambo kyo.

43Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;

kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.

44Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,

emirembe n’emirembe.

45Era nnaatambulanga n’emirembe,

kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.

46119:46 Mat 10:18; Bik 26:1-2Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,

nga sikwatibwa nsonyi.

47Kubanga nsanyukira amateeka go,

era ngaagala.

48Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.

Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

ז Zayini

49Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,

kubanga gwe wampa essuubi.

50119:50 Bar 15:4Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi

kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.

51119:51 a Yer 20:7 b nny 157; Yob 23:11; Zab 44:18Ab’amalala banduulira obutamala,

naye nze siva ku mateeka go.

52119:52 Zab 103:18Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,

biwummuza omutima gwange.

53119:53 a Ezr 9:3 b Zab 89:30Nkyawa nnyo abakola ebibi,

abaleka amateeka go.

54Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba

buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.

55119:55 Zab 63:6Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,

ne neekuuma amateeka go.

56Olw’okukugonderanga

nfunye emikisa gyo mingi.

ח Esi

57119:57 Zab 16:5; Kgb 3:24Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;

nasuubiza okukugonderanga.

58119:58 a 1Bk 13:6 b nny 41Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,

ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.

59119:59 Luk 15:17-18Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,

ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.

60Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,

so seekunya.

61119:61 Zab 140:5Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,

naye seerabirenga mateeka go.

62119:62 Bik 16:25Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,

olw’ebiragiro byo ebituukirivu.

63119:63 Zab 101:6-7Ntambula n’abo abakutya,

abo bonna abakwata amateeka go.

64119:64 Zab 33:5Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;

onjigirize amateeka go.

ט Teesi

65Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,

ng’ekigambo kyo bwe kiri.

66Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;

kubanga nzikiririza mu mateeka go.

67119:67 Yer 31:18-19; Beb 12:11Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,

naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.

68119:68 a Zab 106:1; 107:1; Mat 19:17 b nny 12Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;

onjigirize amateeka go.

69119:69 Yob 13:4; Zab 109:2Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,

naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.

70119:70 Zab 17:10; Is 6:10; Bik 28:27Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;

naye nze nsanyukira amateeka go.

71Okubonerezebwa kwangasa,

ndyoke njige amateeka go.

72119:72 Zab 19:10; Nge 8:10-11, 19Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi

okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

י Yoodi

73119:73 Yob 10:8; Zab 100:3; 138:8; 139:13-16Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,

mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.

74119:74 Zab 34:2Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,

kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

75119:75 Beb 12:5-11Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,

era wali mutuufu okumbonereza.

76Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,

nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.

77119:77 nny 41Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;

kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.

78119:78 a Yer 50:32 b nny 86, 161Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.

Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.

79Abo abakutya bajje gye ndi,

abategeera amateeka go.

80Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,

nneme kuswazibwa!

כ Kaafu

81119:81 Zab 84:2Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,

essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

82119:82 Zab 69:3; Kgb 2:11Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;

ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”

83Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka119:83 Ensawo ez’eddiba eza wayini atanakaatuuka, zaawanikibwanga waggulu omukka guziyiteko, wayini akaatuuke mangu. Oluvannyuma, ensawo ey’eddiba teyakozesebwanga nate, era yasuulibwanga,

naye seerabira bye walagira.

84119:84 Zab 39:4; Kub 6:10Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi

nga tonnabonereza abo abanjigganya?

85119:85 Zab 35:7; Yer 18:20, 22Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;

be bo abatagondera mateeka go.

86119:86 a Zab 35:19 b Zab 109:26 c nny 78Amateeka go gonna geesigibwa;

abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!

87119:87 Is 58:2Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;

naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.

88Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,

ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.

ל Lamedi

89119:89 Mat 24:34-35; 1Pe 1:25Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,

kya mirembe gyonna.

90119:90 a Zab 36:5 b Zab 148:6; Mub 1:4Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;

watonda ensi era enyweredde ddala.

91119:91 Yer 33:25Amateeka go na buli kati manywevu;

kubanga ebintu byonna bikuweereza.

92Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,

nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.

93Siyinza kwerabira biragiro byo;

kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.

94Ndi wuwo, ndokola,

kubanga neekuumye bye walagira.

95Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;

naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.

96Ebintu byonna biriko we bikoma

naye amateeka go tegakugirwa.

מ Meemu

97119:97 Zab 1:2Amateeka go nga ngagala nnyo!

Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.

98119:98 Ma 4:6Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,

kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.

99Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,

kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.

100119:100 Yob 32:7-9Ntegeera okusinga abakadde;

kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.

101119:101 Nge 1:15Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,

nsobole okugondera ekigambo kyo.

102Sivudde ku mateeka go,

kubanga ggwe waganjigiriza.

103119:103 a Zab 19:10; Nge 8:11 b Nge 24:13-14Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!

Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.

104119:104 nny 128Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;

kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

נ Nuuni

105119:105 Nge 6:23Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,

era kye kimulisa ekkubo lyange.

106119:106 Nek 10:29Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza

nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.

107Nnumizibwa nnyo;

nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.

108119:108 Kos 14:2; Beb 13:15Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;

era onjigirize amateeka go.

109119:109 Bal 12:3; Yob 13:14Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,

naye seerabira mateeka go.

110119:110 a Zab 140:5; 141:9 b nny 10Abakola ebibi banteze omutego,

naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.

111Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;

weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.

112119:112 nny 33Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo

ennaku zonna ez’obulamu bwange.

ס Sameki

113119:113 Yak 1:8Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,

naye nze njagala amateeka go.

114119:114 a Zab 32:7; 91:1 b nny 74Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;

essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

115119:115 Zab 6:8; 139:19; Mat 7:23Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,

mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.

116119:116 a Zab 54:4 b Zab 25:2; Bar 5:5; 9:33Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;

nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.

117Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,

era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.

118Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;

weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.

119119:119 Ez 22:18, 19Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;

nze kyenva njagala ebyo bye walagira.

120119:120 Kbk 3:16Nkankana nzenna nga nkutya,

era ntya amateeka go.

ע Ayini

121Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;

tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.

122119:122 Yob 17:3Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,

oleme kukkiriza ababi okunjooganga.

123119:123 nny 82Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo

n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.

124119:124 nny 12Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;

era onjigirize amateeka go.

125119:125 Zab 116:16Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;

ndyoke ntegeere ebiragiro byo.

126Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,

kubanga amateeka go gamenyeddwa.

127119:127 Zab 19:10Naye nze njagala amateeka go

okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.

128119:128 nny 104, 163Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;

nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

פ Pe

129Ebiragiro byo bya kitalo;

kyenva mbigondera.

130119:130 a Nge 6:23 b Zab 19:7Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;

n’atategeera bulungi bimugeziwaza.

131119:131 a Zab 42:1 b nny 20Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja

nga njaayaanira amateeka go.

132119:132 Zab 25:16; 106:4Nkyukira, onkwatirwe ekisa,

nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.

133119:133 a Zab 17:5 b Zab 19:13; Bar 6:12Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,

era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.

134119:134 Zab 142:6; Luk 1:74Mponya okujooga kw’abantu,

bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.

135119:135 Kbl 6:25; Zab 4:6Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,

era onjigirizenga amateeka go.

136119:136 a Yer 9:1, 18 b Ez 9:4Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,

olw’abo abatakwata mateeka go.

צ Tisade

137119:137 a Ezr 9:15; Yer 12:1 b Nek 9:13Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,

era amateeka go matuufu.

138119:138 Zab 19:7Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,

era byesigibwa.

139119:139 Zab 69:9; Yk 2:17Nnyiikadde nnyo munda yange,

olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.

140119:140 Zab 12:6Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,

kyenva mbyagala.

141119:141 Zab 22:6Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.

142119:142 Zab 19:7Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,

n’amateeka go ga mazima.

143Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,

amateeka go ge gansanyusa.

144119:144 Zab 19:9Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;

onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

ק Koofu

145Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!

Nnaagonderanga amateeka go.

146Nkukaabirira, ondokole,

nkwate ebiragiro byo.

147119:147 Zab 5:3; 57:8; 108:2Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;

essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

148119:148 Zab 63:6Seebaka ekiro kyonna

nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.

149Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,

ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.

150Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,

kyokka bali wala n’amateeka go.

151119:151 a Zab 34:18; 145:18 b nny 142Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,

era n’amateeka go gonna ga mazima.

152119:152 Luk 21:33Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,

nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153119:153 a Kgb 5:1 b Nge 3:1Tunuulira okubonaabona kwange omponye,

kubanga seerabira mateeka go.

154119:154 a Mi 7:9 b 1Sa 24:15Ompolereze, onnunule,

onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.

155119:155 Yob 5:4Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,

kubanga tebanoonya mateeka go.

156119:156 2Sa 24:14Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,

onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.

157119:157 Zab 7:1Abalabe abanjigganya bangi,

naye nze siivenga ku biragiro byo.

158119:158 Zab 139:21Nnakuwalira abo abatakwesiga,

kubanga tebakwata biragiro byo.

159Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!

Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.

160Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;

n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161119:161 1Sa 24:11Abafuzi banjigganyiza bwereere,

naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.

162119:162 1Sa 30:16Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana

ng’oyo afunye obugagga obungi.

163Nkyawa era ntamwa obulimba,

naye amateeka go ngagala.

164Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu

olw’amateeka go amatuukirivu.

165119:165 Nge 3:2; Is 26:3, 12; 32:17Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;

tewali kisobola kubeesittaza.

166119:166 Lub 49:18Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,

era mu biragiro byo mwe ntambulira.

167Ŋŋondera ebiragiro byo,

mbyagala nnyo nnyini.

168119:168 Nge 5:21Buli kye nkola okimanyi,

era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169119:169 Zab 18:6Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,

ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.

170119:170 a Zab 28:2 b Zab 31:2Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,

onnunule nga bwe wasuubiza.

171119:171 a Zab 51:15 b Zab 94:12Akamwa kange kanaakutenderezanga,

kubanga gw’onjigiriza amateeka go.

172Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,

kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.

173119:173 a Zab 37:24 b Yos 24:22Omukono gwo gumbeerenga,

kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.

174119:174 nny 166Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,

era amateeka go lye ssanyu lyange.

175119:175 Is 55:3Ompe obulamu nkutenderezenga,

era amateeka go gampanirirenga.

176119:176 Is 53:6Ndi ng’endiga ebuze.

Onoonye omuddu wo,

kubanga seerabidde mateeka go.