Езекиил 5 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Езекиил 5:1-17

1Теперь, смертный, возьми острый меч и обрей им, как бритвой цирюльника, себе голову и бороду. Возьми весы и раздели волосы на части. 2Когда дни твоей осады закончатся, сожги треть волос посреди нарисованного города. Другую треть возьми и изруби вокруг города мечом. Оставшуюся треть развей по ветру, и Я обнажу Свой меч и буду преследовать их. 3Но несколько волосков возьми и завяжи в край одежды. 4А из них возьми ещё, брось в огонь и дай сгореть. Огонь полыхнёт оттуда на весь народ Исраила.

5Так говорит Владыка Вечный:

– Это Иерусалим; Я поставил его посреди народов, и вокруг него – страны. 6Но он восстал против Моих законов и установлений, сделавшись нечестивее народов и стран, которые вокруг него; он отверг Мои законы и не соблюдал Моих установлений.

7Поэтому так говорит Владыка Вечный:

– Вы были непокорнее народов, которые вокруг вас, не соблюдали Моих установлений и не исполняли Моих законов, и даже не поступали5:7 Или: «даже поступали». по обычаям народов, которые вокруг вас.

8Поэтому так говорит Владыка Вечный:

– Смотри, Я Сам стал твоим противником; Я исполню над тобой приговор на глазах у народов. 9Из-за твоих омерзительных идолов Я сделаю с тобой то, чего не делал прежде и не сделаю впредь. 10За это ваши отцы будут есть своих детей, а дети будут есть своих отцов. Я исполню над тобой приговор и развею уцелевших по всем ветрам.

11Верно, как и то, что Я живу, – возвещает Владыка Вечный, – за то, что ты осквернил Моё святилище своими гнусными истуканами и омерзительными обычаями, Я сражу тебя: не взгляну на тебя с жалостью и не пощажу. 12Треть твоего народа умрёт от мора или погибнет от голода; треть падёт от меча за твоими стенами; а треть Я развею по ветру, обнажу Свой меч и буду преследовать их.

13Тогда Мой гнев угаснет, ярость против них уляжется, и Я буду удовлетворён. Когда Я изолью на них ярость, они узнают, что это Я, Вечный, говорил, объятый ревностью.

14Я сделаю тебя пустырём и позорищем у народов, которые вокруг тебя, в глазах всех, кто будет проходить мимо. 15Ты станешь позорищем и насмешкой, уроком и ужасом для всех народов, которые вокруг тебя, когда Я исполню над тобой приговор в гневе и в ярости, в неистовых казнях. Я, Вечный, сказал это. 16Я буду пускать в тебя злые стрелы голода, чтобы погубить тебя. Я усилю у тебя голод и уничтожу запасы пищи. 17Я нашлю на тебя голод и диких зверей, и они лишат тебя детей. Мор и кровопролитие пройдут по тебе, и Я наведу на тебя меч. Я, Вечный, сказал это.

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 5:1-17

15:1 a Is 7:20 b Ez 44:20 c Lv 21:5“Kaakano, omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi, okikozese nga weembe ya kinyoozi okwemwa omutwe n’ekirevu. N’oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime era ozigabanyeemu. 25:2 nny 12; Lv 26:33Ennaku ez’obusibe bwo bwe ziriggwaako, oyokere kimu kya kusatu ku nviiri ezo mu kibuga. Ekimu kya kusatu ekirala okisaasaanye mu mpewo. Ndibagobesa ekitala. 35:3 Yer 39:10Naye ddira ku miguwa mitono, egy’enviiri ogifundikire mu kyambalo kyo. 4Ate era ddira mitono ku egyo, ogisuule mu muliro, ogyokye. Omuliro gulibuna ennyumba ya Isirayiri yonna okuva okwo.

5“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Eno ye Yerusaalemi gye nateeka wakati mu mawanga, ng’ensi zonna zigyetoolodde. 65:6 Yer 11:10; Ez 16:47-51; Zek 7:11Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange.

75:7 2By 33:9; Yer 2:10-11; Ez 16:47“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mubadde bajeemu nnyo n’okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mukoze ebibi okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mwonoonye okukira amawanga agabeetoolodde bwe gakola.

85:8 Ez 15:7“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonerereza mu maaso g’amawanga. 95:9 Dan 9:12; Mat 24:21Olwa bakatonda bo abalala bonna ab’emizizo, ndikukola ekyo kye sikolanga, era kye siriddayo kukola. 105:10 a Lv 26:29; Kgb 2:20 b Lv 26:33; Zab 44:11; Ez 12:14; Zek 2:6Bakitaabwe baliriira abaana baabwe mu maaso gammwe, ate n’abaana balirya bakitaabwe, era ndikubonereza ne nsasaanya abalisigalawo eri empewo. 115:11 a Ez 7:20 b 2By 36:14; Ez 8:6 c Ez 7:4, 9Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera Mukama Katonda. 125:12 nny 2, 17; Yer 15:2; 21:9; Ez 6:11-12; 12:14Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole.

135:13 a Ez 21:17; 36:6 b Is 1:24“Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi kyange birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balimanya nga nze Mukama nkyogeredde mu buggya.

145:14 Lv 26:32; Nek 2:17; Zab 74:3-10; 79:1-4“Ndikufuula ekyazikirira era ekivume mu mawanga agakwetoolodde, mu maaso g’abo bonna abayitawo. 155:15 a 1Bk 9:7; Yer 22:8-9; 24:9 b Ez 25:17Bwe ndikubonerereza mu busungu bwange, ne mu kiruyi kyange nga nnyiize, oliba kivume, oyogerebweko oyeeyerezebwe. Oliba kyakulabula era ekintu ekitiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze Mukama nkyogedde. 165:16 Ma 32:24Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa. 175:17 a Ez 38:22 b Ez 14:21Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze Mukama nkyogedde.”