Второзаконие 6 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Второзаконие 6:1-25

Повеление любить Вечного

1Вот повеления, установления и законы, которые Вечный, ваш Бог, велел мне научить вас соблюдать в земле, куда вы вступаете, чтобы овладеть ею. 2Всё это для того, чтобы вы, ваши дети и дети ваших детей, пока живы, пребывали в страхе перед Вечным, вашим Богом, соблюдали все Его установления и повеления, которые я даю вам, и тогда ваша жизнь будет долгой. 3Слушай, Исраил, и старайся повиноваться, тогда у тебя всё будет благополучно и умножится твой народ в земле, где течёт молоко и мёд, как и обещал вам Вечный, Бог ваших предков.

4Слушай, Исраил! Вечный – наш Бог, Вечный – един6:4 Или: «Вечный – наш Бог, лишь только Вечный».. 5Люби Вечного, Бога твоего, всем сердцем, всей душой и всеми силами своими. 6Повеления, которые я даю тебе сегодня, должны быть у тебя в сердце. 7Внушай их своим детям. Говори о них, когда сидишь дома и когда идёшь по дороге, когда ложишься и когда встаёшь. 8Навяжи их как напоминание на руки и обвяжи ими лоб. 9Напиши их на дверных косяках и на воротах своего дома.

10Когда Вечный, твой Бог, введёт тебя в землю, которую Он клялся дать твоим предкам Ибрахиму, Исхаку и Якубу, землю с большими, процветающими городами, которые ты не строил, 11домами, наполненными всяким добром, которого ты не собирал, колодцами, которые ты не копал6:11 Или: «колодцами высеченными из камня, которых ты не высекал»., виноградниками и оливковыми рощами, которые ты не сажал, то, поев и насытившись, 12берегись, не забудь Вечного, Который вывел тебя из Египта, из земли рабства.

13Бойся Вечного, Бога твоего, служи Ему одному и клянись Его именем. 14Не следуй другим богам, богам окружающих тебя народов; 15ведь Вечный, твой Бог, Который с тобой, – ревнивый Бог, Его гнев вспыхнет против тебя, и Он истребит тебя с лица земли. 16Не испытывай Вечного, Бога твоего, как ты делал в Массе6:16 См. Исх. 17:1-7.. 17Неуклонно соблюдай повеления Вечного, Бога твоего, Его заповеди и установления, которые Он дал тебе. 18Делай то, что правильно и хорошо в глазах Вечного, чтобы у тебя всё было благополучно и ты вошёл и завладел благодатной землёй, которую Вечный клятвенно обещал твоим предкам. 19Он прогонит всех твоих врагов перед тобой, как и говорил.

20В будущем, когда твой сын спросит тебя: «Каков смысл заповедей, установлений и законов, которые Вечный, наш Бог, повелел вам соблюдать?» – 21скажи ему: «Мы были рабами фараона в Египте, но Вечный вывел нас из Египта могучей рукой. 22У нас на глазах Вечный послал знамения и чудеса – великие и страшные – на Египет, на фараона и на весь его дом. 23Но нас Он вывел оттуда, чтобы дать нам землю, которую Он клятвенно обещал нашим предкам. 24Вечный повелел нам исполнять все эти установления и жить в страхе перед Ним, нашим Богом, чтобы мы всегда преуспевали и смогли сохранить нашу жизнь, как это и есть сегодня. 25И если мы будем внимательно исполнять все законы перед Вечным, нашим Богом, как Он повелел нам, то это и будет нашей праведностью».

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 6:1-25

Yagalanga Mukama Katonda wo

1“Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 26:2 Kuv 20:20; Ma 10:12-13Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga. 36:3 a Ma 5:33 b Kuv 3:8Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.

Etteeka ly’Okwagala

46:4 Mak 12:29*“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu. 56:5 a Mat 22:37* b Ma 10:12Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. 66:6 Ma 11:18Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. 76:7 Ma 4:9; 11:19Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. 86:8 Kuv 13:9, 16Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. 96:9 Ma 11:20Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.

106:10 Yos 24:13Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, 116:11 Ma 8:10n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, 12weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.

136:13 a Ma 10:20 b Mat 4:10*; Luk 4:8*“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga. 14Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde; 156:15 Ma 4:24kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi. 166:16 Kuv 17:7; Mat 4:7*; Luk 4:12*Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa. 176:17 Ma 11:22; Zab 119:4Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde. 186:18 Ma 4:40Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa, 19ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.

Okunnyonnyolanga Abaana Amateeka

206:20 Kuv 13:14“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki? 21Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 22Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. 23N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. 246:24 a Ma 10:12; Yer 32:39 b Zab 41:2Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero. 256:25 Ma 24:13; Bar 10:3, 5Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”