2 Летопись 26 – CARS & LCB

Священное Писание

2 Летопись 26:1-23

Уззия – царь Иудеи

(4 Цар. 14:21-22; 15:1-3)

1После этого весь народ Иудеи взял Уззию, которому было шестнадцать лет, и сделал его царём вместо его отца Амасии. 2Это он отстроил порт Елат и вернул его Иудее, после того как Амасия упокоился со своими предками.

3Уззии было шестнадцать лет, когда он стал царём, и правил он в Иерусалиме пятьдесят два года. Его мать звали Иехолия, она была родом из Иерусалима. 4Он делал то, что было правильным в глазах Вечного, как и его отец Амасия. 5Он искал Всевышнего при жизни Закарии, который наставлял его в страхе перед Всевышним. Пока он искал Вечного, Всевышний посылал ему успех.

6Он пошёл войной на филистимлян и разрушил стены городов Гата, Иавне и Ашдода. После этого он отстроил города рядом с Ашдодом и в других местах филистимской земли. 7Всевышний помогал ему в битве против филистимлян, арабов, которые жили в Гур-Баале, и меунитян. 8Аммонитяне платили Уззии дань, и его слава дошла до Египта, потому что он стал очень могуществен.

9Уззия возвёл башни в Иерусалиме над Угловыми воротами, над воротами Долины и на углу стены и укрепил их. 10Он возвёл башни и в пустыне и вытесал много хранилищ для воды, потому что у него было много скота в предгорьях и на равнине. А в горах и на плодородных землях у него трудились землепашцы и виноградари. Он любил земледелие.

11У Уззии было хорошо обученное войско, готовое выступить на войну по отделениям, по числу в списках, составленных писарем Иеилом и чиновником Маасеей под руководством Ханании, одного из царских сановников. 12Общим счётом глав храбрых воинов было две тысячи шестьсот человек. 13Под их началом было войско из трёхсот семи тысяч пятисот обученных воинов – огромная сила, чтобы помогать царю в битве против врагов. 14Уззия заготовил для всего войска щиты, копья, шлемы, латы, луки и камни для пращей. 15В Иерусалиме он соорудил машины, придуманные искусными мастерами, чтобы с башен и с углов городских стен пускать стрелы и метать огромные камни. Слава о нём распространилась далеко, он получал большую помощь и стал могущественным царём.

Падение и наказание Уззии

(4 Цар. 15:5-7)

16Но когда Уззия обрёл могущество, гордыня привела его к падению. Он нарушил верность Вечному, своему Богу, и вошёл в храм Вечного, чтобы возжечь благовония на жертвеннике. 17Священнослужитель Азария и с ним ещё восемьдесят священнослужителей, мужественных людей, вошли вслед за ним, 18преградили ему путь и сказали:

– Не подобает тебе, Уззия, возжигать Вечному благовония. Это удел священнослужителей, потомков Харуна, которые были посвящены, чтобы возжигать благовония. Покинь святилище – ты совершил преступление и не будешь в чести у Вечного Бога!

19Уззия, который держал в руке сосуд для возжигания благовоний и был уже готов совершать приношение, разгневался. И в то время, когда он гневался на священнослужителей, у него на лбу появилась проказа26:19 На языке оригинала здесь и далее в этой главе стоит слово, которое обозначает несколько разных кожных болезней, а не только проказу.. Это произошло на глазах у священнослужителей, в храме Вечного, перед жертвенником. 20Когда главный священнослужитель Азария и все остальные священнослужители посмотрели на него, они увидели это, и поспешили вывести его оттуда. Да и сам он спешил уйти, потому что Вечный поразил его.

21Царь Уззия был прокажённым до самой его смерти. Он жил в отдельном доме, больной, отлучённый от храма Вечного. Иотам, его сын, распоряжался в царском дворце и управлял народом страны.

22Прочие события царствования Уззии, от первых до последних, записал пророк Исаия, сын Амоца. 23Уззия упокоился со своими предками и был похоронен рядом с ними на поле для погребения, которое принадлежало царям. Он не был похоронен с ними в пещерах, потому что народ говорил: «Он был болен проказой». И царём вместо него стал его сын Иотам.

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 26:1-23

Uzziya Kabaka wa Yuda

126:1 2By 22:1Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya. 2N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa.

3Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. 4N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola. 526:5 a 2By 15:2; 24:2; Dan 1:17 b 2By 27:6N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.

626:6 a Is 2:6; 11:14; 14:29; Yer 25:20 b Am 1:8; 3:9N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti. 726:7 a 2By 21:16 b 2By 20:1Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu. 826:8 Lub 19:38; 2By 17:11Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.

926:9 a 2Bk 14:13; 2By 25:23 b Nek 2:13; 3:13Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe. 10Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.

11Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka. 12Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). 13Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka. 1426:14 Yer 46:4Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo. 15N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.

1626:16 a 2Bk 14:10 b Ma 32:15; 2By 25:19 c 1By 5:25 d 2Bk 16:12Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. 1726:17 1Bk 4:2; 1By 6:10Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali, 1826:18 a Kbl 16:39 b Kbl 18:1-7 c Kuv 30:7 d 1By 6:49ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”

1926:19 Kbl 12:10; 2Bk 5:25-27Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. 20Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.

2126:21 Kuv 4:6; Lv 13:46; 14:8; Kbl 5:2; 19:12Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga. 2226:22 2Bk 15:1; Is 1:1; 6:1Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi. 2326:23 a Is 1:1; 6:1 b 2Bk 14:21; 15:7; Am 1:1Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.