1 Летопись 10 – CARS & LCB

Священное Писание

1 Летопись 10:1-14

Гибель Шаула и его сыновей

(1 Цар. 31:1-13)

1Филистимляне воевали с Исраилом, и исраильтяне бежали от них и падали сражёнными на горе Гильбоа. 2Филистимляне нагнали Шаула и его сыновей и убили Ионафана, Авинадава и Малик-Шуа. 3Вокруг Шаула разгорелась жестокая битва. Лучники нашли его и ранили.

4Шаул сказал своему оруженосцу:

– Обнажи свой меч и заколи меня, иначе эти необрезанные придут и станут глумиться надо мной.

Но его оруженосец не решился сделать это, потому что сильно испугался. Тогда Шаул взял свой меч и бросился на него. 5Когда оруженосец увидел, что Шаул мёртв, он тоже бросился на свой меч и умер. 6Так погибли Шаул и его три сына, и вместе с ними погиб весь его дом.

7Увидев, что войско разбежалось, а Шаул и его сыновья погибли, все исраильтяне, которые были в долине, оставили свои города и тоже бежали. А филистимляне пришли и заняли их.

8На следующий день, когда филистимляне пришли грабить мёртвых, они нашли Шаула и его сыновей, павших на горе Гильбоа. 9Они обобрали Шаула, отрубили ему голову, сняли с него оружие и послали вестников по всей филистимской земле, чтобы возвестить об этом в капище своих идолов и народу. 10Они положили его оружие в храме своих богов, а голову его повесили в храме Дагона10:10 Дагон – главный бог филистимлян, возможно, бог грозы или растительности..

11Когда весь Иавеш Галаадский услышал обо всём, что филистимляне сделали с Шаулом, 12то все их храбрые воины отправились в путь, взяли тела Шаула и его сыновей и перенесли их в Иавеш. Они погребли их кости под иавешским дубом и постились семь дней.

13Шаул погиб, потому что нарушил верность Вечному. Он не слушался слова Вечного, он обратился с вопросом к колдунье, 14а не к Вечному. И Вечный предал его смерти и передал его царство Давуду, сыну Есея.

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 10:1-14

Sawulo Yetta

1Awo Abafirisuuti ne balumba Isirayiri, abasajja Abayisirayiri ne babadduka era bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa. 2Abafirisuuti ne bagobera ddala Sawulo ne batabani be, era batabani be Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisiwa ne battibwa. 3Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti n’abalasi nga bamutuseeko era baamulasa n’alumizibwa.

4Awo Sawulo n’agamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ng’abasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye n’atya nnyo, era n’agaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye n’akigwako. 5Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’asowolayo ekikye ne yetta. 6Sawulo n’afa bw’atyo ne batabani be bonsatule, era n’abo mu nnyumba ye bonna ne bafa.

7Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng’eggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. 8Enkeera, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abafudde, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiiridde ku Lusozi Girubowa. 9Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma n’ababaka okuddayo mu nsi y’Abafirisuuti okubategeeza amawulire ago. 1010:10 Bal 16:23Ne bateeka ebyokulwanyisa bya Sawulo mu ssabo lya bakatonda baabwe, ate n’omutwe gwe ne guwanikibwa mu ssabo lya Dagoni.

1110:11 Bal 21:8Awo ab’e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye baakola Sawulo, 12abasajja abazira mu bo ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n’eggya batabani be, ne bagireeta e Yabesi. Ne baziika amagumba gaabwe wansi w’omwera e Yabesi, era ne basiibira ennaku musanvu.

1310:13 a 2Sa 1:1 b 1Sa 15:23; 1By 5:25 c 1Sa 13:13 d Lv 19:31; 20:6; Ma 18:9-14; 1Sa 28:7Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuuzaako, 1410:14 a 1By 12:23 b 1Sa 13:14; 15:28mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.