1 Коринфянам 13 – CARS & LCB

Священное Писание

1 Коринфянам 13:1-13

Гимн любви

1Если я говорю языками человеческими и ангельскими, но во мне нет любви, то я в таком случае не что иное, как звенящая медь, как бряцающие тарелки. 2Если у меня есть дар пророчества и я знаю все тайны, если мне даны все знания и у меня есть вера, способная передвигать горы, а нет любви, то я ничто. 3Если я раздам всё своё имущество беднякам и отдам моё тело на сожжение, но во мне нет любви, то моё самопожертвование не принесёт мне никакой пользы.

4Любовь терпелива, добра, она не завидует и не хвалится, она не гордится, 5не может быть грубой, она не ищет выгоды себе, она не вспыльчива и не помнит зла. 6Любовь не радуется неправде, но радуется истине. 7Она всё покрывает, всему верит, всегда надеется и всё переносит.

8Любовь не перестанет существовать никогда, хотя и пророчества прекратятся, и языки умолкнут, и дар знания станет ненужным. 9Ведь наши знания неполны, и наши пророчества частичны, 10и когда наступит совершенство, тогда всё частичное исчезнет. 11Когда я был ребёнком, я и говорил как ребёнок, я и мыслил по-детски и рассуждал по-детски. Но когда я стал взрослым, то оставил всё детское позади. 12Мы сейчас видим неясно, как отражение в тусклом зеркале, тогда же увидим лицом к лицу. Сейчас я знаю лишь отчасти, тогда же буду знать так же совершенно, как меня знает Всевышний.

13А сейчас существуют13:13 Или: «Итак, будут вечно существовать». эти три: вера, надежда и любовь, но важнее из них – любовь.

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 13:1-13

Okwagala

113:1 nny 8Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala. 213:2 a 1Ko 14:2 b 1Ko 12:9 c Mat 17:20; 21:21Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. 313:3 a Mat 6:2 b Dan 3:28Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

413:4 1Bs 5:14Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. 513:5 1Ko 10:24Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. 613:6 a 2Bs 2:12 b 2Yk 4; 3Yk 3, 4Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. 7Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

813:8 a nny 2 b nny 1Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma. 913:9 nny 12; 1Ko 8:2Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu. 1013:10 Baf 3:12Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo eby’ekitundu nga biggwaawo. 11Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito. 1213:12 a Lub 32:30; 2Ko 5:7; 1Yk 3:2 b 1Ko 8:3Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.

1313:13 a Bag 5:5, 6 b 1Ko 16:14Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.