Исаия 9 – CARS & LCB

Священное Писание

Исаия 9:1-21

Пророчество о Младенце

1Прошлое принизило землю Завулона и землю Неффалима, но грядущее прославит Галилею языческую и её приморский путь, ведущий за Иордан.

2Народ, идущий во тьме,

увидел великий свет;

на живущих в стране смертной тени

свет воссиял.

3Ты умножил народ,

увеличил их радость;

они радуются пред Тобой,

как радуются во время жатвы,

как ликуют, деля добычу.

4Ведь, как в день поражения Мадиана9:4 См. Суд. 7:23-25.,

Ты сломал тяготившее их ярмо,

сломал брус у них на плечах

и палку притеснителя.

5Всякая обувь воинов, бывшая в битве,

и всякая одежда, обагрённая кровью,

будут отданы на сожжение,

станут пищей для огня.

6Ведь Младенец родился нам,

Сын дан нам!

На плечи Его будет возложена власть,

и назовут Его:

Чудесный Советник9:6 Или: «Чудесный, Советник»., Могучий Бог,

Вечный Отец, Правитель, дарующий мир.

7Умножению власти Его и мира нет конца;

правит Он на престоле Давуда царством его,

утверждая и поддерживая его

правосудием и праведностью

отныне и вовеки9:1-7 Эти слова являются пророчеством об Исе Масихе (см. Мат. 4:12-16; 28:18; Лк. 1:30-35, 79)..

Это сделает ревность Вечного, Повелителя Сил.

Гнев Вечного на Исраил

8У Владыки есть слово против потомков Якуба,

оно касается Исраила.

9Узнает его весь народ –

Ефраим9:9 То есть Исраил. и жители Самарии,

те, что гордо

и с надменным сердцем говорят:

10– Хотя Вечный обрушил кирпичные здания,

мы отстроим их из тёсаного камня,

и хотя Он срубил тутовые деревья,

мы заменим их кедрами.

11Но Вечный воздвигнет против них врагов Рецина,

поднимет на них неприятелей.

12Сирийцы с востока и филистимляне с запада

будут жадно пожирать Исраил.

Но и тогда гнев Его не отвратится,

и рука Его ещё будет занесена.

13Но народ не возвращается к Тому, Кто разит их,

и не ищет Вечного, Повелителя Сил.

14Тогда Вечный отсечёт у Исраила и голову, и хвост,

ветви высоких пальм и низкий тростник в один день;

15старейшины и знатный люд – это голова,

пророки, что учат лжи, – это хвост.

16Вожди этого народа сбили его с пути,

ведомые ими бредут по ложной дороге.

17Поэтому Владыка не порадуется юношам,

не пожалеет сирот и вдов,

ведь каждый – безбожник и злодей,

всякий язык говорит низости.

Но и тогда гнев Его не отвратится,

и рука Его ещё будет занесена.

18Нечестие пылает, как огонь,

пожирает терновник и колючки,

поджигает лесные чащи,

так что они вздымаются ввысь столбами дыма.

19Гневом Вечного, Повелителя Сил,

опалится земля;

люди станут пищей для огня,

и никто не пощадит своего брата.

20Станут пожирать справа,

но останутся голодными;

будут есть слева,

но не наедятся;

всякий будет пожирать плоть своего потомства9:20 Или: «своей руки».:

21Манасса будет пожирать Ефраима,

Ефраим – Манассу;

и вместе они обратятся против Иудеи.

Но и тогда гнев Его не отвратится,

и рука Его ещё будет занесена.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 9:1-21

Omulokozi Atuzaaliddwa

19:1 2Bk 15:29Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.

29:2 a Bef 5:8 b Luk 1:79 c Mat 4:15-16*Abantu abaatambuliranga mu kizikiza

balabye ekitangaala eky’amaanyi,

abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,

omusana gubaakidde.

3Oyazizza eggwanga,

obongedde essanyu,

basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula,

ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.9:3 Kino kyogera ku Gidyoni bwe yawanguka Abamidiyaani

49:4 a Bal 7:25 b Is 14:25 c Is 10:27 d Is 14:4; 49:26; 51:13; 54:14Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa,

omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga,

n’ekiti eky’oku kibegabega kye,

n’oluga lw’oyo amunyigiriza.

59:5 Is 2:4Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo

na buli kyambalo ekibunye omusaayi,

biriba bya kwokebwa,

bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.

69:6 a Is 53:2; Luk 2:11 b Yk 3:16 c Mat 28:18 d Is 28:29 e Is 10:21; 11:2 f Is 26:3, 12; 66:12Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,

omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,

n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.

N’erinnya lye aliyitibwa nti,

Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,

Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

79:7 a Dan 2:44; Luk 1:33 b Is 11:4; 16:5; 32:1, 16 c Is 37:32; 59:17Okufuga kwe n’emirembe

biryeyongeranga obutakoma.

Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,

n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu

okuva leero okutuusa emirembe gyonna.

Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye

bulikituukiriza ekyo.

Obusungu bwa Mukama Ku Isirayiri

8Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,9:8 Yakobo, ne Isirayiri, ne Efulayimu ne Samaliya, byonna byogera ku Bwakabaka bw’omu Bukiikakkono, era ekibuga kyayo ekikulu ye Samaliya.

ku birituuka ku Isirayiri.

99:9 a Is 7:9 b Is 46:12Era abantu bonna balibumanya,

Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya

aboogera n’amalala

n’omutima omukakanyavu,

10nti, “Amatoffaali gagudde wansi

naye tulizimbya amayinja amateme,

emisukamooli gitemeddwawo

naye tulizzaawo emivule.”

119:11 Is 7:8Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;

alibakumaakuma bamulumbe.

129:12 a 2Bk 16:6 b 2By 28:18 c Zab 79:7 d Is 5:25Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,

balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.

Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo

era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

139:13 a Yer 5:3 b Is 31:1; Kos 7:7, 10Kubanga abantu tebakyuse kudda

wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.

149:14 a Is 19:15 b Kub 18:8Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira,

ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.

159:15 Is 3:2-3Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,

n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.

169:16 a Mat 15:14; 23:16, 24 b Is 3:12Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,

n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.

179:17 a Yer 18:21 b Is 27:11 c Is 10:6 d Is 1:4 e Mat 12:34 f Is 5:25Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,

wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;

kubanga buli omu mukozi wa bibi,

era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.

Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,

era omukono gwe gukyagoloddwa.

189:18 a Mal 4:1 b Zab 83:14Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;

gumalawo emyeramannyo n’obusaana.

Era gukoleeza eby’omu kibira,

omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.

199:19 a Is 13:9, 13 b Is 1:31 c Mi 7:2, 6Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye

ensi eggiiridde ddala,

era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,

tewali muntu alekawo muganda we.

209:20 a Lv 26:26 b Is 49:26Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,

naye balisigala bayala;

balirya n’eby’oku kkono,

naye tebalikkuta.

Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.

219:21 a 2By 28:6 b Is 5:25Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase

ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,

era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.