Иешуа 20 – CARS & LCB

Священное Писание

Иешуа 20:1-9

Города-убежища

(Чис. 35:6-34; Втор. 4:41-43; 19:1-14)

1Вечный сказал Иешуа:

2– Повели исраильтянам выбрать города-убежища, как Я говорил вам через Мусу, 3чтобы всякий, кто убьёт другого человека случайно и неумышленно, мог убежать туда и найти защиту от мстителя за кровь. 4Когда он убежит в один из этих городов, то пусть встанет у городских ворот20:4 Ворота города были центром всей общественной жизни, около них проходили и судебные разбирательства. и изложит своё дело перед старейшинами того города. После этого пусть они примут его в свой город и дадут ему место, чтобы он мог жить там. 5Если мститель за кровь станет преследовать его, они не должны выдавать обвиняемого, потому что он убил неумышленно и не питал к убитому ненависти. 6Пусть он остаётся в том городе, пока не предстанет перед обществом на суд или пока не умрёт главный священнослужитель, который будет в то время. Потом он может вернуться в свой дом, в город, из которого убежал.

7И они отделили Кедеш в Галилее в нагорьях Неффалима, Шехем в нагорьях Ефраима и город Кириат-Арбу (то есть Хеврон) в нагорьях Иуды. 8На восточной стороне Иордана, что близ Иерихона, они выбрали Бецер в пустыне на плоскогорье в роду Рувима, Рамот в Галааде в роду Гада и Голан в Башане в роду Манассы. 9Всякий исраильтянин или живущий среди них чужеземец, который убивал кого-либо неумышленно, мог убежать в эти выбранные города и не погибнуть от руки мстителя за кровь, пока не предстанет перед обществом на суд.

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 20:1-9

Ebibuga ekyokwekwekamu

1Mukama Katonda n’alyoka agamba Yoswa nti, 2“Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa, 320:3 a Lv 4:2 b Kbl 35:12era nti omuntu yenna atta omulala nga tagenderedde era nga takitegese addukirenga omwo, eyo gy’anaawoneranga omuwoolezi w’eggwanga ayagala okwesasuza.

420:4 a Lus 4:1; Yer 38:7 b Yos 7:6“Annadukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga annyonnyole ensonga ye eri abakadde b’ekibuga ekyo. Awo ne balyoka bamukkiriza okuyingira mu kibuga ne bamuwa ekifo eky’okubeeramu. 5N’oyo ayagala okwesasuza singa anaamugobereranga, tebateekwa kuwaayo oyo asse tagenderedde kubanga muliraanwa we yamutta tagenderedde, lwa kuba nti yamulinako ekiruyi n’obukyayi.

620:6 Kbl 35:12“Mu kibuga omwo mwanaabeeranga, abantu baamu banaawuliranga ensonga ye, era anaabeeranga omwo okutuusa kabona omukulu aliko mu kiseera ekyo, lw’alifa. Olwo nno aliddayo ewaabwe mu kibuga gye yadduka.”

720:7 a Yos 21:32; 1By 6:76 b Lub 12:6 c Yos 10:36; 21:11 d Luk 1:39Awo ne baawulako ebibuga bino: Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey’ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba, ye Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda. 820:8 a Yos 21:36; 1By 6:78 b Yos 12:2N’emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw’ebuvanjuba ne bateekayo Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase. 920:9 Kuv 21:13; Kbl 35:15Ebyo bye bibuga ebyateekebwawo abaana ba Isirayiri bonna era ne bannaggwanga abaali mu bo nti omuntu yenna eyattanga omuntu nga tagenderedde addukire eyo aleme kuttibwa omuwoolezi w’eggwanga okutuusa lw’aliyimirira mu maaso g’ekibiina.