Забур 45 – CARS & LCB

Священное Писание

Забур 45:1-12

Песнь 45

1Дирижёру хора. Под аламот45:1 Аламот – неизвестный музыкальный термин, обозначающий, вероятнее всего, определённый стиль или верхний звуковой регистр.. Песнь потомков Кораха.

2Всевышний – прибежище нам и сила,

верный помощник в бедах.

3Потому и не устрашимся мы,

пусть даже дрогнет сама земля,

и горы обрушатся в бездну моря,

4пусть воды морские ревут и пенятся,

и горы дрожат от их волнения. Пауза

5Речные потоки радуют город Всевышнего45:5 То есть Иерусалим.,

святое жилище Высочайшего.

6Всевышний в этом городе, и он не падёт;

Всевышний поддерживает его с раннего утра.

7Народы мятутся, и царства рушатся;

подаёт Он Свой голос – и тает земля.

8С нами Вечный, Повелитель Сил;

Бог Якуба – наша крепость. Пауза

9Придите, посмотрите на дела Вечного,

какие опустошения Он произвёл на земле.

10До краёв земли прекращает Он войны,

ломает луки и копья

и сжигает дотла щиты45:10 Или: «колесницы»..

11Он говорит: «Остановитесь, познайте, что Я – Бог;

Я прославлюсь в народах,

прославлюсь на земле».

12С нами Вечный, Повелитель Сил;

Бог Якуба – наша крепость. Пауза

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 45:1-17

Zabbuli 45

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi

nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.

Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.

245:2 Luk 4:22Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;

n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.

Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.

345:3 a Beb 4:12; Kub 1:16 b Is 9:6Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,

yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!

445:4 Kub 6:2Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,

ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.

Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.

5Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;

afuge amawanga.

645:6 Zab 93:2; 98:9Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;

n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.

745:7 a Zab 33:5 b Is 61:1 c Zab 21:6; Beb 1:8-9*Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;

noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza

n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.

845:8 Lu 1:3Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.

Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza

mu mbiri zo ez’amasanga.

945:9 a Lu 6:8 b 1Bk 2:19Mu bakyala bo mulimu abambejja;

namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.

1045:10 Ma 21:13Muwala, wuliriza bye nkugamba:

“Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.

1145:11 a Zab 95:6 b Is 54:5Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;

nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”

1245:12 Zab 22:29; Is 49:23Muwala w’e Ttuulo45:12 Kabaka w’e Tuulo ye kabaka eyasooka okukkiriza enju ya Dawudi okulya entebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Sulemaani yasigaza omukwano ogwo ne kabaka w’e Tuulo, era Tuulo kyali kibuga ky’aby’amaguzi kikulu ku Nnyanja Ennene eya Meditereniyaani. alijja n’ekirabo,

abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.

1345:13 Is 61:10Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,

ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.

1445:14 Lu 1:4Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.

Emperekeze ze zimuwerekerako;

bonna ne bajja gy’oli.

15Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,

ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,

olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.

1745:17 a Mal 1:11 b Zab 138:4Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.

Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.