Забур 116 CARS - Zabbuli 116 LCB

Священное Писание

Забур 116:1-2

Песнь 116

1Славьте Вечного, все народы,

хвалите Его, все племена!

2Потому что велика милость Вечного к нам

и верность Его пребудет вовеки.

Славьте Вечного!

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 116:1-19

Zabbuli 116

1116:1 a Zab 18:1 b Zab 66:19Mukama mmwagala,

kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.

2116:2 Zab 40:1Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,

kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

3116:3 Zab 18:4-5Emiguwa gy’okufa gyansiba,

n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;

ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.

4116:4 a Zab 118:5 b Zab 22:20Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,

“Ayi Mukama, ndokola.”

5116:5 Ezr 9:15; Nek 9:8; Zab 103:8; 145:17Mukama wa kisa, era mutuukirivu;

Katonda waffe ajjudde okusaasira.

6116:6 Zab 19:7; 79:8Mukama alabirira abantu abaabulijjo;

bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

7116:7 a Yer 6:16; Mat 11:29 b Zab 13:6Wummula ggwe emmeeme yange,

kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.

8116:8 Zab 56:13Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,

n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;

n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,

9116:9 Zab 27:13ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama

mu nsi ey’abalamu.

10116:10 2Ko 4:13*Nakkiriza kyennava njogera nti,

“Numizibbwa nnyo.”

11116:11 Bar 3:4Ne njogera nga nterebuse nti,

“Abantu bonna baliraba.”

12Mukama ndimusasula ntya

olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?

13116:13 Zab 16:5; 80:18Nditoola ekikompe eky’obulokozi,

ne nkoowoola erinnya lya Mukama.

14116:14 Zab 22:25; Yon 2:9Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,

mu maaso g’abantu be bonna.

15116:15 Zab 72:14Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.

16116:16 a Zab 119:125; 143:12 b Zab 86:16Ayi Mukama,

onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,

nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17116:17 Lv 7:12; Zab 50:14Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,

ne nkoowoola erinnya lya Mukama.

18Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,

mu maaso g’abantu be bonna,

19116:19 Zab 96:8; 135:2mu mpya z’ennyumba ya Mukama;

wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.