Josvabogen 16 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

Josvabogen 16:1-10

Josefs efterkommere

1-2Ved lodtrækning fik Josefs efterkommere jord i et område, hvis sydgrænse startede ved Jordanfloden ud for Jeriko og gik videre op i højlandet til Betel (også kaldet Luz) og dernæst videre gennem arkitternes land til Atarot. 3Derpå bøjede den mod sydvest til jafletitternes område og kom til Nedre Bet-Horon og videre til Gezer og derfra ud til Middelhavet. 4De to stammer fra Josefs sønner, Efraim og Manasse, fik hver deres arvelod.

Efraims arvelod

5Efraims klaners område gik fra Atarot-Addar mod øst til Øvre Bet-Horon mod vest, 6og derfra gik grænsen ud til Middelhavet. Nordgrænsen gik gennem Mikmetat og videre østpå i en bue op til Ta’anat-Shilo og videre øst om Janoha. 7Fra Janoha fortsatte den ned til Atarot og Na’ara øst om Jeriko for at ende ved Jordanfloden. 8Fra Tappuach løb nordgrænsen vestpå langs med Kana-kløften til Middelhavet. 9Efraim fik tillige nogle byer inden for Manasses territorium.

10De kana’anæere, som boede i Gezer, blev imidlertid aldrig drevet ud, og derfor lever de den dag i dag som slaver blandt Efraims folk.

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 16:1-10

Omugabo gwa Yusufu, Efulayimu ne Manase

116:1 Yos 8:15; 18:12N’omugabo gw’ettaka ly’abaana ba Yusufu ne guva ku Yoludaani awali Yeriko ku ludda olw’ebuvanjuba olw’amazzi g’e Yeriko, okutuuka mu ddungu, n’erinnya okuva e Yeriko n’eyita mu nsi ey’ensozi n’etuuka e Beseri 216:2 Yos 18:13N’eyita e Beseri okutuuka e Eruzi n’okuyita ku nsalo ey’Abaluki mu Atalosi 316:3 a 2By 8:5 b Yos 10:33; 1Bk 9:15n’okukka ku luuyi olw’ebugwanjuba ku nsalo ey’Abayafuleti ku nsalo ey’e Besukolooni eky’emmanga ku Gezeri n’ekoma ku nnyanja.

416:4 Yos 17:14Bwe batyo abaana ba Yusufu: Manase ne Efulayimu ne batwala omugabo gwabwe.

Omugabo gw’abaana ba Efulayimu

516:5 Yos 18:13Ettaka ly’abaana ba Efulayimu ng’enju zaabwe bwe zaali eno gye lyayitanga;

ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Atalosuaddali n’okutuuka ku Besukolooni ey’Ekyengulu, 616:6 Yos 17:7ne yeeyongera ku nnyanja ne ku Mikumesasi mu bukiikakkono ne yeetooloola ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Taanasi Siiro, n’olwebuvanjuba olw’e Yanoa, 716:7 1By 7:28n’ekka ku Atalosi ne ku Naala n’ekwata ku Yeriko n’etuuka ku Yoludaani. 816:8 Yos 17:9N’eva ku Tappua n’eyita ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku mugga Kana n’ekoma ku nnyanja. Bino bye bitundu ekika ky’abaana ba Efulayimu bye baagabana ng’enju zaabwe bwe zaali.

9Ku bino kwaliko ebibuga n’ebyalo byakwo byonna ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu abaali mu kitundu kya Manase ebibuga byonna n’ebyalo byabwe.

1016:10 Yos 17:13; Bal 1:28-29; 1Bk 9:16Wabula tebaagoba Bakanani abaali mu Gezeri, baasigala wakati mu Efulayimu n’okutuusa leero nga balimu ng’abaddu nga bakola.