Johannesʼ Åbenbaring 7 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

Johannesʼ Åbenbaring 7:1-17

Guds tjenere på jorden blandt jøderne

1Derefter så jeg fire engle stå ved de fire verdenshjørner. De holdt jordens fire vinde tilbage, så de ikke kunne blæse over land og hav eller mod noget træ. 2En femte engel trådte frem i den østlige horisont, og han havde den levende Guds segl med sig. Han råbte med høj røst til de fire engle, som havde fået magt til at skade både jord og hav: 3„Rør ikke jorden eller havet eller noget træ, før vi har mærket vores Guds tjeneres pander med hans segl.” 4Jeg hørte tallet på de beseglede. Det var 144.000 af alle Israels stammer, 5-812.000 fra hver af de 12 stammer: Juda, Ruben, Gad, Asher, Naftali, Manasse, Simeon, Levi, Issakar, Zebulon, Josef og Benjamin.

Den store flok i Himlen af frelste fra alle folkeslag

9Derefter lagde jeg mærke til en stor flok mennesker, som stod foran Lammet og Guds trone i Himlen, klædt i lange, hvide dragter og med palmegrene i hænderne. Der var mennesker fra alle folkeslag og sprog, og der var så mange, at ingen kunne tælle dem. 10De råbte: „Frelsen kom fra vores Gud, som sidder på tronen, og fra Lammet!”

11Alle englene stod i en kreds omkring Guds trone og de 24 medregenter og de fire levende væsener. De faldt på knæ foran tronen, og med ansigtet mod jorden hyldede de Gud: 12„Ja, det er rigtigt! Gud skal have ære, tak og lovprisning i al evighed. Han har al herlighed, visdom, kraft og magt. Amen!”

13En af medregenterne vendte sig til mig og sagde: „Ved du, hvem de mennesker i hvide dragter er? Ved du, hvor de er kommet fra?”

14„Nej, herre,” svarede jeg, „men du ved det.”

„De er kommet ud af den store trængsel,” sagde han. „De har gjort deres dragter rene i Lammets blod, så de er helt hvide. 15Derfor står de nu foran Guds trone og tjener ham dag og nat i hans helligdom. Han, som sidder på tronen, vil tage sig af dem, 16og de skal aldrig mere sulte eller tørste eller døje under sol og hede. 17Lammet, der står ved tronen, vil være deres hyrde og lede dem til kilden med det livgivende vand, og Gud vil tørre hver tåre af deres kinder.”

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 7:1-17

144,000 bateekebwako Obubonero obw’Envumbo

17:1 Dan 7:2Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. 2Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, 37:3 a Kub 6:6 b Ez 9:4; Kub 22:4“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.” 47:4 a Kub 9:16 b Kub 14:1, 3Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.

5Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

6ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

7ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

8ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.

Ekibiina ky’Abantu Obutabalika nga bambadde Ebyambalo Ebyeru

97:9 a Kub 5:9 b nny 15Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe. 107:10 Zab 3:8; Kub 12:10; 19:1Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti,

“Obulokozi bwa Katonda waffe

atudde ku ntebe ey’obwakabaka

era bwa Mwana gw’Endiga.”

117:11 a Kub 4:4 b Kub 4:6 c Kub 4:10Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. 127:12 Kub 5:12-14Ne bayimba nti,

“Amiina!

Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi,

n’okwebazibwa, n’ettendo,

n’obuyinza, n’amaanyi,

bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe.

Amiina!”

13Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”

147:14 a Kub 22:14 b Beb 9:14; 1Yk 1:7Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”

N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. 157:15 a nny 9 b Kub 22:3 c Kub 11:19 d Is 4:5, 6; Kub 21:3Kyebavudde

“babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda

nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye.

Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka,

anaaberanga nabo ng’abalabirira.

167:16 Is 49:10Tebaliddayo kulumwa njala

wadde ennyonta,

newaakubadde omusana okubookya

wadde ekyokya ekirala kyonna;

177:17 a Zab 23:1; Yk 10:11 b Is 25:8; Kub 21:4kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,

y’anaabeeranga omusumba waabwe

era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.

Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”