5. Mosebog 15 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

5. Mosebog 15:1-23

Regler for sabbatåret

1Hvert syvende år skal I eftergive al gæld. 2-3Enhver kreditor skal annullere gældsbeviset og eftergive den landsmand, som måtte skylde ham noget, men ikke den fremmede iblandt jer, for i det år løser Herren alle israelitter fra deres gældsforpligtelser. 4-5Det bliver I ikke fattigere af, for Herren vil velsigne jer rigeligt i det land, han giver jer, hvis ellers I adlyder hans befalinger. Forudsætningen for hans velsignelse er, at I omhyggeligt adlyder de love, jeg pålægger jer i dag. 6Så vil Herren velsigne jer, sådan som han har lovet, så I kan låne ud til andre og ikke selv have behov for at låne, og på den måde vil I blive herre over andre og ikke selv blive underlagt nogen.

7Når I er kommet ind i landet, og nogen iblandt jer er fattig, må I ikke lukke hjertet og nægte at hjælpe de fattige. 8Nej, I skal låne dem, hvad de har brug for. 9Pas på, at I ikke afslår at låne nogen noget, blot fordi eftergivelsesåret nærmer sig. Gør I det, vil Herren høre de fattiges råb og betragte jeres afslag som en synd. 10Nej, I skal låne de fattige, hvad de har brug for uden at beklage jer. Så vil Herren jeres Gud velsigne jeres arbejde og jeres ejendom. 11Der vil altid være nogle, som er fattige iblandt jer. Derfor er denne befaling nødvendig. Del gavmildt ud til jeres landsmænd i nød.

12Hvis nogle af jeres landsmænd arbejder som slaver for jer, skal I frigive dem efter det sjette år, 13men send dem ikke tomhændet bort. 14Giv dem rundhåndet nogle af jeres dyr og noget af jeres korn og vin i afskedsgave, så de får del i noget af den velsignelse, Herren har givet jer. 15Husk, at I selv var slaver i Egypten, indtil Herren befriede jer. Det er baggrunden for denne befaling.

16Hvis slaverne ikke ønsker frigivelse, fordi de er godt tilfredse med at arbejde som slaver, og fordi de er kommet til at holde af dig og din familie, 17skal du tage en syl og stikke den gennem slavens øreflip og ind i døren som tegn på, at vedkommende skal være din slave på livstid. Dette gælder både for mandlige og kvindelige slaver.

18Når du frigiver en slave, skal du ikke beklage dig over at miste en god arbejdskraft. Tænk på, at du trods alt i seks år har haft en medhjælp, der kostede dig under halvdelen af, hvad en almindelig daglejer koster. Da vil Herren, din Gud, velsigne dig i dit arbejde.

Regler om det førstefødte

19Af de kalve og lam, der fødes blandt jeres husdyr, skal I udtage de førstefødte handyr som en gave til Herren. I må ikke lade en førstefødt tyrekalv udføre arbejde, og I må ikke klippe et førstefødt får. 20I og jeres familie skal spise dem for Herrens ansigt, når I hvert år drager til helligdommen. 21Men hvis dyret har fysiske skavanker, hvis det er lamt, blindt, eller der er andet i vejen med det, må I ikke ofre det i helligdommen, 22men spise det hjemme på almindelig vis, hvad enten I er rene eller urene. 23Dog skal I hælde blodet ud på jorden, for det må I ikke spise.

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 15:1-23

Omwaka ogw’Okusonyiyirwangamu Amabanja

115:1 Ma 31:10Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’omusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga. 2Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama by’anaabanga ataddewo eby’okusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa. 315:3 Ma 23:20Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule15:3 Obutafaanana ng’Abayisirayiri, bannaggwanga baalimanga ettaka lyabwe omwaka ogwo; noolwekyo baasobolanga okusasula amabanja gaabwe., naye ebbanja muganda wo ly’akulinako onoolimusonyiwanga. 415:4 Ma 28:8Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi, 515:5 Ma 28:1kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero. 615:6 Ma 28:12-13, 44Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.

715:7 1Yk 3:17Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. 815:8 Mat 5:42; Luk 6:34Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe. 915:9 a nny 1 b Mat 20:15 c Ma 24:15Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. 1015:10 a 2Ko 9:5 b Ma 14:29; 24:19Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo. 1115:11 Mat 26:11; Mak 14:7; Yk 12:8Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.

Okuwa Eddembe Abaddu Abagule

1215:12 Kuv 21:2; Lv 25:39; Yer 34:14Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye. 13Era bw’onoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa. 14Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa. 1515:15 a Ma 5:15 b Ma 16:12Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero.

16Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi; 17kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga15:17 Okuwumula okutu kaali nga kabonero ka buddu. mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo.

18Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.

Ebibereberye eby’Ebisolo Ebirundibwa

1915:19 Kuv 13:2Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya. 2015:20 Ma 12:5-7, 17, 18; 14:23Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. 2115:21 Lv 22:19-25Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda wo. 2215:22 Ma 12:15, 22Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza. 2315:23 Ma 12:16Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ng’ayiwa amazzi.