3. Mosebog 15 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

3. Mosebog 15:1-33

Regler vedrørende kønslig urenhed

1Herren befalede Moses og Aron at give Israels folk følgende instrukser:

2„Hvis en mand har udflåd fra sit kønsorgan, gør det ham uren. 3Det gælder, hvad enten udflåddet varer ved eller er kortvarigt. 4Alt, hvad han har ligget eller siddet på, skal regnes for urent, 5-6og enhver, som kommer i berøring med noget, han har ligget eller siddet på, er uren indtil aften og må sørge for at bade sig og vaske sit tøj. 7-8De samme regler gælder, hvis nogen kommer i fysisk berøring med manden, eller hvis manden kommer til at spytte på nogen. 9Hvis manden har siddet i en sadel, er sadlen uren, 10ja, hvad som helst, han har haft under sig, skal regnes for urent, og de, som rører derved, skal vaske deres tøj og bade, og de er så urene indtil aften. 11Hvis den urene mand rører ved en anden person uden først at have vasket hænder, er den anden person uren indtil aften og må vaske sit tøj og bade. 12Hvis den urene mand rører ved en lerkrukke, skal den knuses, og et redskab af træ, som han har været i berøring med, skal renses med vand.

13Når udflåddet er ophørt, skal han tælle syv dage frem og derefter vaske sit tøj og vaske sig grundigt i rent kildevand. 14På den ottende dag skal han tage to turtelduer eller to unge duer og komme frem for Herren ved åbenbaringsteltets indgang. Så skal han overrække offergaverne til præsten, 15og præsten skal ofre den ene due som syndoffer, og den anden som brændoffer og således skaffe soning for manden hos Herren.

16Når en mand har haft sædafgang, skal han vaske hele sin krop og regnes for uren indtil aften, 17og det tøj eller lagen, som sæden eventuelt har dryppet på, skal straks vaskes og regnes for urent indtil aften. 18Hvis en mand ligger sammen med sin kone, når det sker, skal hun også vaske sig og regnes for uren indtil aften.

19Når en kvinde menstruerer, skal hun regnes for uren i syv dage, og enhver, der rører hende i den periode, skal regnes for uren indtil aften. 20Også alt, hvad hun ligger på eller sidder på i den periode, skal regnes for urent. 21-23Og rører nogen ved sengen eller noget, hun har siddet på, skal den person vaske sit tøj og bade og regnes for uren indtil aften. 24Hvis en mand ligger sammen med sin kone og kommer i kontakt med hendes menstruationsblod, skal han også regnes for uren i syv dage, og en hvilken som helst seng, han ligger på i de syv dage, skal regnes for uren.

25Hvis menstruationen fortsætter ud over den normale tid, eller hvis kvinden bløder uden for den månedlige periode, gælder samme regler som nævnt ovenfor: 26Det, hun ligger på eller sidder på, skal regnes for urent. 27Det gælder på samme måde, at enhver, som kommer i berøring med noget, hun har siddet på, er uren. Vedkommende skal bade, vaske sit tøj og regnes for uren indtil aften. 28Men syv dage efter at hendes blødning er standset, skal hun ikke længere regnes for uren.

29På den ottende dag skal hun tage to turtelduer eller to unge duer og bringe dem til præsten ved indgangen til åbenbaringsteltet, 30og præsten skal ofre den ene due som syndoffer og den anden som brændoffer. På den måde skal han skaffe soning for hende hos Herren efter hendes blødning. 31Det er retningslinierne for, hvordan I skal rense Israels folk for urenhed, så de undgår at besmitte min bolig iblandt dem.”

32Sådan skal I udføre renselsesceremonien for en mand med udflåd eller sædafgang, 33for en kvinde, der menstruerer, eller en mand, der har ligget hos hende i den periode, hvor hun regnes for uren.

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 15:1-33

Amateeka ku Butali Bulongoofu mu Basajja

1Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, 215:2 nny 16, 32; Lv 22:4; Kbl 5:2; 2Sa 3:29; Mat 9:20“Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu. 3Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo.

4“Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu ky’anaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu ky’anaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu. 515:5 a Lv 11:25 b Lv 14:8 c Lv 11:24Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 6Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’anaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 715:7 a nny 19; Lv 22:5 b Lv 22:16; 22:4Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 815:8 Kbl 12:14Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 9Era n’amatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’aneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu, 1015:10 Kbl 19:10era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 11Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gw’anaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 1215:12 a Lv 6:28 b Lv 11:32Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi.

1315:13 a Lv 8:33 b nny 5“Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu. 1415:14 Lv 14:22Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 1515:15 a Lv 5:7 b Lv 14:31 c Lv 14:18, 19Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olw’ebimuvaamu eri Mukama.

1615:16 a nny 2; Lv 22:4; Ma 23:10 b Lv 22:5; Ma 23:11“Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’obusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 17Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi g’obusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi. 1815:18 1Sa 21:4Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi, ne wabaawo amazzi g’obusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.

Amateeka ku Butali Bulongoofu mu Bakazi

1915:19 nny 24; Lv 12:2“Omukazi bw’anaavangamu omusaayi ng’empisa ye eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu, ne buli anaamukwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 20Mu bbanga eryo ng’omukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna ky’anaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. 2115:21 nny 27Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22Buli anaakwatanga ku kintu kyonna omukazi oyo ky’atuulako, anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 23Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo ky’anaabanga atuddeko, omuntu bw’anaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 2415:24 nny 19; Lv 12:2; 18:19; 20:18; Ez 18:6Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi oyo, omusaayi gw’omukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; n’ekitanda kw’anaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu.

2515:25 Mat 9:20; Mak 5:25; Luk 8:43“Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi. 26Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi. 27Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu. 2915:29 Lv 14:22Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 3015:30 Lv 5:10; 14:20, 31; 18:19; 2Sa 11:4; Mak 5:25; Luk 8:43Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu.

3115:31 Lv 20:3; Kbl 5:3; 19:13, 20; 2Sa 15:25; 2Bk 21:7; Zab 33:14; 74:7; 76:2; Ez 5:11; 23:38“Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olw’obutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri wakati mu bo.

3215:32 nny 2“Ago ge mateeka ku musajja alina ebimuvaamu mu bitundu bye eby’ekyama, n’oyo avaamu amazzi g’obusajja; 3315:33 nny 19, 24, 25ne ku mukazi anaavangamu omusaayi ng’empisa y’abakazi eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba. Amateeka ago ganaakwatanga ku musajja oba ku mukazi alina ebimuvaamu, ne ku musajja aneebakanga n’omukazi atali mulongoofu.”