1. Krønikebog 6 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

1. Krønikebog 6:1-66

Øvrige berømte efterkommere af Levi

1Som allerede nævnt havde Levi sønnerne Gershon, Kehat og Merari. 2Gershon havde to sønner: Libni og Shimi. 3Kehat havde som nævnt fire sønner: Amram, Jitzhar, Hebron og Uzziel. 4Merari havde to sønner: Mahli og Mushi.

5Blandt Gershons efterkommere var der følgende slægtsoverhoveder: Libni, Jahat, Zimma, 6Joa, Iddo, Zerach og Jeateraj.

7Blandt Kehats efterkommere var der følgende slægtsoverhoveder: Amminadab,6,7 Sandsynligvis skulle der have stået Jitzhar, jf. 2.Mos. 6,21-24 og 4.Mos. 16,1. Kora, Assir, 8Elkana, Ebjasaf, Assir, 9Tahat, Uriel, Uzzija og Shaul.

10Blandt Elkanas efterkommere var der følgende: Amasaj, Ahimot, 11Elkana, Zofaj, Nahat, 12Eliab, Jeroham, Elkana og Samuel.

13Samuel fik to sønner: den første hed Joel og den anden Abija.

14Blandt Meraris efterkommere var der følgende slægtsoverhoveder: Mahli, Libni, Shimi, Uzza, 15Shima, Haggija og Asaja.

Tempelmusikerne af Levis stamme

16-17Kong David udvalgte en gruppe levitter til at stå for lovsangen og musikken i det telt, han havde rejst på Zions bjerg, og hvor han havde anbragt pagtens ark. De udførte deres tjeneste efter de retningslinier, David havde givet dem, indtil Salomon byggede templet.

18-23Tre ledere blev udvalgt til at stå for sangen og musikken sammen med deres sønner. Den øverste leder var Heman af Kehats slægt. Han kunne føre sin slægt tilbage til patriarken Jakob fra sin far, Joel, over Samuel, Elkana, Jeroham, Eliel, Toa, Zuf, Elkana, Mahat, Amasaj, Elkana, Joel, Azarja, Zefanja, Tahat, Assir, Ebjasaf, Kora, Jitzhar, Kehat, Levi til Jakob.

24-28Den næstøverste leder var Asaf af Gershons slægt. Han kunne føre sin slægt tilbage til Levi fra sin far, Berekja, over Shima, Mikael, Ba’aseja, Malkija, Etni, Zerach, Adaja, Etan, Zimma, Shimi, Jahat, Gershon til Levi.

29-32Den tredje leder blev Etan af Meraris slægt. Han kunne føre sin slægt tilbage til Levi fra sin far, Kishi, over Abdi, Malluk, Hashabja, Amatzja, Hilkija, Amzi, Bani, Shemer, Mahli, Mushi, Merari til Levi.

33De øvrige levitter fik hver deres opgave i tjenesten ved Guds telt.

Præsternes opgave

34Det var kun Arons efterkommere, der fik lov at gøre tjeneste som præster. Det var deres opgave at brænde røgelse og ofre brændofre på alteret, og kun ypperstepræsten måtte træde frem for Gud inde i det allerhelligste rum og skaffe soning for folkets synder. Præsterne var ansvarlige for, at de regler og forskrifter, som Gud havde givet sin tjener Moses, blev overholdt til punkt og prikke.

35-38Præsteslægten fra Aron og fremover var som før nævnt: Eleazar, Pinehas, Abishua, Bukki, Uzzi, Zerahja, Merajot, Amarja, Ahitub, Zadok og Ahima’atz.

De byer, der blev givet til Arons slægt og de øvrige levitter

39En række byer og områder blev ved hjælp af de hellige lodder tildelt Arons præsteslægt, som var en del af Kehat-slægten. 40-44Først fik de Hebron i Judas stammeområde med tilhørende græsmarker—de øvrige marker og omliggende landsbyer tilhørte Kaleb, Jefunnes søn. Hebron var en af tilflugtsbyerne. Dernæst fik de i Judas område tildelt Libna, Jattir, Eshtemoa, Hilen,6,40-44 Det samme som „Holon”, jf. Jos. 21,15. Debir, Ashan, Jutta6,40-44 Indføjet fra Jos. 21,16, som har en mere nøjagtig liste. og Bet-Shemesh—alle med tilhørende græsmarker. 45Fra Benjamins stammeområde fik Arons slægt tildelt byerne Gibeon,6,45 Ordet „Gibeon” er faldet ud af teksten her, men indføjet fra Jos. 21,17. Der var altså ni byer fra Judas område og fire fra Benjamins, i alt 13 byer. Geba, Alemet og Anatot med tilhørende græsmarker. Det var i alt 13 byer. 46Derefter fik Kehats øvrige efterkommere ved lodtrækning tildelt ti byer fra Efraims og Dans område samt fra Manasses halve stamme vest for Jordan.6,46 Ordene „fra Efraims og Dans område” er faldet ud af teksten her, men hentet fra parallelstedet i Jos. 21,5. Der var to byer fra Manasse, fire fra Efraim og fire fra Dan, i alt 10, jf. de nærmere detaljer i vers 51-55 og Jos. 21,20-25.

47Gershons efterkommere fik slægt for slægt tildelt 13 byer i Issakars, Ashers og Naftalis område og i Bashan, hvor Manasses anden halve stamme boede.

48Meraris efterkommere fik slægt for slægt tildelt 12 byer i de områder, hvor Rubens, Gads og Zebulons stammer boede.

49Israelitterne tildelte altså ved lodtrækning levitterne en række byer med tilhørende græsmarker. 50Præsterne fik byer tildelt fra Judas, Simeons og Benjamins stammeområder.6,50 Levitterne fik ingen jord, fordi de ikke skulle dyrke jorden, men leve af gaver fra de øvrige stammer. Dog fik de nogle byer, for de skulle jo have et sted at bo og græsmarker til deres husdyr. Præsterne fik de byer, der lå nærmest ved helligdommen i Jerusalem.

51Kehats efterkommere fik som sagt tildelt en række byer fra Efraims stammeområde: 52Det var tilflugtsbyen Sikem i Efraims højland, samt Gezer, 53Jokmeam og Bet-Horon. 54De fik også Ajjalon og Gat-Rimmon6,54 En del af teksten er faldet ud, jf. Jos. 21,23-24.—alle byer kom med de tilhørende græsmarker. 55Manasses halve stamme mod vest afstod byerne Aner og Bileam med tilhørende græsmarker.

56Blandt de byer, Gershons efterkommere fik tildelt, var Golan og Ashtarot med tilhørende græsmarker fra Manasses halve stamme i Bashan øst for Jordan. 57-58Af Issakars stamme fik de Kedesh, Daberat, Jarmut og En-Gannim med tilhørende græsmarker. 59-60Af Ashers stamme fik de Mashal, Abdon, Hukok og Rehob med tilhørende græsmarker. 61Af Naftalis stamme fik de Kedesh i Galilæa, Hammot og Kirjatajim med tilhørende græsmarker.

62Meraris efterkommere fik tildelt Rimmon og Tabor med tilhørende græsmarker af Zebulons stamme. 63-64Fra Rubens stamme øst for Jordanfloden, over for Jeriko, fik de ørkenbyen Betzer samt Jatza, Kedemot og Mefa’at—alle med tilhørende græsmarker. 65-66Gads stamme gav dem Ramot i Gilead, Mahanajim, Heshbon og Jazer—alle med tilhørende græsmarker.

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 6:1-81

Ekika kya Leevi

16:1 Lub 46:11; Kuv 6:16; Kbl 26:57; 1By 23:6Batabani ba Leevi baali

Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

2Batabani ba Kokasi ne baba

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.

36:3 Lv 10:1Ate abaana ba Amulaamu baali

Alooni, ne Musa ne Miryamu.

Batabani ba Alooni baali

Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.

4Eriyazaali n’azaala Finekaasi,

ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;

5Abisuwa n’azaala Bukki,

ate Bukki n’azaala Uzzi;

6Uzzi n’azaala Zerakiya,

ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;

7Merayoosi n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

86:8 2Sa 8:17; 15:27; Ezr 7:2Akitubu n’azaala Zadooki,

ate Zadooki n’azaala Akimaazi;

9Akimaazi n’azaala Azaliya,

ne Azaliya n’azaala Yokanaani;

106:10 1Bk 4:2; 6:1; 2By 3:1; 26:17-18Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);

11Azaliya n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

12Akitubu n’azaala Zadooki,

ne Zadooki n’azaala Sallumu;

136:13 2Bk 22:1-20; 2By 34:9; 35:8Sallumu n’azaala Kirukiya,

ne Kirukiya n’azaala Azaliya;

146:14 2Bk 25:18; Ezr 2:2; Nek 11:11Azaliya n’azaala Seraya,

ne Seraya n’azaala Yekozadaki;

156:15 2Bk 25:18; Nek 12:1; Kag 1:1, 14; 2:2, 4; Zek 6:11Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.

166:16 a Lub 29:34; Kuv 6:16; Kbl 3:17-20 b Kbl 26:57Batabani ba Leevi baali

Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.

17Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,

ne Libuni ne Simeeyi.

18Batabani ba Kokasi baali

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.

196:19 Lub 46:11; 1By 23:21; 24:26Batabani ba Merali baali

Makuli ne Musi.

Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:

20Abaava mu Gerusomu baali

Libuni mutabani we, ne Yakasi,

ne Zimura, 21ne Yowa,

ne Iddo, ne Zeera,

ne Yeyaserayi.

226:22 Kuv 6:24Bazzukulu ba Kokasi baali

Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,

Assiri muzzukulu we; 23Erukaana muzzukulu we,

Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;

246:24 1By 15:5Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.

25Batabani ba Erukaana baali

Amasayi ne Akimosi,

26ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,

ne Nakasi, 276:27 a 1Sa 1:1 b 1Sa 1:20ne Eriyaabu,

ne Yerokamu, ne Erukaana

ne Samwiri.

286:28 nny 33; 1Sa 8:2Batabani ba Samwiri baali

Yoweeri omuggulanda we,

n’owokubiri nga ye Abiya.

29Bazzukulu ba Merali baali

Makuli, ne Libuni,

ne Simeeyi, ne Uzza,

30ne Simeeyi, ne Kaggiya

ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.

316:31 a 1By 25:1; 2By 29:25-26; Nek 12:45 b 1By 9:33; 15:19; Ezr 3:10; Zab 68:25Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.

336:33 a 1Bk 4:31; 1By 15:17; 25:1 b nny 28Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:

Okuva mu Abakokasi;

Kemani, omuyimbi,

mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,

346:34 1Sa 1:1muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,

muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,

35muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,

muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;

36muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,

muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,

376:37 Kuv 6:24muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,

muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,

386:38 Kuv 6:21muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,

muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.

396:39 a 1By 25:1, 9; 2By 29:13; Nek 11:17 b 1By 15:17Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:

Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,

40muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,

muzzukulu wa Malukiya, 41muzzukulu wa Esuni,

muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,

42muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,

muzzukulu wa Simeeyi, 43muzzukulu wa Yakasi,

muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.

44Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,

Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,

muzzukulu wa Malluki, 45muzzukulu wa Kasukabiya,

muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,

46muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,

muzzukulu wa Semeri, 47muzzukulu wa Makuli,

muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,

mutabani wa Leevi.

486:48 1By 23:32Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.

Ennyumba ya Alooni

496:49 a Kuv 27:1-8 b Kuv 30:1-7, 10; 2By 26:18Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.

50Bano be baava mu nda ya Alooni:

mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,

muzzukulu we Abisuwa, 51muzzukulu we Bukki,

muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,

52muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,

muzzukulu we Akitubu, 536:53 2Sa 8:17muzzukulu we Zadooki,

ne muzzukulu we Akimaazi.

546:54 Kbl 31:10Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.

55Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 566:56 Yos 14:13; 15:13naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 576:57 a Kbl 33:20 b Yos 15:48Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 586:58 Yos 10:3Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 596:59 Yos 15:42Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.

606:60 Yer 1:1Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni6:60 Gibyoni erinnya eryo teryali mu muzingo ogwawandiikibwa mu Lwebbulaniya ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.

61Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.

62Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.

63Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.

646:64 Kbl 35:1-8; Yos 21:3, 41-42Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.

65N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.

66Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.

676:67 Yos 10:33Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 686:68 a 1Bk 4:12 b Yos 10:10ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 696:69 a Yos 10:12 b Yos 19:45ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.

70N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.

716:71 a 1By 23:7 b Yos 20:8Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.

726:72 Yos 19:12Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);

746:74 Yos 19:28okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 756:75 a Yos 19:34 b Kbl 13:21Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;

766:76 a Yos 19:28 b Kbl 32:37n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.

77Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;

786:78 Yos 20:8okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 796:79 Ma 2:26Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;

806:80 a Yos 20:8 b Lub 32:2n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 816:81 a Kbl 21:32 b 2By 11:14Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.