1. Krønikebog 29 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

1. Krønikebog 29:1-30

David og forsamlingen bringer gaver til Herren

1Henvendt til hele forsamlingen sagde David: „Min søn Salomon, som Gud har udvalgt til at efterfølge mig på Israels trone, er endnu ung og uerfaren. Den opgave, der er ham betroet, er stor, for det er ikke et palads til et menneske, han skal bygge, men Herrens eget hus! 2Jeg har derfor gjort, hvad der stod i min magt for at forberede arbejdet. Jeg har samlet alt det guld, sølv, bronze, jern og træ, der skal bruges, foruden alle slags farvede smykkesten og mængder af marmor. 3For at bevise mit stærke ønske om at se Herrens hus blive bygget giver jeg derudover, hvad jeg personligt ejer af guld og sølv: 4-5100 tons rent guld og 240 tons rent sølv til at overtrække bygningens vægge med og til anden udsmykning i templet. Hvem iblandt jer vil følge mit eksempel og bringe gaver til Herren?”

6-7Straks kom stamme- og slægtsoverhovederne, officererne og de ledende embedsmænd frivilligt og gav følgende til opførelsen af Herrens hus: 170 tons guld og 10.000 guldmønter, 340 tons sølv, 610 tons bronze og 3400 tons jern. 8De, som ejede smykkesten, gav dem til Herrens hus, og de blev opbevaret i templets skatkammer under Jehiels varetægt. 9Alle glædede sig over at få lov at give, for de gav af hele deres hjerte til Herren, og David var rørt af glæde.

Davids takkesang til Herren

10David brød ud i lovsang til Herren i hele folkets påhør:

„Priset være du, Israels Gud,

vores fædres Gud fra evighed til evighed.

11Storhed og magt, ære og herlighed tilhører dig, Herre,

for alt i himlen og på jorden er dit.

Du er den almægtige hersker,

højt ophøjet over alt og alle.

12Rigdom og ære kommer fra dig,

du regerer over alle mennesker.

Du giver storhed og styrke til hvem, du vil.

13Du er vores Gud, og vi priser dig.

Vi lovsynger dit herlige navn.”

14David fortsatte: „I virkeligheden kan hverken jeg eller mit folk give dig noget som helst, for alt, hvad vi ejer, har vi fået af dig, så vi giver dig kun, hvad der allerede er dit. 15Vi er kun gæster på besøg i denne verden, ligesom vores forfædre var det. Vores liv på jorden er som en skygge, der passerer forbi. 16Al den rigdom, som vi nu har skaffet til veje for at bygge dit hus, kom fra dig. Det hele tilhører dig. 17Min Gud, jeg ved, at du kender menneskers motiver og glæder dig over et oprigtigt hjerte. Jeg gav med glæde og uden bagtanke, og nu har jeg set, at hele dit folk har givet frivilligt og med glæde.

18Herre, Abrahams, Isaks og Jakobs Gud, jeg beder om, at dit folk altid må bevare den samme indstilling, og at du vil drage deres hjerter til dig. 19Giv også min søn Salomon et helhjertet ønske om at adlyde alle dine befalinger, love og forordninger, så han kan bygge det tempel, som jeg har gjort forberedelser til.”

20Derefter sagde David til hele forsamlingen: „Lovsyng Herren, jeres Gud!” Alle lovpriste nu deres fædres Gud og bøjede sig til jorden for Gud og for kongen.

Salomon anerkendes som konge

21Dagen efter bragte forsamlingen 1000 unge tyre, 1000 væddere og 1000 lam som slagtofre og brændofre til Herren. Der var også drikofre og takofre i massevis, så der var nok at spise til hele forsamlingen. 22Hele dagen spiste og drak de med stor glæde for Herrens ansigt. Derpå indsatte de endnu en gang kong Davids søn Salomon til konge. Ind for Herrens ansigt salvede de ham som regent, og de salvede samtidig Zadok som ypperstepræst. 23Efter sin fars død overtog Salomon tronen. Han fik stor fremgang, og hele Israels folk adlød ham. 24Alle landets ledere, hærens officerer og kong Davids andre sønner aflagde troskabsløfte over for ham. 25Herren gjorde ham til en populær konge i Israel, som fik større ære og fremgang end nogen anden konge i Israel før ham.

Davids død

26-27David var konge over Israel i 40 år. I syv år regerede han fra Hebron og i 33 år fra Jerusalem. 28Han døde i en høj alder som en velhavende og respekteret mand, og hans søn Salomon blev konge i hans sted. 29Beskrivelser af kong Davids liv og bedrifter findes i profeterne Samuel, Natan og Gads bøger. 30De fortæller i detaljer om hans regeringstid, og hvad der ellers skete med ham og Israels folk og nabolandene.

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 29:1-30

Ebirabo eby’Okuzimba Yeekaalu

129:1 1Bk 3:7; 1By 22:5; 2By 13:7Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda. 229:2 a nny 7, 14, 16; Ezr 1:4; 6:5; Kag 2:8 b Is 54:11 c 1By 22:2-5Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo. 329:3 2By 24:10; 31:3; 35:8Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange; 429:4 a Lub 10:29 b 1By 22:14ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe, 5n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”

629:6 a 1By 27:1; 28:1 b nny 9; Kuv 25:1-8; 35:20-29; 36:2; 2By 24:10; Ezr 7:15Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa. 729:7 Kuv 25:2; Nek 7:70-71Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda. 829:8 a Kuv 35:27 b 1By 26:21Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni. 929:9 1Bk 8:61; 2Ko 9:7Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.

Essaala ya Dawudi

10Awo Dawudi n’atendereza Mukama mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti,

“Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda,

Katonda wa jjajjaffe Isirayiri,

emirembe n’emirembe.

1129:11 a Zab 24:8; 59:17; 62:11 b Zab 89:11 c Kub 5:12-13Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,

n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda,

kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.

Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda,

era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.

1229:12 a 2By 1:12 b 2By 20:6; Bar 11:36Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,

era ggwe ofuga ebintu byonna;

omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza

era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.

13Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza

era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.

14“Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo. 1529:15 a Zab 39:12; Beb 11:13 b Yob 14:2Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi. 16Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo. 1729:17 a Zab 139:23; Nge 15:11; 17:3; Yer 11:20; 17:10 b 1By 28:9; Zab 15:1-5Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu. 18Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe. 1929:19 a 1By 28:9 b Zab 72:1 c 1By 22:14Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”

20Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.

Sulemaani atikirwa okuba kabaka

2129:21 1Bk 8:62Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna. 2229:22 a 1By 23:1 b 1Bk 1:33-39Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo.

Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona. 2329:23 1Bk 2:12Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera. 24Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani.

2529:25 a 2By 1:1, 12 b 1Bk 3:13; Mub 2:9Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.

Okufa kwa Dawudi

2629:26 1By 18:14Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna. 2729:27 2Sa 5:4-5; 1Bk 2:11; 1By 3:4Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi. 2829:28 a Lub 15:15; Bik 13:36 b 1By 23:1N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.

2929:29 a 1Sa 9:9 b 2Sa 7:2 c 1Sa 22:5Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi, 30era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.